bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 22
2 Samuel 22
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
1
Awo Dawudi n'ayimbira Mukama oluyimba luno, ku lunaku Mukama kwe yamuwonyeza mu mukono gw'abalabe be bonna ne mu gwa Sawulo; nga agamba nti,
2
Mukama lwe lwazi lwange era ekigo kyange; era omulokozi wange, owange nze;
3
Katonda olwazi lwange, oyo gwe nneesiganga; Engabo yange, era amaanyi ag'obulokozi bwange, ekigo kyange ekiwanvu, era ekiddukiro kyange; Omulokozi wange, ggwe omponya obukambwe.
4
Naakaabiranga Mukama, asaanidde okutenderezebwa, Bwe ntyo bwe nnaalokokanga eri abalabe bange.
5
Kubanga amayengo ag'okufa ganzingiza, N'entiisa ey'okuzikirira nenkwata.
6
Emiguwa egy'emagombe gyansiba, Okulumwa okw'okufa kwankwata.
7
Bwe nnalaba ennaku ne nkaabira Mukama, Weewaawo, n'akaabira Katonda wange. N'awulira eddoboozi lyange ng'ayima mu Yeekaalu ye, Okukaaba kwange ne kutuuka mu matu ge.
8
Ensi yayuuguuma n'ekankana. Emisingi gy'eggulu ne ginyeenyezebwa Ne gikankanyizibwa, kubanga asunguwadde.
9
Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, N'omuliro ogwava mu kamwa ke; Ne guwandula amanda agookya.
10
Yakutamya eggulu n'akka, Ekizikiza ekikutte ne kiba wansi w'ebigere bye.
11
Ne yeebagala kerubi n'adduka; Weewaawo, yalabikira ku biwawaatiro by'empewo.
12
Yeebikka ekizikiza, ebire ebikutte, ebijjudde amazzi, ne bimwetooloola.
13
Okumasamasa okwali mu maaso ge Ne kukoleeza amanda ag'omuliro.
14
Mukama n'abwatuka ng'ayima mu ggulu, Ali waggulu ennyo n'aleeta eddoboozi lye.
15
N'alasa obusaale n'abasaasaanya; N'aweereza okumyansa n'abagoba.
16
Awo ensalosalo ez'ennyanja ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne gyeruka, Olw'okunenya kwa Mukama, N'olw'okufuuwa omukka ogw'omu nnyindo ze.
17
Yasinziira waggulu n'ankwata; N'anzigya mu mazzi amangi;
18
N'amponya eri omulabe wange ow'amaanyi, Neri abo abaankyawa; kubanga bansinza amaanyi.
19
Bannumba ku lunaku kwe nnalabira ennaku; Naye Mukama ye yantaasa.
20
Yanfulumya n'andeeta mu kifo ekigazi; Namponya kubanga yansanyukira.
21
Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali; Naansasula ng'ebikolwa byange ebirungi bwebyali.
22
Kubanga nnakuumanga amakubo ga Mukama, So sivanga ku Katonda wange ne nkola ebibi.
23
N'akwata ebiragiro bye byonna, era sivanga ku mateeka ge.
24
Saalina musango mu maaso ge Ne nneekuuma mu butali butuukirivu bwange.
25
Mukama kyavudde ansasula ng'obutuukirivu bwange bwe bwali, Era nga obulongoofu bwange bwe bwali mu maaso ge.
26
Awali ow'ekisa oneeraganga wa kisa, Awali omuntu eyatuukirira obeera mutuukirivu;
27
Awali omulongoofu obeera mulongoofu; Oli mukambwe eri ababi.
28
Olokola abo abeetoowaze: Nokkakanya abamalala.
29
Kubanga ggwe ttabaaza yange, ayi Mukama: Era Mukama ayakira mu kizikiza kyange.
30
Ku lulwo nyanguwa okulumba eggye, Ku lwa Katonda wange nsobola okubuuka ekigo.
31
Katonda ono ekkubo lye lyatuukirira; Ebisuubizo bya Mukama byesigibwa; Oyo ye ngabo eri abo bonna abamwesiga.
32
Kubanga ani Katonda wabula Mukama? Oba ani lwazi wabula Katonda waffe?
33
Katonda ono kye kiddukiro kyange eky'amaanyi; Era afuula ekkubo lyange ery'e ddembe.
34
Yafuula ebigere byange nga eby'ennangaazi, era n'anteeka mu bifo ebigulumivu nga ndi mugumu.
35
Ayigiriza emikono gyange okulwana; Emikono gyange ne gisobola okuweta omutego ogw'ekikomo.
36
Ompadde engabo ey'obulokozi bwo, Era n'obuyambi bwo bungulumizizza.
37
Waagaziya ekkubo lyange, Ebigere byange ne bitaseerera.
38
Nayigganya abalabe bange ne mbazikiriza; So saakyuka nate nga tebannamalibwawo.
39
Era mbafumise ne mbamalirawo ddala ne batayinza kusituka: Weewaawo, bagudde wansi w'ebigere byange.
40
Kubanga onsibye amaanyi ag'okulwana; Owangudde abo abannumba.
41
Abalabe bange banziruse, Ne nzikiriza abo abankyawa.
42
Baanoonya ow'okubayamba, ne wataba abawonya. Baakoowoola Mukama, kyokka n'atabaddamu.
43
Awo ne mbasekulirasekulira ddala ne bafuuka ng'enfuufu. Nembasambirira ng'ebisooto eby'omu luguudo ne mbasaasaanya.
44
Omponyezza empaka z'abantu bange; N'onfuula omufuzi w'amawanga; Abantu be ssimanyangako kati bampeereza.
45
Bannaggwanga balinjeemulukukira; Nga kye bajje bawulire ebigambo baliŋŋondera.
46
Bannaggwanga baggwaamu amaanyi, Era ne bajja nga bakankana nga bava mu bifo byabwe bye beekwekamu.
47
Mukama mulamu; era lwazi lwange atenderezebwe; Agulumizibwe Katonda ow'olwazi olw'obulokozi bwange;
48
Ye Katonda ampalanira eggwanga, N'ampangulira amawanga ngafuge.
49
Amponya mu balabe bange; Weewaawo, ongulumizizza okusinga abo abannumba; Nomponya eri omusajja omukambwe.
50
Kyennaava nkwebaza, ayi Mukama, mu mawanga, Ne nnyimba okutendereza erinnya lyo.
51
Katonda ye awa kabaka obuwanguzi; era amukwatirwa ekisa, oyo gwe yafukako amafuta, eri Dawudi, n'ezzadde lye emirembe gyonna.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24