bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 20
2 Samuel 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
1
Awo omusajja Omubenyamini ataliimu nsa erinnya lye Seba mutabani wa Bikuli, n'afuuwa ekkondeere n'ayogera nti, “Tetulina mugabo mu Dawudi so tetulina busika mu mutabani wa Yese; Abaisiraeri mwenna, buli muntu addeyo ewaabwe!”
2
Awo Abaisiraeri bonna ne baabulira Dawudi, ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli. Kyokka ab'omu kika kya Yuda ne banywerera ku kabaka waabwe, ne bagenda naye okuva ku Yoludaani okutuuka mu Yerusaalemi.
3
Awo Dawudi n'ajja mu nnyumba ye e Yerusaalemi; kabaka n'addira abakazi ekkumi (10) abazaana be, be yali alese okukuuma ennyumba, n'abateeka mu kkomera gye yabalisizanga, naye n'ategatta nabo. Awo ne basibibwa okutuusa ku lunaku kwe baafiira nga tebalina babbaabwe.
4
Awo kabaka n'agamba Amasa nti, “Kuŋŋaanya abasajja ba Yuda ennaku ssatu nga tezinnayitawo, naawe ojje nabo.”
5
Awo Amasa n'agenda okukuŋŋaanya ab'ekika kya Yuda; naye n'asussa mu nnaku kabaka zeyamuwa.
6
Dawudi n'agamba Abisaayi nti, “Seba mutabani wa Bikuli ajja kutukola akabi akasinga aka Abusaalomu ke yakola; Kale nno twala abaddu ba mukama wo omuwondere aleme okugenda mu bibuga ebiriko enkomera n'awona.”
7
Awo abasajja ba Yowaabu, Abakeresi n'Abaperesi, n'abasajja abalala bonna ab'amaanyi, ne bava mu Yerusaalemi ne bagenda ne Abisaayi okuwondera Seba mutabani wa Bikuli.
8
Bwe baatuuka ku jjinja eddene eriri e Gibyoni, Amasa n'ajja okubasisinkana. Yowaabu yali ayambadde ebyambalo bye eby'entalo ng'asibye mu kiwato kye olukoba, nga kuliko n'ekitala mu kiraato kyakyo. Bwe yavaayo n'ajja, ne kisowokamu ne kigwa.
9
Yowaabu n'agamba Amasa nti, “Oli mirembe, muganda wange?” Yowaabu n'akwata Amasa ku kirevu n'omukono gwe ogwa ddyo okumunywegera.
10
Naye Amasa n'atassaayo mwoyo eri ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu; n'amufumisa ekyo olubuto n'ayiwa ebyenda bye wansi n'atamufumita lwa kubiri; Amasa n'afa. Yowaabu ne Abisaayi ne bawondera Seba mutabani wa Bikuli.
11
Awo omu ku basajja ba Yowaabu n'ayogera nti, “Ayagala Yowaabu era ali ku luuyi lwa Dawudi agoberere Yowaabu.”
12
Amasa yali agalamidde nga yeekulukuunya mu musaayi gwe wakati mu luguudo. Buli eyayitangawo n'amulaba, ng'ayimirira. Omusajja wa Yowaabu bwe yalaba ng'abantu bonna bayimirira, n'aggya Amasa mu luguudo, n'amutwala mu nsiko, n'amubikkako ekyambalo.
13
Awo bwe yaggibwa mu luguudo, abantu bonna ne beyongerayo nga bagoberera Yowaabu, okuwondera Seba mutabani wa Bikuli.
14
Awo Seba n'ayita mu bika byonna ebya Isiraeri n'atuuka mu Aberi ne mu Besumaaka, n'Ababeri bonna ne bakuŋŋaana nabo ne bamugoberera.
15
Abasajja ba Yowaabu ne bazingiza Seba nga ali mu Aberi eky'e Besumaaka, ne batuuma entuumo ye ttaka okwetooloola bbugwe we kibuga; awo abasajja ba Yowaabu ne bakoona bbugwe bamusuule wansi.
16
Awo omukazi ow'amagezi n'ayogerera waggulu ng'ayima mu kibuga nti, “Muwulire! muwulire! mbeegayiridde, mugambe Yowaabu nti, ‘Sembera wano njogere naawe.’ ”
17
N'amusemberera; omukazi n'amubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?” N'addamu nti, “Nze nzuuyo.” N'alyoka amugamba nti, “Wulira ebigambo eby'omuzaana wo.” N'addamu nti, “Mpulira.”
18
Awo omukazi n'agamba nti, “Ab'edda baagambanga nti, ‘Tugende twebuuze amagezi e Yaberi.’ Era baamalirangayo ebibasobedde.
19
Nze ndi omu ku abo abaagala emirembe era abeesigwa mu Isiraeri. Oyagala okuzikiriza ekibuga ekizadde mu Isiraeri? Lwaki oyagala okusaanyaawo abantu ba Mukama?”
20
Yowaabu n'addamu n'ayogera nti, “Kikafuuwe, kikafuuwe nze okusaanyawo oba okuzikiriza ekibuga!
21
Ekyo si bwe kiri wabula waliwo omusajja erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, ow'omu nsi ey'ensozi eya Efulayimu ajeemedde kabaka Dawudi. Kale mumuweeyo oyo yekka, olwo nja kuleka ekibuga.” Omukazi n'agamba Yowaabu nti, “Tujja kukasukira omutwe gwe nga tugubusa bbugwe.”
22
Awo omukazi n'agenda eri abantu bonna n'abawa amagezi. Ne basalako Seba mutabani wa Bikuli omutwe ne bagukasukira Yowaabu. Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere, basajja be ne baleka ekibuga, buli omu n'addayo ewaabwe ne Yowaabu n'addayo e Yerusaalemi eri kabaka.
23
Awo Yowaabu ye yali omukulu w'eggye lyonna erya Isiraeri; ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi.
24
Adolaamu ye yali omusolooza w'omusolo; ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza;
25
Seva ye yali omuwandiisi; ne Zadoki ne Abiyasaali be baali bakabona;
26
ne Ira Omuyayiri naye yali kabona wa Dawudi.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24