bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 4
2 Samuel 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
1
Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira nga Abuneeri bamutidde e Kebbulooni naatya nnyo, n'Abaisiraeri bonna ne beeraliikirira.
2
Isubosesi mutabani wa Sawulo yalina abasajja babiri (2) abaami b'ebibiina; omu erinnya lye Baana n'ow'okubiri ng'erinnya lye Lekabu, batabani ba Limmoni Omubeerosi ow'oku baana ba Benyamini; Beerosi kyali kitundu kya Benyamini.
3
Abatuuze abaasooka okukibeeramu baali baddukidde e Gittayimu era gye babeera n'okutuusa kaakati.
4
Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina mutabani we eyalemala amagulu, ng'erinnya lye ye Mefibosesi. Omwana oyo yalina emyaka etaano (5) egy'obukulu Sawulo ne Yonasaani we baafiira. Omuntu bweyava e Yezuleeri n'abika Sawulo ne Yonasaani, omulenzi w'omwana oyo n'amusitula n'adduka. Naye olw'okubanga yali mu bwangu, omwana yamusimattukako n'agwa n'alemala.
5
Awo Lekabu ne Baana batabani ba Limmoni Omubeerosi, ne bagenda ne batuuka mu nnyumba ya Isubosesi ku ssaawa nga mukaaga ez'omuttuntu, ne basanga nga Isubosesi awumuddeko.
6
Ne bayingira mu nnyumba nga beefudde ng'abaagala okukimayo eŋŋaano, ne bamufumita olubuto. Awo Lekabu ne muganda we Baana ne badduka.
7
Baayingira mu nnyumba nga Isubosesi yeebase ku kitanda mu kisenge mwasula, ne bamufumita ne bamutta. Ne bamutemako omutwe, ne bagutwala. Ne batambula ekiro kyonna, nga bayita mu kkubo erya Alaba.
8
Omutwe gwa Isubosesi ne baguleetera kabaka Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti, “Guguuno omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo eyali ayagala okukutta.”
9
Dawudi n'abaddamu nti, “Ndayira Mukama omulamu eyampisa mu bizibu byonna!
10
Omubaka eyajja e Zikulagi okumbuulira okufa kwa Sawulo, yalowooza nti yali ambuulira mawulire malungi, kyokka n'amukwata ne ndagira attibwe. Eyo ye mpeera gye n'amuwa olw'amawulire ge ago!
11
Kale kinaaba kitya ku bantu ababi, abatta omuntu atalina musango, gwe basanze mu nnyumba ye nga yeebase? Sisingewo nnyo okubavunaana mmwe olw'okutta Isubosesi, ne mbasanyaawo ku nsi kuno?”
12
Dawudi n'alagira abalenzi be, ne babatta Lakabu ne Baana, ne babatemako emikono n'ebigere, ne babiwanika ku mabbali g'ekidiba e Kebbulooni. Ne batwala omutwe gwa Isubosesi, ne baguziika ku biggya bya Abuneeri e Kebbulooni.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24