bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 21
2 Samuel 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 22 →
1
Awo ne waba enjala ku mirembe gya Dawudi okumala emyaka esatu (3) egiddiriraŋŋana; Dawudi ne yeebuuza ku Mukama. Kino kize lwa Sawulo ne nnyumba ye ey'omusaayi, kubanga Sawulo yatta Abagibyoni.
2
Kabaka n'ayita Abagibyoni n'ayogera nabo. Abagibyoni tebaali ba Isiraeri wabula Abamoli abasigalawo, Abaisiraeri baali bakoze nabo endagaano obutabatta; naye Sawulo olw'okulumirwa Abaisiraeri ne Yuda n'ayagala okubatta.
3
Dawudi n'abuuza Abagibyoni nti, “Kiki kyemba mbakolera era mutango ki gwemba mbawa mulyoke musabire abantu ba Katonda omukisa?”
4
Awo Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Oluyombo lwaffe ne Sawulo n'ab'omu nnyumba ye, teruyinza kuliyirirwa na ffeeza oba na zaabu; so tetwagala muntu yenna mu Isiraeri kuttibwa ku lwaffe.” Dawudi n'abagamba nti, “Kati mugamba ki kyemba mbakolera?”
5
Ne bagamba kabaka nti, “Omusajja eyatusalira amagezi okutuzikiriza tuleme kubeera na kifo kyonna mu Isiraeri;
6
batuwe abasajja musanvu (7) ku batabani be, tubawanikire mu maaso ga Mukama e Gibeya ekya Sawulo omulonde wa Mukama.” Kabaka n'ayogera nti, “Ndibawaayo.”
7
Naye kabaka n'asonyiwa Mefibosesi mutabani wa Yonasaani mutabani wa Sawulo, olw'ekirayiro Dawudi ne Yonasaani mutabani wa Sawulo kyebalayiragana mu maaso ga Mukama.
8
Naye kabaka n'alondamu Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya be yazaalira Sawulo; Alumoni ne Mefibosesi; ne batabani ba Merabu muwala wa Sawulo abataano, be yazaalira Aduliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi;
9
n'abawaayo eri Abagibyoni, ne babawanika mu maaso ga Mukama ku lusozi, bonna omusanvu (7) ne bafiira wamu. Battibwa mu nnaku z'amakungula ezisooka, we batandikira okukungula sayiri.
10
Awo Lizupa muwala wa Aya, n'atwala ebibukutu n'abyeyalira ku lwazi, okuva ku ntandikwa y'amakungula, okutuusa enkuba lwe yatandika okutonnya n'ekuba emirambo egyo. Emisana n'ekiro n'atakkiriza binyonyi wadde ebisolo okugirya.
11
Ne babuulira Dawudi ebyo Lizupa muwala wa Aya, omuzaana wa Sawulo, bye yakola.
12
Dawudi n'agenda n'aggya amagumba ga Sawulo n'amagumba ga Yonasaani mutabani we ku basajja ab'e Yabesugireyaadi, abaali bagabbye mu luguudo olw'e Besusani Abafirisuuti gye baagawanikira ku lunaku Abafirisuuti kwe battira Sawulo e Girubowa;
13
n'aggyayo amagumba ga Sawulo n'amagumba ga Yonasaani mutabani we; ne bakuŋŋaanya na magumba g'abo abaawanikibwa.
14
Ne baziika amagumba ga Sawulo ne Yonasaani mutabani we mu nsi ya Benyamini mu Zeera mu ntaana ya Kiisi kitaawe; ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Awo oluvannyuma lw'ebyo Katonda n'ayanukula okusaba kw'Abagibyoni kwe basabira ensi.
15
Awo Abafirisuuti ne baddamu okulwana ne Isiraeri; Dawudi n'aserengeta n'abaddu be okulwana n'Abafirisuuti; Dawudi n'akoowa nnyo.
16
Awo Isubibenobu omu ku baana b'erissajja eriwagguufu nga alina effumu ery'ekikomo erizitowa sekeri bisatu (300), era nga yeesibye ekitala ekiggya, n'ayagala okutta Dawudi.
17
Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'amudduukirira n'afumita Omufirisuuti n'amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayiyira nga boogera nti, “Tokyatabaala naffe oleme okuzikiza ettabaaza ya Isiraeri.”
18
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba nate entalo n'Abafirisuuti e Gobu; awo Sibbekayi Omukusasi n'atta Safu omu ku baana be ssajja liri eriwagguufu.
19
Awo ne waba nate entalo n'Abafirisuuti e Gobu; awo Erukanani mutabani wa Yaale-olegimu Omubesirekemu n'atta Goliyaasi Omugitti, olunyago lw'effumu lye lwaliŋŋaanga omuti ogulukirwako engoye.
20
Ne waba nate entalo e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo, eyalina engalo omukaaga (6) ku buli mukono n'obugere omukaaga (6) ku buli kigere, omuwendo gwabyo abiri mu bina (24), era naye yali mutabani we ssajja liri eriwagguufu.
21
Awo bwe yasoomoza Isiraeri, Yonasaani mutabani wa Simeeyi muganda wa Dawudi n'amutta.
22
Abo abaana be baali baana be ssajja liri eriwagguufu ery'e Gaasi; ne battibwa Dawudi n'abaddu be.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24