bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 13
2 Samuel 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
1
Abusaalomu mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, erinnya lye Tamali; awo olwatuuka Amunoni mutabani wa Dawudi n'amwegomba.
2
Awo Amunoni naayaka olw'okwegomba okubeera ne mwannyina Tamali; n'okulwala n'alwala; Tamali yali tannamanya musajja, Amunoni n'akirowooza nga kizibu okumufuna.
3
Naye Amunoni yalina mukwano gwe, erinnya lye Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa Dawudi; era Yonadabu yali musajja mugerengetanya nnyo.
4
N'amugamba nti, “Ggwe omwana wa kabaka lwaki weeyongera okukenena buli lunnaku? Kiki mbuulira.” Amunoni n'addamu nti, “Njagala Tamali mwannyina Abusaalomu muganda wange.”
5
Awo Yonadabu n'amugamba nti, “Galamira ku kitanda kyo weerwazerwaze; kale kitaawo bw'alijja okukulaba, n'omugamba nti, ‘Nkwegayiridde mwannyinaze Tamali ajje ampe emmere okulya, afumbire emmere mu maaso gange nga ndaba agimpe ngirye.’ ”
6
Awo Amunoni n'agalamira ne yeerwazalwaza; awo kabaka bwe yajja okumulaba, Amunoni n'agamba kabaka nti, “Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, anfumbire emigaati ebiri mu maaso gange agimpe ngirye.”
7
Awo Dawudi n'atumira Tamali ng'agamba nti, “Genda nno mu nnyumba ya mwannyoko Amunoni omufumbire emmere.”
8
Awo Tamali n'agenda eri ennyumba ya mwannyina Amunoni; n'amusanga ng'agalamidde. N'addira obutta n'abugoya, n'abufumbamu emigaati nga Amunoni alaba.
9
N'agireetera mu kikalango, n'agissa mu maaso ge; naye n'agaana okulya. Amunoni n'agamba nti, “Abasajja bonna bave we ndi.” Abasajja bonna ne bava waali.
10
Amunoni n'agamba Tamali nti, “Leeta emmere mu kisenge ngirye nga woli.” Tamali n'addira emigaati gy'afumbye n'agitwala mu kisenge eri Amunoni mwannyina.
11
Awo bwe yagimusembereza, n'amukwata n'amugamba nti, “Mwannyinaze jjangu weebake nange.”
12
Tamali n'amuddamu nti, “Nedda mwannyinaze, tonkwata, kubanga ekintu nga kino tekikolebwa mu Isiraeri. Tokola kintu kino eky'obugwenyufu.
13
Kale nze ndiraga wa nga mmaze okuwemuka bwe nti? Oliba omu ku bagwenyufu ab'omu Isiraeri. Kale nno, nkwegayiridde, ekyo kyogere ne kabaka, tajja kukunnyima.”
14
Naye Amunoni n'atamuwuliriza, era kubanga yamusinza amaanyi, n'amukwata lwa mpaka, ne yeebaka naye.
15
Awo Amunoni n'alyoka amukyawa ekitakyayika; kubanga okukyawa kwe yamukyawa kwasinga okwagala kwe yamwagala. Amunoni n'amugamba nti, “Situka ogende!”
16
Tamali n'addamu nti, “Nedda mwannyinaze, eky'okunsindikiriza kibi nnyo okusinga kyewasose okukola.” Naye n'atamuwuliriza.
17
Amunoni n'ayita omuddu we eyamuweerezanga n'amugamba nti, “Fulumya omukazi ono ave we ndi, omuggalire ebweru.”
18
Tamali yali ayambadde ekyambalo eky'amabala amangi; kubanga bwe batyo bwe baayambalanga abawala ba kabaka embeerera. Awo omuddu n'amufulumya n'amuggalira ebweru.
19
Awo Tamali n'ateeka evvu ku mutwe gwe n'ayuza ekyambalo kye eky'amabala amangi kye yali ayambadde; ne yeetikka emikono gye ku mutwe gwe n'agenda ng'akaaba.
20
Abusaalomu mwannyina n'amugamba nti, “Amunoni mwannyoko yeegasse naawe? Naye kaakano sirika, mwannyinaze; ye mwannyoko; ekigambo ekyo kireme okukunakuwaza omwoyo.” Awo Tamali n'abeera mu nnyumba ya mwannyina Abusaalomu nga talina bba.
21
Awo kabaka Dawudi bwe yawulira ebyo byonna, n'asunguwala nnyo.
22
Abusaalomu n'akyawa Amunoni kubanga yali akutte Tamali mwannyina, kyokka Abusaalomu n'atayogera na Amunoni kigambo na kimu, newakubadde ekirungi, wadde ekibi.
23
Awo olwatuuka nga wayiseewo emyaka ebiri, Abusaalomu yalina abasala ebyoya by'endiga ze e Baalu-kazoli, ekiri ku mabbali ga Efulayimu; Abusaalomu n'ayita abaana ba kabaka bonna babeereyo.
24
Abusaalomu n'agenda eri kabaka n'amugamba nti, “Laba, omuddu wo alina abasala ebyoya by'endiga; nkwegayiridde kabaka n'abaddu be bagende wamu nange.”
25
Kabaka n'agamba Abusaalomu nti, “Nedda, mwana wange, tuleme okugenda fenna, tuleme okukuzitoowerera.” Abusaalomu n'amwetayirira, kyokka kabaka Dawudi n'agaana okugenda, wabula n'amusabira omukisa.
26
Awo Abusaalomu n'ayogera nti, “Oba ogaanyi, kale nkwegayiridde muganda wange Amunoni agende naffe.” Kabaka n'amubuuza nti, “Kiki ekinaaba kimutwala naawe?”
27
Naye Abusaalomu n'amwetayirira akkirize Amunoni n'abaana ba kabaka bonna okugenda naye.
28
Awo Abusaalomu n'alagira abaweereza be nti, “Mutunuulire Amunoni, bwe mumulaba ng'atamidde omwenge, era ne mbagamba nti, ‘Mukube Amunoni mumutte,’ temutya kubanga nze nnaaba mbalagidde. Mugume mube bazira.”
29
Abaddu ba Abusaalomu ne bakola Amunoni nga Abusaalomu bw'alagidde. Awo abaana ba kabaka bonna ne balyoka bagolokoka ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka.
30
Awo olwatuuka bwe baali nga bakyali mu kkubo, Dawudi n'aleeterwa ebigambo nti, “Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, tekusigadde n'omu.”
31
Awo kabaka n'asituka n'ayuza ebyambalo bye n'agalamira ku ttaka; abaddu be bonna abali naye nabo ne bayuza engoye zaabwe.
32
Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa kabaka, n'addamu n'ayogera nti, “Mukama wange aleme okulowooza nti basse abaana ba kabaka bonna abalenzi; Amunoni yekka ye afudde; kubanga Abusaalomu yateesa bw'atyo ng'amaliridde okuva ku lunaku Amunoni lwe yakwata Tamali mwannyina.
33
Kale nno mukama wange kabaka ekigambo ekyo kireme okumunakuwaza omwoyo okulowooza nti abaana ba kabaka bonna bafudde; kubanga Amunoni yekka ye afudde.”
34
Abusaalomu n'adduka. Awo omulenzi eyali ku gw'okukuuma bwe yayimusa amaaso, n'alengera abantu bangi nga bajja, nga bakutte ekkubo ery'oku lusozi emabega we.
35
Awo Yonadabu n'agamba kabaka nti, “Laba, abaana ba kabaka batuuse; ng'omuddu wo bw'ayogedde, bwe kityo bwe kiri.”
36
Awo olwatuuka bwe yamala okwogera, abaana ba kabaka ne bajja ne bayimusa amaloboozi gaabwe; era ne kabaka n'abaddu be bonna ne bakaaba nnyo nnyini.
37
Naye Abusaalomu n'adduka, n'agenda eri Talumayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w'e Gesuli. Dawudi n'akungubagiranga mutabani we Amunoni buli lunaku.
38
Awo Abusaalomu n'amala e Gesuli emyaka esatu (3).
39
Kabaka bwe yamala okukungubagira Amunoni, n'alumirwa mutabani we Abusaalomu n'ayagala okugenda gyali.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24