bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 11
2 Samuel 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
1
Awo olwatuuka mu biseera eby'omwaka bakabaka mwe batabaalira, Dawudi n'atuma Yowaabu n'abaddu be ne Isiraeri yenna; ne bazikiriza abaana ba Amoni ne bazingiza Labba. Naye Dawudi n'asigala e Yerusaalemi.
2
Awo olwatuuka akawungeezi Dawudi n'agolokoka n'ava ku kitanda kye n'atambula waggulu ku nnyumba ya kabaka; era ng'asinziira ku nnyumba n'alaba omukazi ng'anaaba; era omukazi yali mulungi nnyo okutunuulira.
3
Awo Dawudi n'atuma ababaka baabulirize omukazi oyo ebimufaako. Ne wabaawo eyayogera nti, “Oyo si Basuseba muwala wa Eriyaamu, mukazi wa Uliya Omukiiti?”
4
Awo Dawudi n'atuma ababaka ne bamuleeta neyeegatta naye; kubanga yali alongoosebwa obutali bulongoofu bwe; omukazi n'addayo mu nnyumba ye.
5
Omukazi n'aba olubuto; n'atumira Dawudi n'amugamba nti, “Ndi lubuto.”
6
Dawudi n'atumira Yowaabu nti, “Mpeereza Uliya Omukiiti.” Yowaabu n'aweereza Uliya eri Dawudi.
7
Awo Uliya bwe yajja gy'ali, Dawudi n'amubuuza Yowaabu bwe yali n'abantu bwe baali n'olutalo bwe lwali.
8
Dawudi n'agamba Uliya nti, “Serengeta mu nnyumba yo onaabe ebigere.” Uliya n'ava mu nnyumba ya kabaka, kabaka n'amugobereza ekirabo.
9
Naye Uliya n'atagenda mu nnyumba ye, nasula ku mulyango gw'ennyumba ya kabaka wamu n'abaddu bonna aba mukama we.
10
Awo bwe baamubuulira Dawudi nti, “Uliya teyagenze mu nnyumba ye,” Dawudi n'abuuza Uliya nti, “Tewavudde mu lugendo? Kiki ekyakulobedde okugenda mu nnyumba yo?”
11
Uliya n'addamu Dawudi nti, “Essanduuko ne Isiraeri ne Yuda basula mu nsiisira; ne mukama wange Yowaabu n'abaddu ba mukama wange basiisidde ku ttale mu bbanga; olwo nze ŋŋenda ntya mu nnyumba yange okulya n'okunywa n'okusula ne mukazi wange? Nga bw'oli omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu sijja kukola kigambo ekyo.”
12
Awo Dawudi n'agamba Uliya nti, “Beera wano n'olwa leero, enkya nkusindike oddeyo.” Awo Uliya n'amala olunaku olwo n'olwaddirira mu Yerusaalemi.
13
Awo Dawudi n'amuyita, n'aliira era n'anywera mu maaso ge; n'amutamiiza; n'ekiro ekyo Uliya n'ataddayo mu nnyumba ye, naye nasula ku kitanda kye wamu n'abaddu ba mukama we.
14
Awo enkeera Dawudi n'awandiikira Yowaabu ebbaluwa, n'agiwa Uliya okugimutwalira.
15
N'awandiika mu bbaluwa nti, “Muteeke Uliya mu maaso awali olutalo olw'amaanyi, mumwabulire, balyoke bamufumite afe.”
16
Awo olwatuuka Yowaabu bwe yekkaanya ekibuga, n'ateeka Uliya mu kifo we yamanya nti we wali abalabe ab'amaanyi.
17
Abasajja ab'omu kibuga ne bafuluma ne balwana ne Yowaabu; awo ku bantu ne kufaako abamu, ku baddu ba Dawudi; Uliya Omukiiti naye n'afa.
18
Awo Yowaabu n'atuma omubaka n'abuulira Dawudi eby'olutalo byonna;
19
n'akuutira omubaka ng'ayogera nti, “Bw'oliba ng'omaze okubuulira kabaka eby'olutalo byonna,
20
awo olunaatuuka kabaka bw'anaasunguwala, n'akugamba nti, ‘Kiki ekyabasembeza bwe mutyo okumpi n'ekibuga okulwana? Temwamanya nga baliyima ku bbugwe okulasa?
21
Ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? Omukazi teyamukasukako enso ng'ayima ku bbugwe, n'afiira e Sebezi? Kiki ekyabasembeza bwe mutyo okumpi ne bbugwe?’ Awo onoomuddamu nti, ‘N'omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.’ ”
22
Awo omubaka n'agenda n'ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma.
23
Omubaka n'agamba Dawudi nti, “Abalabe baatunyigiriza nnyo ne batulumba ebweru mu bbanga, ne tufunvubira okubazayo okutuuka awayingirirwa mu mulyango.
24
Abalasi ne balasa abaddu bo nga bayima ku bbugwe; era ku baddu ba kabaka kufuddeko abamu, n'omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.”
25
Awo Dawudi n'agamba omubaka nti, “Bw'oti bw'oba ogamba Yowaabu nti, Ekyo kireme kukuterebula, kubanga tewali ayinza kumanya oyo anaafiira mu lutalo. Kale nno weeyongere okulumba ekibuga n'amaanyi, okiwambe. Era naawe mugumye omwoyo.”
26
Awo muka Uliya bwe yawulira nga bba afudde, n'amukungubagira.
27
Ekiseera eky'okukungubaga bwe kyaggwaako, Dawudi n'amutumya n'amuleeta mu nnyumba ye, n'aba mukazi we era n'amuzaalira omwana ow'obulenzi. Naye ekigambo Dawudi kye yakola ne kinyiiza Mukama.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24