bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 24
2 Samuel 24
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
1
Awo Mukama nate n'asunguwalira Isiraeri, n'apikiriza Dawudi agende abale abantu ba Isiraeri n'aba Yuda.
2
Awo kabaka n'agamba Yowaabu omukulu w'eggye eyali naye nti, “Genda nno oyiteeyite mu bika bya Isiraeri byonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, mubale abantu ntegeere omuwendo gwabwe.”
3
Yowaabu n'agamba kabaka nti, “Mukama Katonda wo ayongere ku bantu, emirundi kikumi, n'amaaso ga mukama wange kabaka gakirabe; wabula mukama wange kabaka lwaki asanyukira ekintu ekyo?”
4
Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ekya Yowaabu n'abakulu b'eggye. Awo Yowaabu n'abakulu b'eggye ne bava mu maaso ga kabaka ne bagenda okubala abantu ba Isiraeri.
5
Ne basomoka Yoludaani ne basiisira mu Aloweri, ku luuyi olwa ddyo olw'ekibuga ekiri mu kiwonvu kya Gaadi n'okutuuka e Yezeeri;
6
ne balyoka batuuka e Gireyaadi ne mu nsi ey'e Tatimu-kodusi; ne batuuka e Dani-yaani ne beetooloola okutuuka e Sidoni,
7
ne batuuka ku kigo eky'e Ttuulo, ne mu bibuga byonna eby'Abakiivi n'eby'Abakanani; ne bamalira ku bukiikaddyo obwa ddyo obwa Yuda e Beeruseba.
8
Awo bwe baamala okuyitaayita mu nsi yonna, ne bakomawo e Yerusaalemi nga wayise emyezi mwenda n'ennaku abiri.
9
Yowaabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu be babala: mu Isiraeri mwalimu abasajja abazira abayinza okulwana obusiriivu munaana (800,000), ne mu Yuda obusiriivu butaano (500,000).
10
Awo Dawudi bwe yamala okubala abantu, omwoyo gwe ne gumuluma. Dawudi n'agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze, naye kaakano, ayi Mukama, nkwegayiridde, sonyiwa obutali butuukirivu bw'omuddu wo; kubanga nkoze eby'obusirusiru bungi nnyo.”
11
Awo Dawudi bwe yagolokoka enkya, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi, ng'akyogera nti,
12
“Genda ogambe Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkutereddewo ebintu bisatu; weerobozeeko ekimu kyemba nkukola.’ ”
13
Gaadi n'agenda eri Dawudi n'amubuulira, n'amugamba nti, “Ku bisatu olondako kiruwa? Enjala okugwa mu nsi yo okumala emyaka musanvu (7), oba ggwe okumala emyezi esatu (3) ng'odduka abalabe bo abakuyigganya, oba okugwirwa kawumpuli mu nsi yo okumala ennaku ssatu (3)? Lowooza olondeeko kye nnaddiza oyo antumye.”
14
Awo Dawudi n'agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri nno tugwe mu mukono gwa Mukama; kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy'abantu.”
15
Awo Mukama n'aleeta kawumpuli ku Isiraeri okuva enkya okutuuka mu biro ebyateekebwawo; awo ku bantu ne kufaako abasajja emitwalo musanvu (70,000) okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba.
16
Awo malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa ekibi, n'agamba malayika eyazikiriza abantu nti, “Kinaamala.” Era malayika wa Mukama yali ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.
17
Awo Dawudi bwe yalaba malayika eyali atta n'agamba Mukama nti, “Nze nnyonoonye ne nkola eby'obubambaavu; naye abantu bano bbo bakoze ki? Nkwegayiridde bonereza nze n'abennyumba ya kitange.”
18
Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi ku lunaku olwo n'amugamba nti, “Genda ozimbire Mukama ekyoto mu gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.”
19
Awo Dawudi n'agenda nga Mukama bwe yalagira nga ayita mu Nnabbi Gaadi.
20
Awo Alawuna n'alengera kabaka n'abaddu be nga bajja gyali. Alawuna n'afuluma n'avuunamira kabaka.
21
Awo Alawuna n'abuuza nti, “Kiki ekireese Mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n'agamba nti, “Ekindeese njagala onguze egguuliro lyo, nzimbire mu Mukama ekyoto. Kawumpuli aziyizibwe mu bantu.”
22
Awo Alawuna n'agamba Dawudi nti, “Mukama wange, kabaka, twala oweeyo eri Mukama buli ky'olaba nga kirungi. Ente ziizino, zibe ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebiwuula era n'amatandiiko g'ente bibeere enku.
23
Bino byonna, ayi kabaka, Alawuna abiwa kabaka.” Alawuna n'agamba kabaka nti, “Mukama Katonda wo akkirize ekiweebwayo kyo.”
24
Kabaka n'agamba Alawuna nti, “Nedda. Nja kubikugulako buguzi, omuwendo gw'onoolamula. Sijja kuwaayo eri Mukama Katonda wange ebiweebwayo ebyokebwa bye siguze.” Awo Dawudi n'agula egguuliro n'ente ezo ku muwendo gwa bitundu bya ffeeza ataano (50).
25
Awo Dawudi n'azimbira Mukama ekyoto, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe. Awo Mukama n'awulira Dawudi byeyasabira ensi, kawumpuli n'aziyizibwa.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24