bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 14
2 Samuel 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
1
Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'ategeera ng'omutima gwa kabaka gulumirwa Abusaalomu.
2
Yowaabu n'atumya omukazi ow'amagezi okuva e Tekowa n'amugamba nti, “Nkwegayiridde, weefuule ng'afiiriddwa, oyambale ebyambalo eby'okufiirwa, era tosaaba mafuta, naye weefuule ng'omukazi eyaakamala ebiro ebingi ng'akungubagira omufu;
3
oyingire eri kabaka omugambe ebigambo bye nnaakugamba.” Awo Yowaabu n'amuweerera ebigambo.
4
Awo omukazi ow'e Tekowa n'ayingira eri kabaka, n'avuunama ne yeeyanza n'ayogera nti, “Mbeera, ayi kabaka.”
5
Kabaka n'amubuuza nti, “ Obadde otya?” N'addamu nti, “Mazima nze ndi mukazi nnamwandu ne baze yafa.
6
Omuzaana yalina abaana babiri, ne balwanira ku ttale nga tewali abataasa, omu n'afumita munne n'amutta.
7
Kale kaakano, ekika kyonna kingolokokeddeko nga boogera nti, ‘Waayo oyo eyafumita muganda we tumutte olw'obulamu bwa muganda we gwe yatta,’ bwe tutyo tutte n'omusika. Bwe banaakola bwe batyo banaaba bazikiza eryanda lyange erisigaddewo, ne batamulekera baze linnya newakubadde ekitundu ekifisseewo ku ttaka lyonna. Kale bwe banaamutta n'aba nsigadde sirina mwana era nga bazikirizza erinnya lya baze nga talinawo zzadde lisigaddewo ku nsi.”
8
Awo kabaka n'agamba omukazi nti, “Ddayo ewuwo, ensonga zo nja kuzikolako.”
9
Awo omukazi ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti, “Mukama wange, ayi kabaka, obutali butuukirivu bube ku nze ne ku nnyumba ya kitange; kabaka abe nga taliiko musango n'entebe ye ey'obwakabaka.”
10
Kabaka n'ayogera nti, “Buli anaakugambanga ekigambo kyonna, omuleetanga gye ndi so talikukwatako lwa kubiri.”
11
Awo omukazi n'ayogera nti, “Nkwegayiridde ayi kabaka, saba Mukama Katonda wo aziyize oyo, awalana eggwanga ly'omusaayi aleme okweyongera okuzikiriza, baleme okuzikiriza mutabani wange.” Kabaka n'addamu nti, “Mukama nga bw'ali omulamu, tewaliba luviiri lumu lwa mutabani wo oluligwa wansi.”
12
Awo omukazi n'ayogera nti, “Nkwegayiridde, omuzaana wo ayogere ekigambo ne mukama wange kabaka.” Kabaka n'addamu nti, “Yogera.”
13
Omukazi n'ayogera nti, “Lwaki wateesa ekigambo ekifaanana bwe kityo eri abantu ba Katonda? Kubanga kabaka bw'alagira bwatyo, aliŋŋaanga eyesalira omusango, bwatakomyawo eka owuwe eyagobebwa.
14
Ffenna tuli ba kufa, era tuli ng'amazzi agayiise ku ttaka agatayinza kuyoolebwa. Era ne Katonda, omuntu bw'afa, tamukomyawo mu bulamu. Kyokka kabaka asobola okusala amagezi n'akomyawo oyo eyagobebwa, aleme okusigala mu buwaŋŋanguse.”
15
Kale nno, Mukama wange kabaka, kubanga abantu bantiisizzatiisizza, era omuzaana wo nnalowooza nti, “Nja kwogerako ne kabaka, mpozzi kabaka alikola omuzaana we by'amwegayiridde.
16
Kubanga kabaka anaawulira, n'awonya omuzaana we mu mukono gw'omusajja ayagala okunzikiriza ffembi ne mutabani wange okutuggya mu busika bwa Katonda.
17
Nze omuzaana wo kyenva njogera nti, ‘Nkwegayiridde Mukama wange kabaka ekigambo kyo kimpe emirembe;’ kubanga mukama wange kabaka aliŋŋaanga malayika wa Katonda asobola okwawulamu ebirungi n'ebibi; Mukama Katonda wo abeere naawe!”
18
Awo kabaka n'alyoka addamu n'agamba omukazi nti, “Tonkisa, nkwegayiridde, ekigambo kyonna kye nnaakubuuza.” Omukazi n'ayogera nti, “Mukama wange kabaka mbuuza kaakano.”
19
Kabaka n'amubuuza nti, “Mu bino byonna by'oyogedde mulimu omukono gwa Yowaabu?” Omukazi n'addamu n'ayogera nti, “Nga ggwe bw'oli omulamu, mukama wange kabaka, tewali ayinza okukyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okuva ku kigambo kyonna mukama wange kabaka ky'ayogedde; kubanga omuddu wo Yowaabu ye yandagira, era ye yaweerera omuzaana wo ebigambo bino byonna;
20
Olw'okwagala okukyusa ebiriwo, omuddu wo Yowaabu kye yavudde akola bw'atyo. Era ggwe mukama wange, oli mugezi nga malayika wa Katonda, okumanya byonna ebiri mu nsi.”
21
Awo Kabaka n'agamba Yowaabu nti, “Kaakano nzikirizza. Genda okomyewo omuvubuka oyo Abusaalomu.”
22
Awo Yowaabu n'avuunama, ne yeeyanza, ne yeebaza kabaka; n'ayogera nti, “Leero omuddu wo aganze mu maaso go, mukama wange, ayi kabaka, kubanga kabaka akoze omuddu we ky'amusabye.”
23
Awo Yowaabu n'asituka n'agenda e Gesuli n'aleeta Abusaalomu e Yerusaalemi.
24
Kabaka n'ayogera nti, “Addeyo mu nnyumba ye ye, naye aleme okujja mu maaso gange.” Awo Abusaalomu n'addayo mu nnyumba ye, n'atalaba maaso ga kabaka.
25
Awo mu Isiraeri yenna temwali muntu n'omu alabika bulungi nga Abusaalomu; okuva wansi ku bigere okutuuka ku bwezinge bw'omutwe gwe nga taliiko kabi.
26
Buli nkomerero ya mwaka, Abusaalomu yasalanga enviiri ku mutwe gwe, kubanga zaamuzitoowereranga. Bwe yazisalanga, n'azipima, zaawezanga sekeri bibiri (200), ng'okupima kwa kabaka bwe kwali.
27
Awo Abusaalomu n'azaalirwa abaana ab'obulenzi basatu n'ow'obuwala omu, erinnya lye Tamali; yali mukazi wa maaso malungi.
28
Awo Abusaalomu n'amala emyaka ebiri (2) emirambirira mu Yerusaalemi; nga talabye ku maaso ga kabaka.
29
Awo Abusaalomu n'atumya Yowaabu, okumutuma eri kabaka; naye n'atakkiriza kujja gy'ali; awo n'atumya nate omulundi ogwokubiri, era n'atakkiriza kujja.
30
Kyeyava agamba abaddu be nti, “Laba ennimiro ya Yowaabu eya Sayiri eriraanye n'eyange; mugende mugyokye.” Awo abaddu ba Abusaalomu ne bagyokya.
31
Awo Yowaabu n'alyoka asituka n'agenda eri Abusaalomu mu nnyumba ye n'amubuuza nti, “Abaddu bo bookedde ki ennimiro yange?”
32
Abusaalomu n'addamu Yowaabu nti, “Laba nnakutumira nga njogera nti, ‘Jjangu nkutume eri kabaka, omubuuze nti Naviira ki e Gesuli? Kyandibadde kirungi ne mbererayo ddala okutuusa kaakati; kale ka ŋŋende ndabe amaaso ga kabaka, oba nga nnina omusango gwonna anzite.’ ”
33
Awo Yowaabu n'ajja eri kabaka n'amubuulira; kabaka n'ayita Abusaalomu, bwe yagenda gyali n'avuunama mu maaso ge; kabaka n'anywegera Abusaalomu.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24