bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 2
2 Samuel 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
1
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti, “Nnyambuke mu kyonna ku bibuga bya Yuda?” Mukama n'amugamba nti, “Yambuka.” Dawudi n'abuuza nti, “Naayambuka wa?” Mukama n'amugamba nti, “Yambuka e Kebbulooni.”
2
Awo Dawudi n'ayambukayo ne bakazi be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri.
3
Ne basajja be abaali naye n'agenda nabo, buli muntu n'ab'omu nnyumba ye; ne babeera mu bibuga eby'omu Kebbulooni.
4
Awo abasajja ba Yuda ne bajja, ne bafukira eyo amafuta ku Dawudi okuba kabaka w'ennyumba ya Yuda. Ne bamubuulira Dawudi nti ab'e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo.
5
Awo Dawudi n'atumira ab'e Yabesugireyaadi ababaka n'abagamba nti, “Muweebwe Mukama omukisa, kubanga mwalaga mukama wammwe ekisa kino, ye Sawulo, ne mumuziika!
6
Era nno Mukama abalagenga ekisa n'amazima! nange ndibasasula ekisa kino, kubanga mwakola ekigambo ekirungi.
7
Kale nno emikono gyammwe gibe n'amaanyi, era mube bazira; kubanga Sawulo mukama wammwe afudde, era ennyumba ya Yuda banfuseeko amafuta okuba kabaka waabwe.”
8
Era Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lya Sawulo, yali atutte Isubosesi mutabani wa Sawulo, n'amusomosa n'amutwala e Makanayimu;
9
Eyo Abuneeri gye yafuulira Isubosesi kabaka wa Gireyaadi, owa Abasuuli, owa Yezuleeri, owa Efulayimu, owa Benyamini era owa Isiraeri yonna.
10
Isubosesi mutabani wa Sawulo yali awezezza emyaka ana (40) bwe yatanula okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka ebiri (2). Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawudi.
11
N'ebiro Dawudi bye yamala nga ye kabaka w'ennyumba ya Yuda mu Kebbulooni byali emyaka musanvu (7) n'emyezi mukaaga (6).
12
Awo Abuneeri mutabani wa Neeri n'abaddu ba Isubosesi mutabani wa Sawulo ne bava e Makanayimu ne bagenda e Gibyoni.
13
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'abaddu ba Dawudi ne bafuluma ne basisinkana nabo ku kidiba eky'e Gibyoni; ebibinja byombi ne baatula, ekimu ku ludda olumu olw'ekidiba, n'ekirala ku ludda olulala.
14
Abuneeri n'agamba Yowaabu nti, “Abavubuka okuva ku buli ludda, bajje balwanire mu maaso gaffe.” Yowaabu n'addamu nti, “Kale bajje.”
15
Awo ne beesowolayo abavubuka kkumi na babiri (12), aba Isubosesi mutabani wa Sawulo ab'Ekika kya Benyamini, n'abavubuka kkumi na babiri (12) aba Dawudi (12).
16
Buli omu n'akwata ow'oku ludda olulala ku mutwe, n'amufumita ekitala mu mbiriizi, ne bagwira wamu. Awo ekifo ekyo ekiri mu Gibyoni kyebaava bakiyita Kerukasu-kazzulimu.
17
Awo olutalo olw'amaanyi ne lubalukawo ku lunaku olwo, basajja ba Dawudi ne bawangula Abuneeri n'Abaisiraeri.
18
Era batabani ba Zeruyiya bonsatule baali eyo, Yowaabu ne Abisaayi ne Asakeri; era Asakeri yali wa mbiro ng'empeewo ey'omu ttale.
19
Asakeri n'awondera Abuneeri; nga takyama ku ddyo newakubadde ku kkono.
20
Awo Abuneeri bweyatunula emabega n'abuuza nti, “Asakeri, ggwe wuuyo?” Asakeri n'addamu nti, “Nze nzuuno.”
21
Awo Abuneeri n'amugamba nti, “Kyama ku mukono gwo ogwa ddyo oba ku gwa kkono, okwate omu ku balenzi weetwalire eby'okulwanyisa bye.” Naye Asakeri n'atakkiriza kulekerawo kumuwondera.
22
Abuneeri n'addamu nate okugamba Asakeri nti, “Lekera awo okumpondera! Lwaki ompaliriza okukutta? Nnaalabika ntya mu maaso ga muganda wo Yowaabu nga nkusse?”
23
Naye Asakeri era n'ayongera okumuwondera. Awo Abuneeri n'afumita Asakeri omuwunda gw'effumu lye, ne limuyita mu lubuto ne ligguka emabega. Asakeri n'agwa n'afiirawo amangwago. Awo buli muntu eyatuukanga mu kifo ekyo Asakeeri mwe yafiira ng'ayimirira.
24
Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bawondera Abuneeri; awo enjuba n'egwa nga batuuse ku lusozi olw'e Amma, oluli mu maaso ga Giya ku kkubo erigenda mu ddungu lye Gibyoni.
25
Awo abaana ba Benyamini ne begatta ku Abuneeri, ne bafuuka ekibiina kimu, ne bayimirira ku ntikko y'olusozi.
26
Abuneeri n'akoowoola Yowaabu n'amugamba nti, “Tunaalwana kutuusa ddi? Tomanyi nga ku nkomerero tewali kirungi kinaavaamu, okuggyako obulumi obwereere? Tuli baganda bammwe, oliragira ddi basajja bo okukoma okutuwondera?”
27
Yowaabu n'addamu nti, “Katonda nga bw'ali omulamu, singa towanjazze, basajja bange babadde bakukuwondera okutuusa enkya.”
28
Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu bonna ne bayimirira, so tebeeyongera kuwondera Isiraeri. Awo olutalo ne lulyoka luggwa.
29
Awo Abuneeri n'abasajja be ne batambula ekiro kyonna mu Alaba, ne basomoka Yoludaani ne bayita mu Bisulooni yonna ne batuuka e Makanayimu.
30
Awo Yowaabu bwe yakomawo ng'ava okuwondera Abuneeri, n'akuŋŋaanya basajja be bonna, n'asanga nga kubulako kkumi na mwenda (19) nga tobaliddeemu Asakeri.
31
Naye abasajja ba Dawudi baali basse ku ba Benyamini n'abasajja ba Abuneeri; abasajja bisatu mu nkaaga (360).
32
Ne basitula omulambo gwa Asakeri ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe eyali mu Besirekemu. Yowaabu ne basajja be ne batambula ekiro kyonna ne bubakeererera e Kebbulooni.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24