bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 5
2 Samuel 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
1
Awo ebika byonna ebya Isiraeri ne bajja eri Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti, “Tuli ba luganda era ba musaayi gumu naawe.
2
Mu biro eby'edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, ggwe wakulemberanga Isiraeri mu ntalo. Mukama n'akugamba nti, ‘Ggwe onookulemberanga abantu bange Isiraeri, era onoobanga mufuzi wa Isiraeri.’ ”
3
Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; kabaka Dawudi n'alagaanira nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama; ne bamufukako Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri.
4
Dawudi weeyafuukira kabaka yali awezezza emyaka asatu (30), n'afugira emyaka ana (40).
5
Yafugira Yuda e Kebbulooni okumala emyaka musanvu (7), n'emyezi mukaaga (6), n'afugira Isiraeri yenna ne Yuda mu Yerusaalemi okumala emyaka asatu mu esatu (33).
6
Awo Dawudi n'abasajja be ne bagenda e Yerusaalemi okulwana n'Abayebusi abatuuze baayo. Abayebusi abo ne balowooza nti Dawudi tayinza kuwangula n'ayingira ekibuga ekyo. Kye baava bamugamba nti, “Toliyingira mu kibuga kino kubanga bamuzibe n'abalema basobola okukuziyiza.”
7
Kyokka Dawudi n'awamba ekigo eky'e Sayuuni; ne kifuuka ekibuga kya Dawudi.
8
Dawudi n'ayogera ku lunaku olwo nti, “Buli anatta Abayebusi, ayambukire mu mukutu gw'amazzi atte abazibe b'amaaso n'abawenyera emmeeme ya Dawudi bekyawa.” Kyebaava boogera nti, “Waliwo abazibe b'amaaso n'abawenyera; tayinza kuyingira mu nnyumba.”
9
Dawudi bwe yamala okuwamba ekigo n'akituuma erinnya “Ekibuga kya Dawudi” era n'azimba okukyetooloola okuva e Miiro n'okudda munda.
10
Awo Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba omukulu; kubanga Mukama, Katonda ow'eggye, yali naye.
11
Awo Kiramu kabaka w'e Ttuulo n'atumira Dawudi ababaka n'amuweereza emivule, ababazzi n'abazimbi b'amayinja ne bazimbira Dawudi ennyumba.
12
Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isiraeri, era nga agulumizizza obwakabaka bwe ku lw'abantu be Isiraeri.
13
Awo Dawudi ne yeeyongera okuwasa abazaana n'abakazi ng'abaggya mu Yerusaalemi, ng'amaze okuva e Kebbulooni; Dawudi n'azaalirwa nate abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
14
Gano ge mannya g'abaana Dawudi be yazaalira e Yerusaalemi; Sammuwa ne Sobabu ne Nasani ne Sulemaani,
15
ne Ibali ne Eriswa; ne Nefegi ne Yafiya;
16
ne Erisaama ne Eriyada ne Erifereti.
17
Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Dawudi bamaze okumufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, Abafirisuuti bonna ne bambuka okunoonya Dawudi; naye Dawudi n'akiwulira ne yeekweka mu mpuku.
18
Awo Abafirisuuti baali bazze nga babunye mu kiwonvu Lefayimu.
19
Awo Dawudi n'abuuza Mukama nti, “Nnyambuke eri Abafirisuuti? On'obagabula mu mukono gwange?” Mukama n'agamba Dawudi nti, “Yambuka; kubanga siireme kugabula Bafirisuuti mu mukono gwo.”
20
Dawudi n'ajja e Baalu-perazimu, Dawudi n'abakubira eyo; n'ayogera nti Mukama amenye abalabe bange, ng'amazzi bwe gawaguzza ne gaanjaala. Kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Baaluperazimu.
21
Abafirisuuti bwe badduka, baalekayo ebifaananyi byabwe ebisinzibwa, Dawudi ne basajja be ne babitwala.
22
Awo Abafirisuuti ne balumba nate omulundi ogwokubiri ne babuna mu kiwonvu Lefayimu.
23
Era Dawudi n'addamu okubuuza Mukama. Mukama n'amuddamu nti, “Tobalumbira wano; weetooloole odde emabega waabwe obalumbe ng'osinziira mu maaso g'emitugunda.
24
Awo bw'onoowulira enswagiro ku masanso g'emitugunda, n'olyoka obalumba kubanga nze Mukama nnaaba nkulembeddemu okuwangula eggye ly'Abafirisuuti.”
25
Awo Dawudi n'akola bw'atyo nga Mukama bwe yamulagira, era n'atta Abafirisuuti okuva e Geba okutuusa e Gezeri.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24