bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 17
2 Samuel 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
1
Era nate Akisoferi n'agamba Abusaalomu nti, “Ka nnonde nno abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000) ŋŋende mpondere Dawudi ekiro kino.
2
Nja kumutuukako ng'akyali mukoowu era ng'aweddemu amaanyi, mmukube entiisa, n'abantu bonna abali naye badduke, nzite kabaka yekka.
3
Awo ndyoke nkomyewo abantu bonna gy'oli, ng'omukazi bw'akomawo ewa bba. Gwe weetaaga okutta, ali omu, abantu bonna balyoke babe n'emirembe.”
4
Okuteesa okwo Abusaalomu n'akusiima nnyo n'abakadde ba Isiraeri bonna.
5
Awo Abusaalomu n'ayogera nti, “Mpitira nno ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire naye ky'agamba.”
6
Kusaayi bwe yajja eri Abusaalomu, Abusaalomu n'amugamba nti, “Akisoferi atugambye bw'ati ne bw'ati. Tukole nga bw'agambye? Oba si kyo gwe ogamba otya?”
7
Awo Kusaayi n'agamba Abusaalomu nti, “Okuteesa Akisoferi kw'aleese omulundi guno si kulungi.”
8
Era nate Kusaayi n'amugamba nti, “Omanyi kitaawo n'abasajja be nga basajja ba maanyi, era nga baliko obusungu mu myoyo gyabwe, nga obw'eddubu ennyagiddwako abaana baayo ku ttale; era kitaawo musajja mulwanyi, tayinza kusula mu bantu.
9
Era kaakano yeekwese mu bunnya oba awantu awalala. Bwe wanaabaawo abafa mu lulumba olusooka, abanaakiwulira bajja kugamba nti, ‘abagoberezi ba Abusaalomu battiddwa nnyo.’
10
Awo era n'omuzira alina omutima oguliŋŋaanga omutima gw'empologoma, aligweramu ddala amaanyi; kubanga Isiraeri yenna bamanyi nga kitaawo musajja wa maanyi, n'abo abali naye nga basajja bazira.
11
Naye nze amagezi genkuwa, kuŋŋaanya Isiraeri yenna, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, babe bangi ng'omusenyu gw'ennyanja; naawe mwene otabaale.
12
Tulimuketta ne tumuzindukiriza, netumugwako nga omusulo bwe gugwa ku ttaka; tulitta abasajja be bonna obutalekawo n'omu.
13
Bw'aliddukira mu kibuga, kale Isiraeri yenna alireeta emigwa eri ekibuga ekyo, ne tukiwalulira mu mugga, okutuusa lwe watalirabikayo kayinja n'akamu.”
14
Awo Abusaalomu n'abasajja ba Isiraeri bonna ne boogera nti, “Okuteesa kwa Kusaayi Omwaluki kusinze okuteesa kwa Akisoferi.” Kubanga Mukama yali asazeewo okuteesa okulungi Akisoferi kwe yaleeta kuleme kugobererwa alyoke aleete akabi ku Abusaalomu.
15
Awo Kusaayi n'abuulira Zadoki ne Abiyasaali bakabona nti, “Bw'atyo ne bw'atyo Akisoferi bw'awadde Abusaalomu n'abakadde ba Isiraeri amagezi; ate bw'enti nange bwe mbawadde amagezi.
16
Kale nno mutume mangu mubuulire Dawudi nti, ‘Tosula mu kiro kino awasomokerwa mu ddungu; mu ngeri yonna asomoke, kabaka aleme okumalibwawo n'abantu bonna abali naye.’ ”
17
Awo Yonasaani ne Akimaazi ne balindiranga ku Luzzi Enerogeri, kubanga baali beewala okulabibwa mu kibuga. Omuzaana n'agendanga n'ababuulira nabo ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi.
18
Naye lwali lumu omulenzi n'abalaba n'ategeeza Abusaalomu; awo bombi ne bagenda mangu ne batuuka ku nnyumba y'omusajja e Bakulimu, eyalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo.
19
Omukazi n'addira ekisaanikira n'asaanikira ku luzzi, n'ayanjalirako eŋŋaano ensekule; nga tewaali ayinza kubaako kyamanya.
20
Awo abaddu ba Abusaalomu ne bajja eri omukazi mu nnyumba ne bamubuuza nti, “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” Omukazi n'abaddamu nti, “Basomose akagga bagenze.” Awo bwe banoonya ne batabalaba ne baddayo e Yerusaalemi.
21
Awo abaddu ba Abusaalomu nga bamaze okugenda, Akimaazi ne Yonasaani ne bavaayo mu luzzi ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi. Awo ne bagamba Dawudi nti, “Mugolokoke mangu musomoke kubanga Akisoferi abasalidde amagezi okubalwanyisa.”
22
Awo Dawudi n'asituka n'abantu bonna be yali nabo ne basomoka Yoludaani; emmambya okugenda okusala nga bamaze okusomoka.
23
Akisoferi bwe yalaba nga amagezi ge tebagagoberedde, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n'addayo eka mu kibuga ky'ewaabwe, n'atereeza eby'omu maka ge, ne yeetuga ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe.
24
Awo Dawudi n'ajja e Makanayimu. Abusaalomu naye n'asomoka Yoludaani ng'ali n'abasajja ba Isiraeri bonna.
25
Abusaalomu n'alonda Amasa okubeera omukulu w'eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Isira Omuisiraeri eyali awasizza Abbigayiri muwala wa Nakasi, muganda wa Zeruyiya nnyina wa Yowaabu.
26
Awo Isiraeri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi.
27
Awo olwatuuka Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow'e Labba eky'abaana ba Amoni ne Makiri mutabani wa Ammiyeri ow'e Lodebali ne Baluzirayi Omugireyaadi ow'e Logerimu,
28
ne baleeta ebitanda, n'ebibya, n'entamu, n'eŋŋaano, ne sayiri, n'obutta, n'eŋŋaano ensiike, n'ebijanjaalo, n'empindi, n'empokya ensiike,
29
n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo, n'endiga, n'amata g'ente amakalu, nga bamuleetera Dawudi n'abantu abali naye okulya; kubanga baayogera nti, “Abantu balumiddwa nnyo enjala ne nnyonta era bakoyedde nnyo mu ddungu.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24