bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 15
2 Samuel 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 16 →
1
Awo oluvannyuma lw'ebyo, Abusaalomu ne yeetegekera eggaali n'embalaasi n'abasajja ataano (50) okumukulemberanga.
2
Awo Abusaalomu n'agolokokanga buli nkya n'ayimiriranga ku kkubo erya wankaaki w'ekibuga; omuntu yenna bwe yabanga n'ensonga emwetaagisa okulaba kabaka amulamula, Abusaalomu ng'amuyita n'amubuuza nti, “Oli wa ku kyalo ki?” N'amuddamu nti, “Omuddu wo ava mu kimu ku bika bya Isiraeri.”
3
Abusaalomu n'amugamba nti, “Ebigambo byo birungi; naye tewali muntu kabaka gw'asigidde ku kuwuliriza.”
4
Abusaalomu n'ayogeranga era nti, “Singa nze mulamuzi mu nsi! Buli muntu eyandizenga gyendi ng'alina ensonga nali mulamuliddenga mu mazima.”
5
Awo omuntu bwe yasemberanga awali Abusaalomu okumuvuunamira, nga Abusaalomu agolola omukono gwe ng'amukwatako era ng'amunywegera.
6
Abusaalomu bwe yakolanga Abaisiraeri bonna abajjanga eri kabaka okubalamula; n'abba bwatyo emyoyo gy'abantu ba Isiraeri.
7
Awo olwatuuka emyaka ena (4) bwe gyayitawo, Abusaalomu n'asaba kabaka nti, “Nkwegayiridde ka ŋŋende e Kebbulooni nsasule obweyamo bwange eri Mukama.
8
Kubanga omuddu wo bwe yali e Gesuli mu Busuuli yeeyama eri Mukama nti, ‘Mukama bwalinkomyawo e Yerusaalemi ndimuweereza.’ ”
9
Kabaka n'amugamba nti, “Genda mirembe.” Awo n'agolokoka n'agenda e Kebbulooni.
10
Naye Abusaalomu n'atuma ababaka okubunya ebika byonna ebya Isiraeri ng'ayogera nti, “Bwemunaawulira eddoboozi ly'ekkondeere ne mulyoka mwogera nti, ‘Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni.’ ”
11
Abusaalomu n'agenda n'abasajja bibiri (200), abaava e Yerusaalemi ne bagenda nga tebamanyiridde; so nga tebamanyi kigambo kyonna.
12
Awo Abusaalomu n'atumya Akisoferi ow'e Giro, omuwi w'amagezi owa Dawudi, ajje amwegatteko. Okwekobaana ne kuba kw'amaanyi, abeekobaana ne Abusaalomu ne bagenda nga beeyongera obungi.
13
Omubaka n'ajja eri Dawudi n'amugamba nti, “Emyoyo gy'abasajja ba Isiraeri giwuguse, bagoberedde Abusaalomu.”
14
Awo Dawudi n'agamba abaddu be bonna abaali naye nti, “Tudduke; bwe tutadduke, tewaabeewo n'omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Mwanguwe okugenda, aleme kututukako kutuletako kabi, n'atta abantu ab'omu kibuga n'obwogi obw'ekitala.”
15
Awo abaddu ba kabaka ne bagamba kabaka nti, “Laba, abaddu bo beeteeseteese okukola kyonna mukama wange kabaka ky'anaayagala.”
16
Kabaka n'afuluma n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bamugoberera. Kabaka n'aleka abakazi kkumi (10) abazaana okukuuma ennyumba.
17
Awo kabaka n'afuluma abantu bonna ne bamugoberera; ne babeera e Besu-meraki.
18
Abaddu be bonna ne bamuyitako ku mabbali; n'Abakeresi bonna n'Abaperesi bonna n'Abagitti bonna, abasajja lukaaga (600) abaamugoberera okuva e Gaasi, ne bayita mu maaso ga kabaka.
19
Awo kabaka n'agamba Ittayi Omugitti nti, “Lwaki ggwe ogenda naffe? Ddayo obeere ne kabaka, kubanga oli munnaggwanga eyagobebwa. Ddayo ewammwe.
20
Ggwe eyajja jjo, nnaakubungeesa ntya awamu naffe, nga nange simanyi gye ŋŋenda? Ddayo, ozzeeyo ne baganda bo; okusaasira n'amazima bibeere naawe.”
21
Ittayi n'addamu kabaka n'ayogera nti, “Mukama nga bw'ali omulamu ne mukama wange kabaka nga bw'ali omulamu, mazima mu kifo kyonna mukama wange kabaka w'anaabanga, oba okufa oba okuba omulamu, eyo n'omuddu wo gy'anaabanga.”
22
Awo Dawudi n'agamba Ittayi Omugitti nti, “Yitawo osomoke.” Ittayi Omugitti n'asomoka n'abasajja be bonna n'abaana abato bonna abaali naye.
23
Abantu bonna ne bakaaba n'eddoboozi ddene, abantu bonna ne basomoka; ne kabaka naye n'asomoka akagga Kidulooni, ne bagenda mu ddungu.
24
Awo kabona, Zadoki naye n'ajja n'Abaleevi bonna nga basitudde essanduuko ya Katonda ey'endagaano. Ne Abiyasaali n'agenda. Essanduuko ya Katonda ne bagiwummuza wansi, okutuusa abantu bonna lwe baamala okuva mu kibuga.
25
Awo Kabaka n'agamba Zadoki nti, “Essanduuko ya Katonda gizzeeyo mu kibuga. Mukama bw'aliba ankwatiddwa ekisa, alinkomyawo ne ngiraba yo era n'ennyumba ye.
26
Kyokka bw'aligamba nti, ‘Sikusanyukira n'akatono;’ kale nzuuno nzikirizza ankole nga bw'asiima.”
27
Era kabaka n'agamba Zadoki kabona nti, “Ggwe toli mulabi? Ddayo mu kibuga mirembe, ne batabani bo bombi, Akimaazi mutabani wo ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali.
28
Nze nja kusigala nga nnindira ku kagga we basomokera okugenda mu ddungu, okutuusa lwe munantumira ne mubaako kye muntegeeza.”
29
Awo Zadoki ne Abiyasaali ne batwala essanduuko ya Katonda ne bagizzayo mu Yerusaalemi, n'abo ne basigala eyo.
30
Awo Dawudi n'ayambuka ku lusozi olw'emizeyituuni, n'agenda ng'akaaba amaziga nga yeebisse ku mutwe era nga talina ngatto, n'abantu bonna abaali naye ne beebikka ku mitwe gyabwe ne bambuka nga bakaaba amaziga.
31
Ne wabaawo eyabuulira Dawudi nti, “Akisoferi ali mw'abo abeekobaanye ne Abusaalomu.” Dawudi n'asaba nti, “Nkwegayiridde, ayi Mukama, fuula okuteesa kwa Akisoferi okuba obusirusiru.”
32
Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko we basinzizanga Katonda, Kusaayi Omwaluki n'ajja okumusisinkana ng'ayuzizza ekizibawo kye nga yeesiize n'ettaka mu mutwe gwe.
33
Dawudi n'amugamba nti, “Bw'onoogenda nange ojja kunzitoowerera;
34
naye bw'onoddayo mu kibuga n'ogamba Abusaalomu nti, ‘Nze nnabanga omuddu wo, ayi kabaka; nga bwe nnabanga omuddu wa kitaawo mu biro eby'edda;’ olwo ojja kutataganya okuteesa kwa Akisoferi.
35
Bakabona Zadoki ne Abiyasaali bajja kubeerayo wamu naawe, kale buli kigambo kyonna ky'onoowuliranga okuva mu nnyumba ya kabaka, onookibuuliranga bakabona Zadoki ne Abiyasaali.
36
Laba, batabani baabwe bombi bali nabo eyo, Akimaazi mutabani wa Zadoki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali; abo be munaantumiranga okuntegeeza buli kye munaawuliranga.”
37
Awo Kusaayi mukwano gwa Dawudi n'addayo mu kibuga Yerusaalemi, ne bakituukiramu kumu ne Abusaalomu.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24