bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 18
2 Samuel 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
1
Awo Dawudi n'abala abantu abali naye n'abateekako abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi.
2
Dawudi n'agaba eggye nga liri mu bibinja bisatu (3) ebyenkanankana. Ekibinja ekimu ne kikulirwa Yowaabu, ekirala ne kikulirwa Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, era muganda wa Yowaabu, n'ekirala ne kikulirwa Ittayi Omugitti. Kabaka n'agamba abantu nti, “Nange kennyini nja kugenda nammwe.”
3
Naye abantu ne bagamba nti, “Tojja kugenda, kubanga ffe bwe tunadduka, abalabe tebajja kussaayo mwoyo kuffe. Wadde ku bantu baffe ne bwe kunaafaako ekimu eky'okubiri, era abalabe tebajja kussaayo mwoyo ku ffe. Naye ggwe wenkana abantu omutwalo mulamba (10,000), mu ffe. Kale nno ekisinga obulungi sigala, weeteeketeeke okutuddukirira nga osinzira mu kibuga.”
4
Kabaka n'abagamba nti, “Kye musiima kye nnaakola.” Kabaka n'ayimirira ku mabbali g'omulyango, abantu bonna ne bafuluma n'enkumi.
5
Awo kabaka n'alagira Yowaabu ne Abisaayi ne Ittayi ng'ayogera nti, “Mumukwata mpola ku lwange omulenzi, Abusaalomu.” Abantu bonna ne bawulira kabaka bwe yalagira abaami bonna ebigambo bya Abusaalomu.
6
Awo abantu ne batabaala okulwana ne Isiraeri; olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu.
7
Awo abantu ba Isiraeri ne bagobebwa eyo mu maaso g'abaddu ba Dawudi, ne waba eyo ku lunaku olwo okuttibwa kungi okw'abasajja emitwalo ebiri (20,000).
8
Olutalo ne lubuna ekitundu ekyo kyonna; ekibira ne kitta abantu bangi ku lunaku olwo okusinga ekitala be kyatta.
9
Awo Abusaalomu yali yeebagadde ennyumbu ye, abaddu ba Dawudi ne bamugwikiriza nga tategedde, n'adduka; ennyumbu ye neyita wansi w'amatabi amaziyivu ag'omwera omunene, omutwe gwe ne gguwagamira mu matabi g'omwera ogwo, n'alengejja, ennyumbu ye n'egenda mu maaso.
10
Ne waba omusajja eyakiraba n'abuulira Yowaabu n'ayogera nti, “Laba, ndabye Abusaalomu ng'alengejjera ku mwera.”
11
Yowaabu n'agamba omusajja eyamubuulira nti, “Oba nga omulabye kiki ekikulobedde okumufumita n'omutta? Nange nnandikuwadde ebitundu ebya ffeeza kkumi (10) n'olukoba.”
12
Omusajja n'agamba Yowaabu nti, “Nebwewandimpadde ebitundu bye ffeeza lukumi (1,000), era sandigolodde mukono gwange ku mwana wa kabaka; kubanga twawulira bulungi kabaka nga akulagira ggwe ne Abisaayi ne Ittayi ng'agamba nti, ‘Mwegendereze tewaba akola akabi konna ku mulenzi Abusaalomu.’
13
Naye singa n'ajjemedde ekiragiro kya kabaka n'emutta, kabaka yandikitegedde, kubanga tewali kigambo nakimu ekikwekebwa kabaka, era naawe wennyini tewandimpolereza.”
14
Awo Yowaabu n'ayogera nti, “Sijja kuddawo kutootatoota naawe bwe ntyo.” Kwekuddira obusaale busatu (3) n'abukuba Abusaalomu mu mutima bwe yali ng'akyali mulamu nga alengejjera ku mwera.
15
N'abalenzi kkumi (10) abaatwalanga eby'okulwanyisa ebya Yowaabu nabo ne bajja ne bamufumita naafa.
16
Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu ne balekera awo okuwondera Abaisiraeri, ne bakomawo, kubanga Yowaabu yabayimiriza.
17
Ne batwala omulambo gwa Abusaalomu ne bagusuula mu bunnya obunene obwali mu kibira, ne bagutuumako entuumo y'amayinja ennene ennyo; awo Abaisiraeri ne baddukira buli muntu mu maka ge.
18
Abusaalomu bwe yali akyali mulamu, yesimbira empagi mu kiwonvu kya kabaka; kubanga yagamba nti, “Sirina mwana kwe balijjuukirira linnya lyange.” Empagi eyo n'agituuma erinnya lye, era eyitibwa ekijjukizo kya Abusaalomu ne leero.
19
Awo Akimaazi mutabani wa Zadoki n'ayogera nti, “Ka nziruke kaakano ntwalire kabaka ebigambo mutegeeze nga Mukama bw'amuwalanidde eggwanga ku balabe be.”
20
Yowaabu n'amugamba nti, “Tootwale bigambo leero, naye olibitwala olulala; kubanga omwana wa kabaka afudde.”
21
Awo Yowaabu n'agamba Omukusi nti, “Gwe oba ogenda obuulire kabaka by'olabye.” Omukusi n'akutamako mu maaso ga Yowaabu n'adduka.
22
Awo Akimaazi mutabani wa Zadoki n'agamba Yowaabu omulundi ogwokubiri nti, “Nkwegayiridde nange ka male gadduka ngoberere Omukusi.” Yowaabu n'amugamba nti, “Mwana wange oyagalira ki okudduka nga toweebwe mpeera olw'ebigambo byo?”
23
Akimaazi n'addamu nti, “Naye ka mmale gadduka.” Yowaabu n'amugamba nti, “Dduka.” Awo Akimaazi n'addukira mu kkubo ery'Olusenyi n'ayisa Omukusi.
24
Dawudi yali atudde wansi w'ekisasi ekiri wakati w'emiryango ebiri. Omukuumi n'alinnya waggulu ku kisenge, mu kafo awalengererwa ak'oku wankaaki, n'ayimusa amaaso ge, n'alengera omusajja ajja adduka ng'ali bw'omu.
25
Omukuumi n'ayogerera waggulu n'abuulira kabaka. Kabaka n'agamba nti, “Oba ng'ali omu, aleese bigambo birungi.” Omuddusi neyeyongera okujja nga asembera.
26
Omukuumi ate n'alaba omusajja ow'okubiri ng'ajja adduka yekka; omukuumi n'akoowoola omuggazi n'amugamba nti, “Ate waliwo omusajja ow'okubiri era naye adduka yekka.” Kabaka n'ayogera nti, “Era naye aleese ebigambo.”
27
Omukuumi n'ayogera nti, “Ndaba nga omusajja akulembedde adduka nga Akimaazi mutabani wa Zadoki.” Kabaka n'ayogera nti, “Omusajja oyo mulungi n'ebigambo by'azze nabyo birungi.”
28
Akimaazi n'akoowoola n'agamba kabaka nti, “Mirembe.” N'avuunama mu maaso ga kabaka n'agamba nti, “Atenderezebwe Mukama Katonda wo, awaddeyo abasajja abajeemera mukama wange kabaka.”
29
Kabaka n'abuuza nti, “Omulenzi Abusaalomu gy'ali mirembe?” Akimaazi n'addamu nti, “Yowaabu bwe yantuma nze omuddu wo, nnalaba okubugutana naye ne sitegeera ebyaliwo.”
30
Awo Kabaka n'amugamba nti, “Dda ku mabbali, oyimirire awo.” N'adda ku mabbali, n'ayimirira.
31
Awo n'Omukusi naye n'atuuka; n'ayogera nti, “Ndeetedde mukama wange kabaka ebigambo; kubanga leero Mukama awalanye eggwanga ku abo bonna abajeemera mukama wange kabaka.”
32
Kabaka n'agamba, Omukusi nti, “Omulenzi Abusaalomu gy'ali mirembe?” Omukusi n'addamu nti, “Abalabe ba mukama wange kabaka n'abo bonna abaamujeemera babe ng'omulenzi oyo bw'ali.”
33
Awo kabaka n'anakuwala nnyo, n'alinnya waggulu mu kisenge ekiri waggulu ku wankaaki, n'akaaba amaziga, era n'agenda ng'akuba ebiwoobe nti, “Woowe, omwana wange Abusaalomu! omwana wange Abusaalomu! omwana wange Abusaalomu! Kale singa nze nfudde mu kifo kyo! Mwana wange Abusaalomu, mwana wange!”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24