bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 9
2 Samuel 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
1
Dawudi n'abuuza nti, “Wakyaliwo omuntu asigaddewo ku b'omu nnyumba ya Sawulo, mmukolere eby'ekisa ku lwa Yonasaani?”
2
Awo waaliwo ku nnyumba ya Sawulo omuddu erinnya lye Ziba, ne bamuyita okugenda eri Dawudi; kabaka n'abuuza nti, “Ggwe Ziba?” N'addamu nti, “ Omuddu wo ye wuuyo.”
3
Kabaka n'amubuuza nti, “Tewakyali wa nnyumba ya Sawulo mmukolere eby'ekisa kya Katonda?” Ziba n'addamu kabaka nti, “ Wakyaliwo omwana wa Yonasaani, eyalemala ebigere.”
4
Kabaka n'amubuuza nti, “ Ali ludda wa?” Ziba n'agamba kabaka nti, “Laba, ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.”
5
Awo kabaka Dawudi n'atumya Mefibosesi ne bamuggya mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.
6
Awo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani muzzukulu wa Sawulo n'ajja eri Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza. Dawudi n'amuyita nti, “Mefibosesi,” n'addamu nti, “Nze nzuuno omuddu wo.”
7
Dawudi n'amugamba nti, “Totya; kubanga nja kukolera eby'ekisa ku lwa Yonasaani kitaawo, era ndikuddiza ebyalo byonna ebya Sawulo jjajjaawo; era onoolyanga emmere ku mmeeza yange ennaku zonna.”
8
Ne yeeyanza n'ayogera nti, “Omuddu wo nze ani ggwe okundowozaako kubanga ninga embwa enfu.”
9
Awo kabaka n'ayita Ziba, omuddu wa Sawulo, n'amugamba nti, “Byonna ebyabanga ebya Sawulo n'eby'ennyumba ye yonna mbiwadde omwana wa mukama wo.
10
Naawe onoomulimiranga emmere, ggwe ne batabani bo n'abaddu bo; era onooyingizanga ebibala omwana wa mukama wo abenga ne by'anaalyanga; naye Mefibosesi omwana wa mukama wo anaalyanga emmere ennaku zonna ku mmeeza yange.” Era Ziba yalina abaana kkumi na bataano (15) n'abaddu abiri (20).
11
Awo Ziba n'agamba kabaka nti, “Mukama wange kabaka nga bw'alagidde omuddu we, bw'atyo omuddu wo bw'anaakolanga.” Bw'atyo Mefibosesi naaliranga ku mmeeza ya kabaka ng'omu ku baana ba kabaka.
12
Era Mefibosesi yalina omwana omuto omulenzi, erinnya lye Mikka. Ne bonna abaabeera mu nnyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi.
13
Awo Mefibosesi n'abeera mu Yerusaalemi; kubanga bulijjo yaaliranga ku mmeeza; era yalemala ebigere bye byombi.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24