bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 12
2 Samuel 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
1
Awo Mukama n'atuma Nasani eri Dawudi. N'agenda gy'ali n'amugamba nti, “Waaliwo abasajja babiri mu kibuga kimu; omu nga mugagga n'omulala nga mwavu.
2
Omugagga yalina endiga n'ente nnyingi nnyo nnyini;
3
naye omwavu teyalina kantu wabula akaana k'endiga akaluusi ke yagula n'akalabirira; ne kakulira wamu n'abaana be; kaalyanga ku mmere ye, ne kanywanga ku kikopo kye, ne kagalamira mu kifuba kye ne kaba gy'ali nga muwala we.
4
Awo ne wajja omutambuze eri omugagga oyo, n'alema okutoola ku ndiga ze ye ne ku nte ze ye, okufumbira omutambuze eyajja gy'ali, naye n'atwala omwana gw'endiga ogw'omwavu, n'agufumbira omusajja azze gy'ali.”
5
Awo Dawudi n'asunguwalira nnyo omusajja; n'agamba Nasani nti, “Mukama nga bw'ali omulamu, omusajja oyo eyakola ekyo asaanidde kufa;
6
era alizzaawo omwana gw'endiga emirundi ena (4), kubanga bweyakola ekyo teyalina kusaasira.”
7
Awo Nasani n'agamba Dawudi nti, “Ye ggwe. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, ‘Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri ne nkuggya mu mukono gwa Sawulo;
8
ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne bakazi ba mukama wo ne mbakuwa mu kifuba kyo, ne nkuwa ennyumba ya Isiraeri n'eya Yuda; n'ebyo singa byali bitono, n'andikwongeddeko ne birala bingi.
9
Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama okukola ebiri mu maaso ge ebibi? Osse Uliya Omukiiti n'ekitala, n'otwala mukazi we okuba mukazi wo, omusse n'ekitala eky'abaana ba Amoni.
10
Kale nno ekitala tekiivenga mu nnyumba yo ennaku zonna; kubanga nze onnyoomye nze n'otwala mukazi wa Uliya Omukiiti okuba mukazi wo.’
11
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndikuyimusizaako obubi obuliva mu nnyumba yo ggwe, era nditwala bakazi bo nga olaba ne mbawa muliraanwa wo, era alyebaka nabo emisana ttuku.
12
Kubanga ggwe wakikola mu kyama; naye nze ndikikola nga Abaisiraeri bonna balaba, emisana ttuku.’ ”
13
Awo Dawudi n'agamba Nasani nti, “Nnyonoonye Mukama.” Nasani n'agamba Dawudi nti, “Mukama naye aggyeewo ekyonoono kyo; toofe.
14
Naye kubanga owadde abalabe ba Mukama ebbanga ddene okuvvoola olw'ekikolwa ekyo, omwana akuzaaliddwa ajja kufa.”
15
Awo Nasani ne yeddirayo mu nnyumba ye. Awo Mukama n'alwaza omwana muka Uliya gwe yazaalira Dawudi; Omwana n'alwala nnyo.
16
Dawudi kyeyava yeegayirira Katonda olwo mwana; Dawudi n'asiiba n'ayingira mu nnyumba, n'agalamira ku ttaka okukeesa obudde.
17
Awo abakadde ab'omu nnyumba ye ne bajja, ne bayimirira w'ali, okumuyimusa okuva wansi, naye n'atakkiriza era n'agaana n'okulya nabo emmere.
18
Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu omwana n'afa. Abaddu ba Dawudi ne batya okumubuulira omwana ng'afudde; kubanga baayogera nti, “Laba, omwana bwe yali ng'akyali mulamu ne twogera naye, n'atawulira ddoboozi lyaffe; kale anaabeera atya bwe tunaamubuulira nti omwana afudde?”
19
Naye Dawudi bwe yalaba abaddu be nga boogerera wamu ekyama, Dawudi n'ategeera omwana ng'afudde; Dawudi n'abuuza nti, “Omwana afudde?” Ne bamuddamu nti, “ Afudde.”
20
Awo Dawudi n'ava wansi n'anaaba n'asaaba amafuta, n'akyusa ebyambalo bye; n'agenda mu nnyumba ya Mukama n'asinza; n'alyoka addayo mu nnyumba ye; awo bwe yayagala okulya ne bateeka emmere mu maaso ge n'alya.
21
Awo abaddu be ne bamubuuza nti, “Kiki kino ky'okoze? Wasiiba n'okaabira omwana bwe yali ng'akyali mulamu; naye omwana ng'afudde, n'ogolokoka n'olya ku mmere!”
22
Dawudi n'addamu nti, “Omwana bwe yali ng'akyali mulamu, nnasiiba ne nkaaba; kubanga nnalowooza nti, ‘Ani amanyi oba olyawo Mukama anankwatirwa ekisa omwana n'awona.’
23
Naye kaakano ng'amaze okufa nnandisiibidde ki? Nnyinza okumukomyawo? Nze ndigenda gy'ali naye ye takyadda gye ndi.”
24
Dawudi n'akubagiza Basuseba mukazi we n'ayingira gy'ali n'asula naye; n'azaala omwana ow'obulenzi n'amutuuma erinnya lye Sulemaani. Mukama n'amwagala;
25
Mukama n'atuma Nnabbi Nasani, n'atuuma omwana erinnya lye Yedidiya, kubanga Mukama yamwagala.
26
Awo Yowaabu n'alwana n'abaana ba Amoni, n'awamba Labba ekibuga kya kabaka.
27
Awo Yowaabu n'atumira Dawudi ababaka n'agamba nti, “Nnwanye ne Labba, ekibuga eky'amazzi nkiwambye.
28
Kale nno kuŋŋaanya abantu bonna abasigaddewo ozingize ekibuga okimenye; nneme okumenya ekibuga ne bakituuma erinnya lyange.”
29
Dawudi n'akuŋŋaanya abantu bonna n'agenda e Labba, n'alwana nakyo n'akimenya.
30
N'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe; n'obuzito bwayo bwali talanta eya zaabu, ne mu yo nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; n'eteekebwa ku mutwe gwa Dawudi. Mu kibuga n'aggyamu omunyago mungi nnyo.
31
Abantu baamu n'abaggyamu, n'abakozesa emirimu nga bakozesa emisumeeno, n'ensuuluulu, n'embazzi, era n'abakozesa mu kwokya amatoffaali. Era bw'atyo bwe yakola abantu bonna mu bibuga by'Abamoni. Awo Dawudi n'abantu be bonna ne baddayo e Yerusaalemi.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24