bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 19
2 Samuel 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
1
Awo ne babuulira Yowaabu nti, “Laba, kabaka akaaba amaziga akungubagira Abusaalomu.”
2
Awo ku lunaku olwo essanyu ery'obuwanguzi ate nerifuuka kukungubaga eri abantu bonna; kubanga abantu bawulira ku lunaku olwo nti, “Kabaka akungubagira mutabani we.”
3
Abantu ne badda mu kibuga ku lunaku olwo nga basooba, ng'abantu abakwatiddwa ensonyi bwe basooba nga badduse mu lutalo.
4
Kabaka n'abikka ku maaso ge, kabaka n'akaaba n'eddoboozi ddene nti, “Woowe! mwana wange Abusaalomu, woowe Abusaalomu, mwana wange, mwana wange!”
5
Awo Yowaabu n'ayingira mu nnyumba eri kabaka, n'amugamba nti, “Olwaleero oswazizza abaddu bo bonna n'obamalamu amaanyi, abaawonyezza leero obulamu bwo n'obulamu bwa batabani bo ne bawala bo n'obulamu bwa bakazi bo n'obulamu bw'abazaana bo;
6
kubanga oyagala abakukyawa, n'okyawa abo abakwagala. Olwaleero olagidde ddala lwatu nti abakulu mu ggye lyo n'abaddu bo, tobalabamu mugaso. Olwaleero ntegedde nti singa Abusaalomu abadde mulamu, ffe fenna nga tufudde, wandisanyuse nnyo.
7
Kale nno situka ofulume oyogere bulungi n'abaddu bo; kubanga ndayira Mukama, bw'otoofulume, abasajja bonna bajja kukwabuulira ekiro kino; ekyo kijja kukuviiramu akabi akasinga ke wali olabye okuva mu buto bwo n'okutuusa kati.”
8
Awo kabaka n'asituka n'atuula mu mulyango. Ne babuulira abantu bonna nti, “Laba, kabaka atudde mu mulyango;” abantu bonna ne bajja ne baakuŋŋaanira waali. Mu kiseera ekyo Abaisiraeri baali badduse nga buli muntu azeeyo mu nnyumba ye.
9
Abantu bonna ne bakayana bokka na bokka mu bika bya Isiraeri byonna nga boogera nti, “Kabaka Dawudi ye yatuwonya mu mukono gw'abalabe baffe, n'atulokola mu mukono gw'Abafirisuuti; naye yadduka Abusaalomu nnava mu nsi ye.
10
Ate ne Abusaalomu gwe twafukako amafuta okutufuga afiiridde mu lutalo. Kale nno kaakano kiki ekitulobera okwogera ku kigambo eky'okukomyawo kabaka Dawudi?”
11
Awo kabaka Dawudi n'atumira Zadoki ne Abiyasaali bakabona ng'ayogera nti, “Mugambe abakadde ba Yuda nti, ‘Lwaki mmwe muluddewo okuwagira ekigambo eky'okukomyawo kabaka mu nnyumba ye; kubanga ebigambo bya Isiraeri yenna eby'okukomyawo kabaka mu nnyumba ye bituuse gyali.
12
Mmwe baganda bange ab'omusaayi gwange ddala. Kale lwaki mmwe munaasembayo okuwagira kabaka okudda mu nnyumba ye?’
13
Era mugambe Amasa nti, ‘Ggwe ow'omusaayi gwange ddala, bw'otoobe mukulu wa ggye lyange mu kifo kya Yowaabu okuva kati, wakiri Katonda anzite.’ ”
14
Bw'atyo Dawudi naagonza emitima gy'abasajja bonna aba Yuda ne babeera ng'omuntu omu; n'okutuma ne batumira kabaka nga boogera nti, “Komawo ggwe n'abaddu bo bonna.”
15
Awo kabaka n'akomawo n'atuuka ku mugga Yoludaani. Ab'ekika kya Yuda ne bagenda e Girugaali okusisinkana kabaka n'okumusomosa omugga Yoludaani.
16
Awo Simeeyi mutabani wa Gera, Omubenyamini ow'e Bakulimu n'ayanguwa n'aserengeta wamu n'abasajja ba Yuda okusisinkana ne kabaka Dawudi.
17
N'ajja n'abasajja lukumi (1,000) Ababenyamini. Ne Ziba omuddu w'omu nnyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano (15) n'abaddu be abiri (20), ne baserengeta ku Yoludaani nga kabaka abalaba.
18
Ne basomoka omugga okuwerekera ab'omu nnyumba ya kabaka, n'okukola buli ky'asiima. Kabaka bwe yali ng'agenda okusomoka Yoludaani, Simeeyi mutabani wa Gera n'avuunama mu maaso ge.
19
Simeeyi n'agamba nti, “Mukama wange tonvunaana musango newakubadde okujjukira ekyo ekitasaana nze omudduwo kyennakola mukama wange kabaka lwe wava mu Yerusaalemi. Era mukama wange kabaka oleme kukisiba ku mwoyo.
20
Kubanga nze omuddu wo, mmanyi nga nnayonoona. Era olwaleero kyenvudde nzija, nga nze nsoose ab'ennyumba ya Yusufu bonna okuserengeta okusisinkana mukama wange kabaka.”
21
Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'addamu n'ayogera nti, “Simeeyi tattibwe olwa kino kubanga yakolimira oyo Mukama gwe yafukako amafuta?”
22
Dawudi n'ayogera nti, “Kiki kyenina nammwe mmwe batabani ba Zeruyiya, mmwe okubeera leero abalabe bange? Olwaleero wanaabawo anattibwa mu Isiraeri? Kuba simanyi nga nze kabaka wa Isiraeri leero?”
23
Kabaka n'agamba Simeeyi nti, “Toofe.” Kabaka n'amulayirira.
24
Awo Mefibosesi mutabani wa Sawulo n'aserengeta okusisinkana ne kabaka; era yali tanaabanga bigere newakubadde okumwa ebirevu newakubadde okwoza engoye ze okuva ku lunaku kabaka lwe yagenderako okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe.
25
Awo olwatuuka bwe yatuuka e Yerusaalemi okusisinkana ne kabaka, kabaka n'amubuuza nti, “ Kiki ekyakulobera okugenda nange, Mefibosesi?”
26
N'addamu nti, “Mukama wange, kabaka, nga nze omudduwo bwendi omulema n'agamba omuddu wange ateeke amatandiiko ku ndogoyi yange ngyebagale ŋŋende naawe; naye naandyamu olukwe.
27
Nampayiriza gyoli, nze omuddu wo, mukama wange kabaka. Naye mukama wange, kabaka aliŋŋaanga malayika wa Katonda. Kale kola ekyo ky'olaba nga kirungi.
28
Ab'omu nnyumba ya kitange baali ba kuttirwa mu maaso go, mukama wange kabaka. Naye n'ontuuza nze omuweereza wo, mu abo abaliira ku mmeeza yo. Kale nsinziira ku ki nate okusaba ekisingawo?”
29
Awo Kabaka n'amugamba nti, “Ne bw'otooyongere kwogera bingi bwe bityo, nze ŋŋambye nti ettaka muligabane ggwe ne Ziba.”
30
Mefibosesi n'agamba kabaka nti, “Ziba abitwale byonna kasita ggwe mukama wange kabaka okomyewo mirembe mu lubiri lwo.”
31
Awo Baluzirayi Omugireyaadi n'aserengeta okuva e Logerimu; okuwerekera ku kabaka okusomoka Yoludaani.
32
Era Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, nga awezzezza emyaka kinaana (80), yali mugagga nnyo era ye yawanga kabaka eby'okulya ebbanga lyonna lyeyamala e Makanayimu.
33
Awo Kabaka n'agamba Baluzirayi nti, “Jjangu tugende ffenna, tuliirenga wamu e Yerusaalemi.”
34
Baluzirayi n'addamu kabaka nti, “Nsigazaayo emyaka emmeka ndyoke ŋŋende naawe e Yerusaalemi?
35
Kaakati mpezeza emyaka kinaana (80). Nkyayinza okwawula ebirungi n'ebibi? Oba okuwomerwa byendya oba bye nnywa? Wadde okuwuliriza amaloboozi g'abasajja n'abakazi abayimba? Lwaki omuddu wo azitoowerera mukama wange kabaka?
36
Omuddu yayagala kusomoka busomosi Yoludaani okuwerekera kabaka; kale lwaki mukama wange kabaka ampa empeera eyenkanidde awo?
37
Nkwegayiridde kkiriza omuddu wo nzireyo nfiire mu kibuga ky'ewaffe, awali entaana ya kitange n'eya mmange. Naye omuddu wo Kimamu wuuno, ye aba agenda naawe, mukama wange kabaka; era alimukolera kyonna ky'olisiima.”
38
Kabaka n'addamu nti, “Kimamu ajja kugenda nange, era ndimukola kyonna ky'osiima. Era naawe kyonna ky'oyagala nkukolere, nja kukikukolera.”
39
Abantu bonna ne basomoka Yoludaani awamu ne kabaka; kabaka n'anywegera Baluzirayi n'amusabira omukisa; Baluzirayi n'addayo ewaabwe.
40
Awo kabaka n'agenda e Girugaali, ne Kimamu n'agenda naye; ekika kyonna ekya Yuda n'ekitundu ky'abantu ba Isiraeri ne bagenda naye.
41
Awo abantu bonna aba Isiraeri ne bagenda eri kabaka Dawudi ne bamubuuza nti, “Lwaki baganda baffe ab'ekika kya Yuda bakusomosezza Yoludaani, ggwe n'ab'omu nnyumba yo n'abasajja bo mu nkukuttu?”
42
Awo ab'ekika kya Yuda bonna ne baddamu abantu ba Isiraeri nti, “Kubanga kabaka atuli kumpi mu luganda; lwaki ekyo kibasunguwaza? Tulina ekintu kyonna ekya kabaka kye tulidde oba alina ekirabo kyonna kyatuwadde?”
43
Abaisiraeri nabo ne baddamu ab'omu kika kya Yuda nti, “Obwannannyini bwe tulina ku kabaka bwa mirundi kkumi (10). Era Dawudi waffe, n'okusinga bw'ali owammwe. Kale lwaki mwatunyoomye? Si ffe twasooka okuleeta ekirowoozo eky'okukomyawo kabaka waffe?” Naye ebigambo ebya b'omu kika kya Yuda byali bikambwe okusinga eby'Abaisiraeri.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24