bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 6
2 Samuel 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
1
Awo Dawudi n'akuŋŋaanya abasajja bonna abaalondebwa mu Isiraeri emitwalo esatu (30,000).
2
Awo Dawudi n'abasajja bonna be yali nabo n'agenda e Baale eky'omu Yuda okuggyayo essanduuko ya Katonda ey'endagaano eyitibwa Erinnya ly'ennyini; Mukama ow'eggye atuula ku bakerubi.
3
Ne bateeka ssanduuko ya Katonda ku ggaali empya, ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi; era Uzza ne Akiyo, batabani ba Abinadaabu, ne bagoba eggaali empya,
4
eyaliko essanduuko ya Katonda, era Akiyo n'akulembera ssanduuko.
5
Dawudi n'ennyumba eya Isiraeri yonna ne bakuba ebivuga mu maaso ga Mukama eby'emiti eby'emiberosi eby'engeri zonna n'ennanga n'entongooli, ebitaasa, ensaasi n'ebisaala.
6
Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, Uzza n'agolola omukono gwe n'akwata ku ssanduuko ya Katonda; kubanga ente bwe yeesittala essanduuko ne baanga egenda okugwa.
7
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Uzza; Katonda n'amukubira eyo olw'ekyonoono kye; n'afiira awo awali essanduuko ya Katonda.
8
Dawudi n'anyiiga kubanga Mukama yabonereza Uzza n'obusungu; n'ayita ekifo ekyo Perezuzza, ne leero.
9
Dawudi n'atya Mukama ku lunaku olwo; n'agamba nti, “Essanduuko ya Mukama n'agitwala ntya?”
10
Dawudi n'agaana okutwala essanduuko ya Mukama mu kibuga kye wabula, n'agikyamya n'agiyingiza mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
11
Awo essanduuko ya Mukama n'emala emyezi esatu (3), mu nnyumba ya Obededomu Omugitti; Mukama n'awa omukisa Obededomu n'ennyumba ye yonna.
12
Awo ne babuulira kabaka Dawudi nti, “Mukama awadde omukisa ennyumba ya Obededomu n'ebibye byonna olw'essanduuko ya Katonda.” Dawudi n'agenda n'aggya essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n'agitwala mu kibuga kya Dawudi ng'asanyuka.
13
Awo olwatuuka abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baali batambudde ebigere mukaaga (6), n'awaayo ente n'ekya ssava.
14
Dawudi n'azinira mu maaso ga Mukama n'amaanyi ge gonna; era Dawudi nga yeesibye ekkanzu eya bafuta.
15
Awo Dawudi n'ennyumba yonna eya Isiraeri ne balinnyisa essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu era nga bafuuwa ekkondeere.
16
Awo olwatuuka essanduuko ya Mukama bwe yali ng'eyingira mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi ng'abuuka ng'azinira mu maaso ga Mukama; n'amunyooma mu mutima gwe.
17
Ne bayingiza essanduuko ya Mukama, ne bagiteeka mu kifo kyayo wakati mu weema Dawudi gye yali agisimbidde; Dawudi n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama.
18
Awo Dawudi bwe yali amaze okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama ow'eggye.
19
N'agabira abantu bonna, ekibiina kyonna ekya Isiraeri, abasajja n'abakazi, buli muntu omugaati n'omugabo ogw'ennyama n'ekitole eky'ezabbibu enkalu. Awo abantu bonna ne baddayo buli muntu mu nnyumba ye.
20
Awo Dawudi n'akomawo okusabira ab'omu nnyumba ye omukisa. Awo Mikali muwala wa Sawulo n'afuluma okusisinkana ne Dawudi n'ayogera nti, “Kabaka wa Isiraeri ng'abadde wa kitiibwa leero, eyeebikkulidde leero mu maaso g'abazaana b'abaddu be, ng'omu ku basajja abataliiko kye bagasa bwe yeebikkula nga talina nsonyi!”
21
Dawudi n'agamba Mikali nti, “Ky'abadde mu maaso ga Mukama, eyannonda okusinga kitaawo n'okusinga ennyumba ye yonna okunfuula omukulu w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri; kyenaavanga nzannyira mu maaso ga Mukama.
22
Era neeyongeranga okwetoowaza okukirawo, era n'abanga anyoomebwa mu maaso gange nze; naye abazaana b'oyogeddeko abo balinzisaamu ekitiibwa.”
23
Mikali muwala wa Sawulo n'atazaala mwana okutuusa ku lunaku kwe yafiira.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24