bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 7
2 Samuel 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
1
Awo olwatuuka kabaka bwe yatuula mu nnyumba ye, era Mukama ng'amuwadde okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola,
2
awo kabaka n'agamba Nasani nnabbi nti, “Laba nno, nze nsula mu nnyumba ey'emivule naye nga essanduuko ya Mukama nga eri mu weema.”
3
Awo Nasani n'agamba kabaka nti, “Genda okole byonna ebiri mu mutima gwo; kubanga Mukama ali naawe.”
4
Awo olwatuuka ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Nasani nti,
5
“Genda ogambe omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Ggwe olinzimbira ennyumba gyendibeeramu?’
6
Kubanga sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe n'aggya abaana ba Isiraeri mu Misiri, n'okutuusa leero, naye natambuliranga mu weema.
7
Mu bifo byonna mwe n'atambulira n'abaana ba Isiraeri, nali njogedde ekigambo n'ekika kyonna ekya Isiraeri, kye nalonda okukulembera abantu bange Isiraeri, nga njogera nti Kiki ekyabalobera okunzimbira ennyumba ey'emivule?
8
Kale nno bw'otyo bw'oba ogamba omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nnakuggya ku kisibo ky'endiga, ng'ogoberera endiga, obeere omukulu w'abantu bange, owa Isiraeri;
9
era nabanga naawe buli gye wagendanga, era nzikirizza abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya ekkulu ng'erinnya bwe liri ery'abakulu abali mu nsi.
10
Era nditeekerawo abantu bange Isiraeri ekifo, ne mbasimba batuulenga mu kifo kyabwe bo, ne batajjulukuka nate; so n'abaana b'obubi nga tebakyababonyaabonya ng'olubereberye,
11
era ng'okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange; era ndikuwa okuwummula eri abalabe bo bonna. Era Mukama nate akubuulira nti alikwaza.
12
Ennaku zo bwe ziriba nga zituukiridde naawe nga weebakidde wamu ne bajjajjaabo, ndissaawo omu ku baana bo okuba kabaka era ndinyweza obwakabaka bwe.
13
Oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe ennaku zonna.
14
Ndiba kitaawe, ye n'aba mwana wange. Bw'anakolanga ekitali kituufu, naamukangavvulanga ng'omuzadde bw'akangavvula omwana we;
15
naye okusaasira kwange tekuumuvengako, nga bwe nnakuggya ku Sawulo, gwe nnaggyawo mu maaso go;
16
N'ennyumba yo n'obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso go; entebe yo erinywezebwa ennaku zonna.’ ”
17
Awo ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri n'okwolesebwa okwo kwonna, bw'atyo Nasani bwe yabibuulira Dawudi.
18
Awo Dawudi kabaka n'alyoka ayingira n'atuula mu maaso ga Mukama; n'ayogera nti, “Nze ani, ayi Mukama Katonda, n'ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano?
19
Naye n'ekyo Ayi Mukama Katonda kikyali kitono mu maaso go, kubanga era osuubiza bingi ezzadde lyange. Ayi Mukama Katonda era n'ekyo okimanyisizza.
20
Era kiki ekirala nate, nze Dawudi ky'enyinza okukugamba? Kubanga Ayi Mukama Katonda omanyi omuddu wo.
21
Olw'ekigambo kyo era ng'omutima gwo gwe bwe guli kyovudde okola ebikulu ebyo byonna, n'otegeeza omuddu wo.
22
Ky'obeeredde omukulu, ayi Mukama Katonda; kubanga tewali akwenkana, so tewali Katonda mulala wabula ggwe, nga byonna bwe biri bye twakawulira n'amatu gaffe.
23
Era ggwanga ki mu nsi erifaanana abantu bo Isiraeri, Katonda be yenunulira okuba abantu be! Ebintu ebikulu eby'entiisa bye wa bakolera byayatikiriza erinnya lyo mu nsi yonna. Wagoba ab'amawanga amalala ne bakatonda baabwe.
24
Bo Abaisiraeri n'obafuula abantu bo emirembe gyonna; naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe.
25
Era kaakano, ayi Mukama Katonda, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinyweze ennaku zonna, era kola nga bw'oyogedde.
26
Era erinnya lyo ligulumizibwe ennaku zonna, nga boogera nti, ‘Mukama ow'eggye ye Katonda afuga Isiraeri, n'ennyumba ey'omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.’
27
Kubanga ggwe, ayi Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, obikkulidde omuddu wo, ng'oyogera nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba;’ omuddu wo kyavudde ayaŋŋaanga okukusaba okusaba kuno.
28
Era nno, ayi Mukama Katonda, ggwe Katonda, n'ebigambo byo mazima, era osuubizizza omuddu wo ekigambo ekyo ekirungi;
29
kale nno kkiriza okuwa omukisa ennyumba ey'omuddu wo, ebeerenga mu maaso go ennaku zonna; kubanga ggwe, ayi Mukama Katonda, okyogedde, era ennyumba y'omuddu wo eweebwenga omukisa gwo ennaku zonna.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24