bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Samuel 8
2 Samuel 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
1
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula; n'abawambako ekibuga Mesegamma.
2
Awo n'awangula Abamowaabu, n'abagalamiza wansi mu nnyiriri ssatu (3), n'attako ennyiriri bbiri (2) n'alekawo lumu. Awo Abamowaabu ne baba baweereza ba Dawudi ne bamuwanga emisolo.
3
Era Dawudi n'awangula ne Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba, bwe yali agenda okujeemulula amatwale ge agali waggulu w'omugga Fulaati.
4
Dawudi n'amuwambako abasajja abeebagala embalaasi lukumi mu lusanvu (1,700), n'abatambula n'ebigere emitwalo ebiri (20,000), embalaasi zonna ezisika amagaali Dawudi n'azitema enteega, naye neyerekerawo ez'amagaali kikumi (100).
5
Awo Abasuuli ab'e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadadezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000)
6
Awo Dawudi n'ateeka ebigo mu Busuuli obw'e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne bamuwanga omusolo. Mukama n'awanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.
7
Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadadezeri n'azitwala e Yerusaalemi.
8
Nnaggya ne mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga bya Kadadezeri, ebikomo bingi nnyo.
9
Awo Toyi kabaka w'e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadadezeri,
10
n'atuma Yolaamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza, kubanga alwanye ne Kadadezeri n'amuwangula; kubanga yalwananga ne Toyi. Yolaamu n'aleeta ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebintu eby'ebikomo;
11
n'ebyo kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu ne ffeeza ne zaabu bye yali aggye ku mawanga ge yawangula;
12
okuva mu Busuuli, Mowaabu, Abaana ba Amoni, Amaleki ne ku munyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba.
13
Dawudi n'ayatikirira n'eyegulira erinnya. Bwe yakomawo n'atta aba Edomu omutwalo gumu mu kanaana (18,000) mu Kiwonvu eky'Omunnyo.
14
N'ateeka ebigo okubuna Edomu; Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'amuwanga okuwangula buli gye yagendanga.
15
Awo Dawudi n'afuga Isiraeri yenna; Dawudi n'alamula abantu be mu mazima n'obwenkanya.
16
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'eggye; ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza;
17
Zadoki mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; Seroya ye yali omuwandiisi;
18
Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; ne batabani ba Dawudi baali bakabona.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24