bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 10
1 Chronicles 10
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 11 →
1
Awo Abafilistiya ne balwanyisa Abayisirayeli, Abayisirayeli ne badduka Abafilistiya, era Abayisirayeli bangi ne battirwa ku Lusozi Gilubowa.
2
Abafilistiya ne bawondera Sawulo ne batabani be, ne batta Yonataani, ne Abinadabu, ne Malukisuwa, batabani ba Sawulo.
3
Olutalo ne lunyigiriza nnyo Sawulo, abalasi b'obusaale ne bamulaba, ne bamulasa obusaale, n'afuna ebisago eby'amaanyi.
4
Sawulo n'agamba oyo eyakwatanga ebyokulwanyisa bye nti: Ggyayo ekitala kyo, onzite, abo abatali bakomole baleme okujja ne banswaza. Kyokka eyakwatanga ebyokulwanyisa bye, n'agaana, kubanga yatya nnyo. Sawulo kyeyava aggyayo ekitala kye, n'akyetungako.
5
Awo eyakwatanga ebyokulwanyisa bya Sawulo bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye ne yeetunga ku kitala ekikye, n'afa.
6
Bw'atyo Sawulo n'akisa omukono, ne batabani be abasatu, n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bafiira wamu.
7
Abayisirayeli abaali mu kiwonvu bwe baalaba ng'eggye lya Yisirayeli lidduse era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne baabulira ebibuga byabwe, ne badduka. Abafilistiya ne bajja ne babibeeramu.
8
Awo ku lunaku olwaddako, Abafilistiya bwe bajja okwambula abattiddwa, ne basanga enjole ya Sawulo n'emirambo gya batabani be, nga gigudde ku Lusozi Gilubowa.
9
Sawulo ne bamwambula ne bamutemako omutwe, ne bagutwala awamu n'ebyokulwanyisa bye. Ne batuma ababaka wonna mu nsi y'Abafilistiya, okutuusaayo amawulire ago, eri ebifaananyi bye basinza, ne mu bantu.
10
Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu ssabo lya balubaale baabwe, ne bawanika omutwe gwe mu ssabo lya Lubaale Dagoni.
11
Abatuuze b'e Yabesi Gileyaadi bonna bwe baawulira ekyo Abafilistiya kye baakola Sawulo,
12
abazira bonna ne bagenda ne baggyayo enjole ya Sawulo, n'emirambo gya batabani be, ne bagireeta e Yabesi, ne babaziika eyo, wansi w'omuvule, ne basiibira ennaku musanvu.
13
Bw'atyo Sawulo n'akisa omukono, olw'obutaba mwesigwa eri Mukama. Yagaana okukola ekyo Mukama kye yamulagira, era yeebuuza ku musamize amulagule,
14
n'ateebuuza ku Mukama, Mukama kyeyava amutta, obwakabaka n'abuwa Dawudi mutabani wa Yesse.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
Recommended Reading
Commentary
1 Chronicles Commentaries
→
Devotional
1 Chronicles Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→