bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 28
1 Chronicles 28
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 29 →
1
Kabaka Dawudi n'alagira abakungu bonna mu Yisirayeli okukuŋŋaana. Abakulu b'Ebika, n'abakulira ebitongole ebyaweerezanga kabaka mu mpalo, abaduumizi b'olukumi lukumi, n'ab'ekikumi kikumi mu magye, n'abawanika b'ebyobugagga ebya kabaka, ne batabani be, wamu n'abaami, n'abaserikale bonna ab'amaanyi abazira, ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemu.
2
Awo Kabaka Dawudi n'ayimirira butengerera n'abagamba nti: “Muwulire baganda bange era abantu bange. Nayagala nnyo okuzimbira Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama Essinzizo mw'eneebeeranga, kibe ekifo Katonda waffe kw'ateeka ebigere bye, era nali ntegese okuzimba.
3
Kyokka Katonda n'aŋŋamba nti: ‘Tonzimbira Ssinzizo, kubanga ggwe oli musajja mulwanyi wa ntalo, era wayiwa omusaayi gw'abantu.’
4
Wabula Mukama Katonda wa Yisirayeli yalonda nze mu nnyumba ya kitange yonna, okuba Kabaka wa Yisirayeli emirembe gyonna: kubanga yalonda Yuda okufuga. Mu nnyumba z'abasibuka mu Yuda, n'alonda ennyumba ya kitange, ate mu baana ba kitange, n'asiima nze okunfuula kabaka wa Yisirayeli yonna.
5
Mukama ampadde abaana bangi, era mu batabani bange bonna, n'alondamu Solomooni okutuula ku ntebe ey'obwakabaka bwa Yisirayeli, Ye Mukama yennyini bwe yateekawo.
6
Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Solomooni mutabani wo ye alinzimbira Essinzizo n'empya zange, kubanga namulonda okuba Mutabani wange, nze mbenga kitaawe.
7
Nnaanywezanga obwakabaka bwe emirembe gyonna, bw'anaanyikiranga okugondera amateeka gange n'ebiragiro byange nga bw'akola kaakano.’
8
“Kale nno abantu bange, mu maaso ga Yisirayeli yenna Mukama gw'akuŋŋaanyizza, mbakuutira era nga ne Katonda waffe awulira: mussengako omwoyo okugondera ebiragiro byonna ebya Mukama, Katonda wammwe, mulyoke musigale nga muli bannannyini nsi eno ennungi, mugirekere abaana bammwe n'abazzukulu abanaabaddiranga mu bigere, ebe yaabwe emirembe gyonna.
9
“Naawe Solomooni mwana wange, manya Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n'omutima gwo gwonna era nga weeyagalidde, kubanga Mukama amanyi ebirowoozo by'abantu era ategeera byonna bye beegomba. Bw'onoomunoonyanga, anaakweraganga. Bw'onoomuvangako, anaakwabuliranga emirembe gyonna.
10
Kale kitegeere nga Mukama alonze ggwe okuzimba ennyumba ey'Essinzizo. Ba mumalirivu okikole.”
11
Awo Dawudi n'awa Solomooni mutabani we ekifaananyi ky'Essinzizo nga bwe liribeera: ekisasi kyakwo n'ennyumba zaakwo n'amawanika gaakwo n'ebisenge byakwo eby'omu kalina, n'ebisenge byakwo ebyomunda, n'ekifo eky'entebe ey'obusaasizi.
12
N'amuwa n'ekifaananyi ky'ebyo byonna bye yali alowoozezza eby'empya z'Essinzizo, n'ebisenge byonna ebyetooloddewo, n'amawanika g'ebikozesebwa mu Ssinzizo lya Katonda, era n'ago omuterekebwa ebintu ebimuwongerwa.
13
Era n'amuwa entereeza yonna ey'empalo za bakabona n'Abaleevi n'ey'omulimu gwonna ogw'okuweereza mu Ssinzizo lya Mukama, n'ey'ebintu byonna ebikozesebwa mu Ssinzizo lya Mukama,
14
obuzito bwa zaabu ne ffeeza obw'okukozesa ebintu byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza ebikozesebwa ku buli mulimu;
15
obuzito bw'ebikondo by'ettaala eza zaabu era n'obw'ettaala zaakyo, n'obuzito bw'ebikondo by'ettaala eza ffeeza n'obw'ettaala zaabyo, okusinziira nga bwe bikozesebwa ku mulimu gwakyo;
16
n'obuzito bwa zaabu ow'okukolamu buli mmeeza ey'okuteekangako emigaati egiweebwayo eri Katonda, n'obwa ffeeza ow'okukolamu emmeeza eza ffeeza.
17
Okwo ssaako ne zaabu omuyooyoote ow'okukolamu ffooka ez'okutooza ennyama, n'ow'okukolamu ebbakuli n'ebikopo, okwo ssaako n'obuzito bwa zaabu n'obwa ffeeza ow'okukolamu ensaniya eza zaabu n'eza ffeeza,
18
n'obuzito bwa zaabu omulongoose ow'okukolamu alutaari enyookerezebwako obubaane, n'ow'okukolamu ekigaali ekiriko abakerubi, abanjuluza ebiwaawaatiro byabwe okubikka Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama.
19
Kabaka Dawudi n'agamba nti: “Ebyo byonna biri mu ntegeka eyawandiikibwa nga yeesigamiziddwa ku biragiro ebyo, Mukama yennyini bye yandagira okutuukiriza.”
20
Dawudi n'agamba Solomooni mutabani we nti: “Guma omwoyo, obe mumalirivu, okole omulimu ogwo. Totyanga, era toterebukanga kubanga Mukama, Katonda gwe mpeereza, ali wamu naawe. Talikwabulira era talikulekerera, wabula anaabeeranga naawe n'akusobozesa okumaliriza omulimu gwonna ogw'okukola ku Ssinzizo lye.
21
Bakabona n'Abaleevi baabo bamaze okuweebwa emirimu gyonna gye banaakolanga mu Ssinzizo, nga bagikola mu mpalo. Abakozi abamanyi okukola buli mulimu weebali abeetegese okukuyamba, era abakulembeze n'abantu bonna banaagonderanga by'obalagira.”
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29