bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 4
1 Chronicles 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 5 →
1
Bano be bamu ku basibuka mu Yuda: Hezirooni, ne Karumi, ne Huuri, ne Sobali.
2
Sobali yazaala Reyaaya eyazaala Yahati, Yahati n'azaala Ahumaayi ne Lahadi abaasibukamu abatuuze b'e Zora.
3
Etamu yazaala abaana ab'obulenzi basatu. Yezireeli, Yisima ne Yidibbaasi. Abo baalina mwannyinaabwe erinnya lye Hazzelelipooni.
4
Penweli kitaawe wa Gedori ne Ezeri kitaawe wa Huusa baali batabani ba Huuri omuggulanda wa Efuraati, muka Kalebu. Huuri oyo ye yasibukamu Betilehemu.
5
Asuuri kitaawe wa Tekowa yalina abakazi babiri: Hela ne Naara.
6
Naara n'amuzaalira Ahuzaamu, ne Heferi, ne Temeni, ne Haahasutaari. Abo be batabani ba Naara.
7
Batabani ba Hela: Zereti, ne Yizuhaari, ne Etinaani.
8
Koozi yazaala Anuubu ne Zobeba, ne jjajja w'ab'ennyumba ezisibuka mu Aharuheeli mutabani wa Harumu.
9
Waaliwo omusajja erinnya lye Yabezi eyali oweekitiibwa okusinga baganda be. Nnyina yamutuuma erya Yabezi, kubanga yamuluma nnyo ng'amuzaala.
10
Yabezi ne yeegayirira Katonda wa Yisirayeli nti: “Singa nno ompa omukisa ayi Katonda, n'ogaziya amatwale gange, n'obeeranga nange, n'omponya buli kabi, kalemenga kuntuukako.” Awo Katonda n'amuwa kye yasaba.
11
Kelubu muganda wa Suuwa yazaala Mehiiri, Mehiiri n'azaala Esitooni, Esitooni
12
n'azaala Betiraafa ne Pesewa, ne Tehinna eyazaala Yirinahaasi. Abasibuka mu abo be batuuze b'e Reeka.
13
Batabani ba Kenazi: Otiniyeeli ne Seraya. Batabani ba Otiniyeeli: Hatati
14
ne Mewonotaayi eyazaala Ofura. Seraya yazaala Yowaabu eyasibukamu ab'omu Kiwonvu ekiyitibwa eky'Abafundi, kubanga abatuuze baamu baali bafundi.
15
Bano be batabani ba Kalebu mutabani wa Yefunne: Yiru, Ela, ne Naamu. Ela yazaala Kenazi.
16
Batabani ba Yehalleleli: Ziifu, ne Ziifa, Tiriya, ne Asareeli.
17
Batabani ba Ezera: Yeteri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yalooni. Meredi yawasa Bitiya muwala wa kabaka w'e Misiri, ne bazaala omuwala Miriyamu n'abalenzi babiri: Sammayi ne Yisiba. Yisiba oyo ye kitaawe wa Esitemowa.
18
Meredi yawasa n'omukazi Omuyudaaya, ne bazaala abalenzi basatu: Yeredi kitaawe wa Gedori, Heberi kitaawe wa Soko, ne Yekutiyeeli kitaawe wa Zanowa.
19
Hodiya yawasa mwannyina Nahamu. Batabani ba muka Hodiya oyo be basibukamu Keyila Omugarumi ne Esitemowa ow'e Maakati.
20
Batabani ba Simooni: Amunooni, ne Rinna, ne Benihanani, ne Tilooni. Batabani ba Yisi: Zoheti, ne Benizoheti
21
Batabani ba Seela mutabani wa Yuda: Eri kitaawe wa Leeka, ne Laada kitaawe wa Maresa, n'ab'olulyo lw'abo abaalukanga engoye, ab'ennyumba ya Asibeeya,
22
ne Yokimu n'abatuuze b'e Kozeba, ne Yowaasi, ne Saraafu abaafuganga mu Mowaabu ne Yasubilehemu. Ebyo byabaawo dda nnyo.
23
Abantu abo baali babumbi abakolera kabaka era nga babeera mu Netayiimu ne mu Gedera.
24
Batabani ba Simyoni: Nemweli, ne Yamini, Yaribu, Zera, ne Sawuuli. Sawuuli
25
yazaala Sallumu, Sallumu n'azaala Mibusaamu, Mibusaamu n'azaala Misuma.
26
Mutabani wa Misuma: Hamweli eyazaala Zakkuri, Zakkuri n'azaala Simeeyi.
27
Simeeyi yazaala abaana ab'obulenzi kkumi na mukaaga, n'ab'obuwala mukaaga. Kyokka baganda be tebaazaala baana bangi era Ekika kyabwe tekyayala ng'ekya Yuda bwe kyayala.
28
Abasibuka mu Simyoni baasenga mu bibuga Beruseba, ne Molada, ne Hazarusuwali,
29
ne Biliha, ne Ezemu, ne Tolaadi,
30
ne Betuweeli, ne Horuma, ne Zikulagi,
31
ne Betimarukabooti, ne Hazarisusiimu, ne Betibiri, ne Saarayiimu. Ebyo bye byali ebibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yafuuka kabaka.
32
Era ebyalo byabwe byali Etamu, ne Ayiini, Rimmoni, ne Tokeni, ne Asani, byonna wamu bitaano,
33
era n'ebitundu ebyetoolodde ebyalo ebyo okutuuka e Bbaali. Mu ebyo mwe baabeeranga. Bajjajjaabwe be bano:
34
Mesobaabu, ne Yamuleeki, ne Yoosa mutabani wa Amaziya,
35
ne Yoweeli, ne Yeehu mutabani wa Yosibiya, Yosibiya mutabani wa Seraya, Seraya mutabani wa Asiyeeli,
36
ne Eliyowenayi, ne Yaakoba, ne Yesohaaya, ne Asaya, ne Adiyeeli, ne Yesimiyeeli, ne Benaaya,
37
ne Ziiza mutabani wa Sifi era muzzukulu wa Alloni. Alloni yali mutabani wa Yedaaya era muzzukulu wa Simuri, Simuri mutabani wa Semaaya.
38
Abo abamenyeddwa amannya, baali bakulu ba nnyiriri zaabwe era olulyo lwabwe lweyongera okwala,
39
ne basengukira awayingirirwa e Gedori ku luuyi lw'ebuvanjuba bw'ekiwonvu okunoonyeza amagana gaabwe omuddo.
40
Ne balaba awali omuddo omugimu omulungi mu nsi engazi entebenkevu era ey'emirembe. Abatuuze baamu abaasooka baali basibuka mu Haamu.
41
Mu mulembe gwa Kabaka Heezeekiya owa Buyudaaya, abo abamenyeddwa amannya baalumba eweema n'ensiisira z'abatuuze baayo n'ez'Abamewuni be baasangayo ne babasaanyizaawo ddala, ne basengayo mu kifo kyabwe, kubanga waaliyo omuddo ogw'okuliisa amagana gaabwe.
42
Ebikumi bitaano ku bo ne bagenda ku Lusozi Seyiri, nga bakulemberwa Pelatiya, ne Neyariya, ne Refaaya, ne Wuzziyeeli mutabani wa Yiisi.
43
Eyo ne battirayo Abamaleki abaali basigaddewo, ne basenga eyo n'okutuusa kati.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29