bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 16
1 Chronicles 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 17 →
1
Ne bayingiza Essanduuko ya Katonda, ne bagiteeka wakati mu Weema Dawudi gye yagitegekera. Ne bawaayo eri Katonda ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'okutabagana.
2
Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyo, n'awa abantu omukisa mu linnya lya Mukama,
3
n'agabula abantu bonna ebyokulya. N'awa buli musajja na buli mukazi mu Yisirayeli, omugaati n'ekifi ky'ennyama, n'ekitole ky'emizabbibu egikaziddwa ne gisekulibwa.
4
Awo Dawudi n'ateekawo abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g'Essanduuko ya Mukama, okujjukiranga okwebazanga, n'okutenderezanga Mukama, Katonda wa Yisirayeli.
5
Asafu ye yalondebwa okuba omukulu, ng'addirirwa Zekariya. Yeyeli ne Semiramoti ne Yehiyeeli, ne Mattitiya, ne Eliyaabu, ne Benaaya, ne Obededomu ne Yeyeli, be baali abakubi b'entongooli n'ennanga. Asafu ye yakubanga ebitaasa ebivuga ennyo.
6
Bakabona babiri Benaaya ne Yahaziyeeli be baafuuwanga bulijjo amakondeere mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano ya Katonda.
7
Ku lunaku olwo Dawudi kwe yateerawo Asafu ne baganda be, n'abalagira okuyimbiranga Mukama okumwebaza.
8
Mwebaze Mukama, mumukoowoole mumanyise amawanga bye yakola.
9
Mumuyimbire, muyimbe mumutendereze, mwogere ku byamagero byonna bye yakola.
10
Mwenyumiririze mu Ye Omutuukirivu abeesiga Mukama basanyuke.
11
Mwesige Mukama n'amaanyi ge, mumwesigenga bulijjo.
12
Mujjukire ebyamagero n'ebyewuunyo bye yakola era n'emisango gye yasala,
13
mmwe ezzadde lya Yisirayeli omuweereza we, mmwe bazzukulu ba Yakobo abalondemu be.
14
Ye Mukama Katonda waffe, ye asalawo ensonga z'ensi zonna.
15
Mujjukire endagaano ye bulijjo, ne bye yasuubiza emirembe olukumi.
16
Ye ndagaano gye yakola ne Aburahamu, ne bye yasuubiza Yisaaka ng'alayira n'okulayira.
17
Ye ndagaano gye yanyweza ne Yakobo, n'eba ya lubeerera ne Yisirayeli.
18
Yagamba nti: “Ndibawa ensi ya Kanaani. Eribeerera ddala yammwe ku bwammwe.”
19
Mwali mukyali batono nga temunnayala era mwali batambuze mu nsi eyo,
20
nga mutambula okuva mu nsi emu okudda mu ndala, okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bulala.
21
Kyokka teyabaako gw'akkiriza kubabonyaabonya. Okubataasa, yalabula bakabaka nti:
22
“Temukwatanga ku basiige bange, n'abalanzi bange temubakolangako kabi.”
23
Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna Mwatule buli lunaku bwe yatulokola.
24
Mumanyise ekitiibwa kye mu mawanga, abantu bonna bamanye ebyamagero by'akola.
25
Kubanga Mukama mukulu, era agwanira okutenderezebwa ennyo, n'okussibwamu ekitiibwa okusinga balubaale bonna.
26
Kubanga balubaale bonna ab'amawanga amalala, bifaananyi. Naye Mukama ye yakola eggulu.
27
Yeetooloddwa ekitiibwa n'obukulu, obuyinza n'essanyu biri awo w'ali.
28
Mutendereze Mukama abantu mwenna abali ku nsi. Mutendereze ekitiibwa kye era n'amaanyi ge.
29
Musseemu Mukama ekitiibwa ekimugwanidde muleete ebiweebwayo, mujje mu maaso ge. Musinze Mukama ng'alabise.
30
Mukankane mu maaso ge mmwe ab'omu nsi zonna. Ensi enywera n'eteyinza kusagaasagana.
31
Eggulu ka lisanyuke era n'ensi k'ejaganye. Boogere mu mawanga nti Mukama ye Kabaka.
32
Ennyanja n'ebigirimu, ewuume. Ennimiro ejaguze n'ebigirimu byonna.
33
Emiti era n'ebibira olw'essanyu bireekaane mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okusalira ensi emisango.
34
Kale mwebaze Mukama kubanga mulungi, kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna. 118:1; 136:1; Yer 33:11
35
Mumugambe nti: “Otulokole, ayi Katonda Omulokozi waffe, Otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga, tulyoke tukwebazenga Ggwe Omutuukirivu, era twenyumiririzenga mu kukutendereza.”
36
Mukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe kaakano n'emirembe gyonna. Awo abantu bonna ne bagamba nti: “Kibe bwe kityo!” Ne batendereza Mukama.
37
Kabaka Dawudi n'alekawo Asafu ne baganda be, bakolenga omulimu gw'obuweereza mu maaso g'Essanduuko y'Endagaano ya Mukama, nga bwe kyabanga kyetaagisa buli lunaku.
38
N'alekawo ne Obededomu mutabani wa Yedutuuni, ne Hosa ne Baleevi bannaabwe nkaaga mu munaana, okuba abaggazi.
39
N'ateekawo Zaddooki kabona ne bakabona banne mu Weema ya Mukama eyali e Gibiyoni mu kifo ekigulumivu kye baasinzizangamu,
40
ku makya n'akawungeezi obutasalako, baweerengayo eri Mukama ku alutaari ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, nga bagoberera byonna ebyawandiikibwa mu Mateeka ga Mukama, ge yawa Eggwanga lya Yisirayeli.
41
Awamu nabo, n'ateekawo ne Hemani ne Yedutuuni n'abalala abaalondebwa, abayatuddwa amannya gaabwe, okwebazanga Mukama olw'ekisa kye, kubanga kibeerawo emirembe gyonna.
42
Hemani ne Yedutuuni era be baakuumanga amakondeere n'ebitaasa n'ebivuga ebirala, n'abalala bonna bye baakubanga okuyimbira Katonda. Ab'ennyumba ya Yedutuuni be baateekebwawo okuba abaggazi.
43
Awo buli muntu n'addayo ewuwe. Dawudi naye n'addayo ewuwe okubeera n'ab'omu maka ge.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
Recommended Reading
Commentary
1 Chronicles Commentaries
→
Devotional
1 Chronicles Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→