bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 17
1 Chronicles 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 18 →
1
Awo olwatuuka, Kabaka Dawudi bwe yamala okukkalira mu lubiri lwe, n'agamba Natani omulanzi nti: “Laba nze nsula mu nnyumba eŋŋumu era eyeekitiibwa, naye Essanduuko ya Mukama ebeera mu weema buweema.”
2
Natani n'agamba Dawudi nti: “Kola ekikuli ku mutima, kubanga Mukama ali wamu naawe.”
3
Naye ekiro ekyo, Katonda n'agamba Natani nti:
4
“Genda ogambe omuweereza wange Dawudi nti Nze Mukama mmugamba nti: ‘Si ggwe ojja okunzimbira ennyumba mwe nnaabeeranga
5
kubanga sibeerangako mu nnyumba okuviira ddala ku lunaku lwe naggya Abayisirayeli mu Misiri n'okutuusa leero, wabula nabeeranga mu weema, era navanga mu kifo ekimu, ne nzira mu kifo ekirala.
6
Mu bifo byonna gye natambulira n'Abayisirayeli bonna, ku bakulembeze be nateekawo okulabirira abantu bange, saabuuzaako n'omu nti lwaki temunzimbira nnyumba eŋŋumu era eyeekitiibwa?’ ”
7
Mukama era n'agamba Natani nti: “Kale nno gamba omuweereza wange Dawudi nti Nze Mukama Nnannyinimagye mmugamba nti: ‘Nakuggya ku gw'okulundanga endiga mu ttale, ne nkufuula omukulembeze w'abantu bange Abayisirayeli.
8
Era nabeeranga naawe buli gye wagendanga yonna, ne mmalawo abalabe bo ng'olaba. Era ndikufuula wa ttutumu ng'abafuzi abatutumufu ennyo mu nsi.
9
Nditegekera abantu bange Abayisirayeli ekifo, ne mbateekamu, babeerenga omwo nga kyabwe, balemenga kuddamu kutawaanyizibwa, era abantu ababi nga tebakyababonyaabonya, nga bwe gwali
10
we nateekerawo abalamuzi okufuganga abantu bange Abayisirayeli. Era ndiwangula abalabe bo bonna. N'ekirala nze Mukama nkugamba nti ndikwaliza ezzadde.
11
Ennaku zo bwe ziriggwaako n'ogenda eri bajjajjaabo, omu ku batabani bo, ndimussaawo okuba kabaka, era ndinyweza obwakabaka bwe.
12
Oyo ye alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey'obwakabaka emirembe gyonna.
13
Ndiba kitaawe, ye n'aba mwana wange. Siirekengayo kumukwatirwa kisa, nga bwe nalekayo okukikwatirwa oyo eyakusooka okuba kabaka.
14
Ndimuteekawo okulabirira abantu bange n'obwakabaka bwange emirembe gyonna, n'entebe ye ndiginyweza ennaku zonna.’ ”
15
Awo Natani n'abuulira Dawudi byonna nga Mukama bwe yabimugamba, era nga bwe yabimulaga.
16
Awo Kabaka Dawudi n'ayingira mu Weema, n'atuula mu maaso ga Mukama, n'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda, nze n'ab'ennyumba yange, tetusaanidde bino byonna bye wankolera.
17
Era n'ekyo kyali kitono mu maaso go, ayi Katonda. Oyogedde ne ku b'ezzadde lyange nze omuweereza wo, nga bwe baliba mu bbanga eggwanvu erigenda okujja, era onkuzizza, ayi Mukama Katonda, n'onfuula omuntu oweekitiibwa ennyo.
18
Kiki ate ekirala nze Dawudi omuweereza wo, kye nnyinza okukugamba olw'ekitiibwa ky'onzisizzaamu? Kubanga ommanyi nze omuweereza wo.
19
Ayi Mukama, onkoledde ebintu bino byonna ebikulu nga Ggwe weeyagalidde, n'ommanyisa ebintu ebyo byonna ebikulu.
20
Ayi Mukama, tewali akwenkana, era tetuwulirangako nga waliwo Katonda omulala okuggyako Ggwe.
21
Era ggwanga ki eddala eriri ku nsi, eriri ng'ery'abantu bo Abayisirayeli, Ggwe Katonda be wagenda okwenunulira okuba eggwanga eriryo ku bubwo! Ebintu ebikulu era eby'entiisa bye wabakolera, byayatiikiriza erinnya lyo mu nsi yonna. Wagoba ab'amawanga amalala, ne basegulira abantu bo, be wanunula n'obaggya mu Misiri.
22
Abayisirayeli wabafuula abantu bo emirembe gyonna, era naawe Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe.
23
“Kale nno, ayi Mukama, nywezanga ennaku zonna ky'osuubizza nze omuweereza wo n'ab'ennyumba yange, era okole nga bw'ogambye.
24
Kale kinywezebwe, olyoke ogulumizibwenga emirembe gyonna, nga bagamba nti: ‘Mukama Nnannyinimagye, ye Katonda wa Yisirayeli era ye alabirira Yisirayeli!’ Era onyweze mu maaso go ab'ennyumba yange, nze Dawudi omuweereza wo.
25
Ayi Katonda wange, nze omuwereza wo ŋŋumye okwegayirira bwe ntyo mu maaso go, kubanga ombikkulidde nze omuweereza wo, ng'ab'ennyumba yange olibafuula bakabaka.
26
Era ggwe, ayi Mukama, ggwe Katonda, era osuubizza nze omuweereza wo ebintu ebyo ebirungi.
27
Era kaakano osiimye okuwa omukisa ab'ennyumba yange nze omuweereza wo, beeyongere okuganja mu maaso go ennaku zonna, kubanga Ggwe, ayi Mukama, obawadde omukisa, era gubaweereddwa emirembe gyonna.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
Recommended Reading
Commentary
1 Chronicles Commentaries
→
Devotional
1 Chronicles Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→