bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 12
1 Chronicles 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 13 →
1
Dawudi bwe yali e Zikulagi ng'akyekwese Kabaka Sawulo mutabani wa Kiisi, bano be bajja gy'ali ne bamwegattako, era be bamu ku batabaazi abaamuyambanga mu ntalo ze yalwananga.
2
Baali ba mu Kika kya Benyamiini nga Sawulo bwe yali. Baakwatanga emitego gy'obusaale n'envuumuulo, nga basobola bulungi okulasa obusaale n'okuvuumuula amayinja nga bakozesa omukono ogwa ddyo era n'ogwa kkono.
3
Baali bakulirwa Ahiyezeri, ng'addirirwa Yowaasi, bombi abo nga batabani ba Semaaya ow'e Gibeya. Abaserikale abo be bano: Yeziyeeli ne Peleti batabani ba Azumaveti, Beraka ne Yeehu ow'e Anatooti.
4
Yisumaaya Omugibiyoni, omusajja ow'amaanyi mu abo amakumi asatu era omukulembeze waabwe. Yeremiya ne Yahaziyeeli, ne Yohanaani, ne Yozabadi ow'e Gedera;
5
Eluzaayi ne Yerimooti, ne Beyaliya, ne Semariya, ne Sefatiya ow'e Haruufu.
6
Elukaana ne Yissiya, ne Azareeli, ne Yowezeri, ne Yasobeyaamu, abasibuka mu Koora.
7
Yoweela ne Zebadiya, batabani ba Yerohaamu ow'e Gedori.
8
Ne mu Kika kya Gaadi ne muvaamu abasajja ab'amaanyi abazira, abaagoberera Dawudi mu ddungu gye yali akoze ekigo ekigumu. Baali bannamagye abamanyirivu mu kulwana entalo, abamanyi okulwanyisa engabo n'amafumu, abatunuza obukambwe ng'empologoma era abasobola okudduka embiro ng'empeewo ez'oku nsozi. Be bano nga bwe baali baddiriŋŋana:
9
abakulira yali Ezeri, amuddirira Obadiya, owookusatu Eliyaabu,
10
owookuna Misumanno, owookutaano Yeremiya,
11
ow'omukaaga Attayi, ow'omusanvu Eliyeeli,
12
ow'omunaana Yohanaani, ow'omwenda Eluzabadi;
13
ow'ekkumi Yeremiya, n'ow'ekkumi n'omu, Makubannayi.
14
Ab'omu Kika kya Gaadi abo, be baali abakulu mu ggye, nga mu bo ow'amaanyi amatono asobola okulwanyisa abantu kikumi, ate asinga okuba ow'amaanyi, ng'asobola okulwanyisa abantu lukumi.
15
Abo be baasomoka Omugga Yorudaani, mu mwezi ogusooka mu mwaka, mu kiseera omugga ogwo mwe gwanjaalira ku mbalama zaagwo zonna, ne bagoba abatuuze bonna ab'omu biwonvu ne babasaasaanyiza ebuvanjuba era n'ebugwanjuba w'omugga.
16
Awo abamu ku b'omu Kika kya Benyamiini n'ekya Yuda ne bajja eri Dawudi mu kigo kye ekigumu.
17
Dawudi n'avaayo okubasisinkana, n'abagamba nti: “Oba nga muzze lwa bulungi gye ndi okunnyamba, mbaanirizza. Naye oba nga muzze kundyamu lukwe mumpeeyo eri abalabe bange nga tewali kabi ke nkoze, Katonda wa bajjajjaffe, akirabe ababonereze.”
18
Mwoyo wa Mukama n'ajja ku Amasaayi, omukulu wa bali amakumi asatu, n'agamba nti: “Tuli babo, Dawudi. Tuli ku ludda lwo, mutabani wa Yesse! Mirembe, emirembe gibe naawe. Era gibe n'abo abakuyamba. Kubanga Katonda wo ye muyambi wo.” Awo Dawudi n'abaaniriza, n'abafuula bakulu mu ggye lye.
19
Abamu ku batabaazi ab'omu Kika kya Manasse ne beegatta ku Dawudi, bwe yali ng'agenda awamu n'Abafilistiya mu lutalo okulwanyisa Sawulo. Kyokka Dawudi ne basajja be tebaasobola kuyamba Bafilistiya kubanga abakungu b'Abafilistiya bwe baamala okuteesa, ne bagoba Dawudi nga bagamba nti: “Yandituwaayo eri mukama we Sawulo, ne tutemwako emitwe.”
20
Dawudi bwe yali ng'addayo e Zikulagi, ab'omu Kika kya Manasse bano ne bamwegattako: Aduna ne Yozabadi, ne Yediyayeeli, ne Mikayeli, ne Yozabadi ne Elihu, ne Zilletaayi abaaduumiranga abaserikale olukumi lukumi mu ggye ly'Abamanasse.
21
Ne bayamba Dawudi okulwanyisa ebibinja ebyakolanga ebikwekweto, kubanga bonna bali basajja ba maanyi, abazira, era nga bakulu mu ggye.
22
Kumpi buli lunaku abalala bajjanga eri Dawudi okumwegattako, eggye lye ne lifuuka ddene nnyo eritagambika.
23
Gino gye miwendo gy'abo abajja eri Dawudi mu Heburooni nga bakutte ebyokulwanyisa mu ntalo, okumuyamba okufuuka Kabaka mu kifo kya Sawulo, nga Mukama bwe yagamba.
24
Ab'omu Kika kya Yuda kaakaga mu lunaana, abaakwata engabo n'amafumu, nga beetegese okulwana olutalo.
25
Ab'omu Kika kya Simyoni, abasajja ab'amaanyi abazira mu kulwana entalo, baali kasanvu mu kikumi.
26
Ab'omu Kika kya Leevi baali enkumi nnya mu lukaaga.
27
Yehoyaada eyakulembera abasibuka mu Arooni, yajja na nkumi ssatu mu lusanvu.
28
Zaddooki omuvubuka ow'amaanyi omuzira n'ab'omu nnyumba ya kitaawe, baali abakungu amakumi abiri mu babiri.
29
Ab'omu Kika kya Benyamiini abooluganda ne Sawulo, baali enkumi ssatu, kubanga mu kiseera ekyo abasinga obungi ku b'omu Kika ekyo baali bakyanyweredde ku b'ennyumba ya Sawulo.
30
Ab'omu Kika kya Efurayimu baali emitwalo ebiri mu lunaana, abasajja ab'amaanyi abazira era ab'amannya mu nnyumba za bajjajjaabwe.
31
Ab'omu kitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse baali omutwalo gumu mu kanaana, abaalondebwa okujja okufuula Dawudi Kabaka.
32
Ab'omu Kika kya Yissakaari, abaategeera ekiseera bwe kyali ne bamanya Yisirayeli ky'egwanidde okukola, baali abakulembeze ebikumi bibiri, ne baganda baabwe bonna abagondera ebiragiro byabwe.
33
Ab'omu Kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano abeesigwa era abamalirivu, abaatendekebwa okukozesa buli kyakulwanyisa kyonna.
34
Ab'omu Kika kya Nafutaali baali abakulembeze lukumi, wamu n'abantu baabwe emitwalo esatu mu kasanvu, ababagalidde engabo n'amafumu.
35
Ab'omu Kika kya Daani baali emitwalo ebiri mu kanaana mu lukaaga abaserikale abatendekeddwa okulwana olutalo.
36
N'ab'omu Kika kya Aseri baali emitwalo ena, abeeteeseteese okulwana olutalo.
37
Ab'omu Bika eby'ebuvanjuba wa Yorudaani, ekya Rewubeeni, ekya Gaadi, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, baali emitwalo kkumi n'ebiri, nga balina ebyokulwanyisa ebya buli ngeri.
38
Abaserikale abo bonna abaali batendekeddwa okulwana, ne bajja e Heburooni nga balina omutima omumalirivu okufuula Dawudi Kabaka wa Yisirayeli yonna. Era n'Abayisirayeli abalala bonna baali bamaliridde mu ngeri ye emu okufuula Dawudi Kabaka.
39
Ne bamalayo ennaku ssatu nga bali ne Dawudi, nga balya era nga banywa ebyo ab'eggwanga lyabwe bye baali babategekedde.
40
Abantu abaali ab'okumpi, n'abaali ab'ewala ng'ab'Ebika ekya Yissakaari, n'ekya Zebbulooni, n'ekya Nafutaali, ne baleeta endogoyi, eŋŋamiya, ennyumbu, n'ente nga zeetisse ebyokulya: obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, ebitole by'ettiini, n'ebirimba by'emizabbibu ebikaziddwa, n'omwenge, era n'omuzigo gw'emizayiti. Ne baleeta n'ente n'endiga nnyingi ez'okutta okulya, kubanga mu Yisirayeli yonna mwalimu essanyu.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
Recommended Reading
Commentary
1 Chronicles Commentaries
→
Devotional
1 Chronicles Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→