bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 27
1 Chronicles 27
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 28 →
1
Luno lwe lukalala lw'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, n'abakulira olukumi lukumi n'ekikumi kikumi mu magye, abaaweerezanga kabaka ku mulimu gw'obukulembeze mu Bayisirayeli bonna. Buli mwezi okumalako emyezi gyonna mu mwaka, waabangawo ekibinja kya basajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya, ekyabanga ku luwalo olw'okuweereza okwo, nga kirina abakikulira.
2
Yasobeyaamu mutabani wa Zebudyeli, ye yakulira ab'oluwalo olusooka, olw'omu mwezi ogw'olubereberye, era ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
3
Oyo yali asibuka mu Pereezi era nga ye akulira abakulu bonna ab'eggye eryali mu luwalo olw'omwezi ogw'olubereberye.
4
Dodayi muzzukulu wa Ahohi, ye yakulira ab'oluwalo olw'omwezi ogwokubiri. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya. Mikilooti ye yali omumyuka we.
5
Benaaya mutabani wa Yehoyaada kabona omukulu, ye yali omukulu w'eggye mu luwalo olw'omwezi ogwokusatu. N'ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
6
Oyo ye Benaaya eyali omusajja ow'amaanyi, omu ku “Makumi Asatu” era omukulembeze waabwe. Ne Ammizabaali mutabani we yali wa mu luwalo lwe.
7
Aseheeli muganda wa Yowaabu ye yali omukulembeze owookuna, era ye yakulembera oluwalo olw'omwezi ogwokuna. Zebadiya mutabani we ye yamuddirira. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
8
Omuduumizi owookutaano era eyakulira oluwalo olwokutaano, ye Samuhuti, asibuka mu Yizuhaari. N'ab'omu luwalo olulwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
9
Omuduumizi ow'omukaaga era ow'omu mwezi ogw'omukaaga, yali Yira mutabani wa Yikkesi ow'e Tekowa. N'ab'omu luwalo olulwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
10
Omuduumizi ow'omusanvu era ow'omu mwezi ogw'omusanvu, yali Helezi Omwefurayimu ow'e Peloni. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
11
Omuduumizi ow'omunaana era ow'omu omwezi ogw'omunaana, yali Sibbekaayi ow'e Huusa, asibuka mu Zera mu Kika kya Yuda. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
12
Abiyezeeri ow'e Anatooti, omu ku Babenyamiini, ye yali omuduumizi ow'omwenda era ow'omu mwezi ogw'omwenda. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
13
Maharaayi ow'e Netofa, asibuka mu Zera, ye yali omuduumizi ow'ekkumi era ow'omu mwezi ogw'ekkumi. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
14
Omuduumizi ow'ekkumi n'omu era ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu yali Benaaya ow'e Piratoni era asibuka mu Efurayimu. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
15
Omuduumizi ow'ekkumi n'ababiri era ow'omu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, yali Heludaayi ow'e Netofa, asibuka mu Otiniyeeli. Ab'omu luwalo lwe baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
16
Luno lwe lukalala lw'abaali bakulira ebika bya Yisirayeli: eyali akulira Abarewubeeni, yali Eliyezeeri mutabani wa Zikuri. Sefatiya mutabani wa Maaka, ye yali akulira Abasimyoni.
17
Hasabiya mutabani wa Kemweli, ye yali akulira Abaleevi, Zaddooki nga ye akulira abasibuka mu Arooni.
18
Elihu muganda wa Kabaka Dawudi, ye yali akulira Ekika kya Yuda, Omuri mutabani wa Mikayeli nga ye akulira ekya Yissakaari.
19
Ekika kya Zebbulooni kyali kikulirwa Yisumaaya mutabani wa Obadiya, nga Yerimooti mutabani wa Aziriyeeli ye akulira ekya Nafutaali.
20
Akulira Abeefurayimu yali Hoseya mutabani wa Azaziya, Yoweeli mutabani wa Pedaaya nga ye akulira ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse,
21
Yiddo mutabani wa Zekariya n'akulira ekimu ekyokubiri ekirala eky'Ekika kya Manasse mu Gileyaadi. Yaasiyeeli mutabani wa Abuneeri ye yali akulira Ekika kya Benyamiini,
22
Azareeli mutabani wa Yerohaamu nga ye akulira ekya Daani. Abo be baali abakulu b'Ebika bya Yisirayeli.
23
Kabaka Dawudi teyabala abo ab'emyaka amakumi abiri n'abatannagiweza, kubanga Mukama yali asuubizza okufuula Abayisirayeli abangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu.
24
Yowaabu mutabani w'omukazi Zeruyiya, n'atandika okubala abantu, kyokka n'atamaliriza. Okubala kuno okw'abantu, ne kuleetera Mukama okusunguwalira Yisirayeli, era n'omuwendo ogwabalibwa tegwawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe gya Kabaka Dawudi.
25
Eyalabiriranga amawanika ga kabaka ye Azumaveti mutabani wa Adiyeeli, ate eyalabiriranga amaterekero ag'omu nnimiro, n'ag'omu bibuga, n'ag'omu byalo, n'ag'omu bigo ebigumu eby'okwerindiramu, yali Yonataani mutabani wa Wuzziya.
26
Ezuri mutabani wa Kelubu, ye yakuliranga abo abaakolanga ogw'okulima mu nnimiro.
27
Simeeyi ow'e Raama ye yakuliranga ennimiro z'emizabbibu. Zabudi ow'e Sifumu ye yalabiriranga ebibala ebyanogebwanga okuteekebwa mu masogolero g'omwenge.
28
Baalihanani ow'e Gederi ye yalabiriranga emiti emizayiti, n'emisikamoori egyali mu nsenyi. Yowaasi ye yakuliranga amawanika omuterekebwa omuzigo ogw'emizayiti.
29
Amagana agaalundirwanga mu Saroni, gaalabirirwanga Situraayi ow'e Saroni. Safati mutabani wa Adulaayi, ye yalabiriranga amagana agaali mu biwonvu,
30
Obili Omuyisimayeli ye yalabiriranga eŋŋamiya, nga Yedeya ow'e Meronooti ye alabirira endogoyi.
31
Endiga n'embuzi zaalabirirwanga Yaziizi. Abo bonna be baalabiriranga ebintu bya Kabaka Dawudi.
32
Yonataani kitaawe omuto owa Dawudi, yali muwi wa magezi, nga musajja mutegeevu era munnyonnyozi wa Mateeka. Ye ne Yehiyeedi mutabani wa Hakumooni, be baalabiriranga batabani ba kabaka.
33
Ahitofeeli ye yeebuuzibwangako kabaka. Husaayi Omwaruki ye yali mukwano gwa kabaka.
34
Ahitofeeli bwe yavaawo, Abiyataari ne Yehoyaada mutabani wa Benaaya ne badda mu kifo kye. Yowaabu ye yali omukulu w'eggye lya kabaka.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
Recommended Reading
Commentary
1 Chronicles Commentaries
→
Devotional
1 Chronicles Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→