bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 13
1 Chronicles 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 14 →
1
Awo Kabaka Dawudi n'ateesa n'abakulu bonna mu ggye abakulira olukumi lukumi, n'abakulira ekikumi kikumi.
2
Awo n'agamba Abayisirayeli bonna abaali mu lukuŋŋaana olwo nti: “Bwe muba ng'ekyo kye musiima, era nga ne Mukama Katonda waffe ky'ayagadde, ka tutumire baganda baffe abalala mu bitundu bya Yisirayeli byonna, ne bakabona n'Abaleevi be bali nabo mu bibuga byabwe, ne mu byalo byabwe, bajje batwegatteko,
3
tukomyewo Essanduuko y'Endagaano eya Katonda waffe, gye twali tutakyafaako mu mirembe gya Sawulo.”
4
Bonna abaali bakuŋŋaanye ne bakisiima, kubanga baalaba nga kituufu.
5
Awo Dawudi n'akuŋŋaanya Abayisirayeli bonna, okuva ku Sihori akagga ak'oku nsalo ne Misiri, okutuuka awayingirirwa e Hamati, okuleeta Essanduuko y'Endagaano eya Katonda okugiggya e Kiriyati Yeyariimu.
6
Awo Dawudi n'agenda n'Abayisirayeli bonna e Baala, ye Kiriyati Yeyariimu, eky'omu Buyudaaya, okukimayo Essanduuko ey'Endagaano eya Katonda, eyitibwa Erinnya lya Mukama atuula ku bakerubi.
7
Essanduuko ya Katonda ne bagitwalira ku kigaali ekiggya nga bagiggya mu nnyumba ya Abinadabu. Wuzza ne Ahiyo ne bavuga ekigaali ekyo.
8
Dawudi n'Abayisirayeli bonna ne bazina n'amaanyi gaabwe gonna mu maaso ga Katonda, nga bayimba era nga batakiza ennanga n'entongooli, n'ebitaasa n'ensaasi, n'amakondeere.
9
Awo bwe batuuka mu gguuliro lya Kidoni, ente ne zeesittala, Wuzza n'agolola omukono gwe n'akwata Essanduuko okugiziyiza okugwa.
10
Mukama n'asunguwalira Wuzza oyo, n'amutta, kubanga yakwata ku Ssanduuko. Wuzza n'afiira awo mu maaso ga Katonda.
11
Dawudi n'anyiiga, kubanga Mukama yabonereza Wuzza mu busungu n'obukambwe. Okuva olwo ekifo ekyo ne kiyitibwa Perezuzza.
12
Ku lunaku olwo Dawudi n'atya Mukama, n'agamba nti: “Nnyinza ntya okutwala Essanduuko ya Katonda eka ewange?”
13
Dawudi n'atagitwala wuwe mu kibuga kye, wabula n'agikyamya n'agiteeka mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
14
Essanduuko ya Katonda n'emala emyezi esatu mu nnyumba ya Obededomu ng'eri n'ab'omu maka ge. Mukama n'awa omukisa amaka ga Obededomu ne byonna bye yalina.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
Recommended Reading
Commentary
1 Chronicles Commentaries
→
Devotional
1 Chronicles Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→