bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 26
1 Chronicles 26
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 27 →
1
Bano be baali abaggazi b'Essinzizo ku basibuka mu Koora, waaliwo Meselemiya mutabani wa Koore ow'omu nnyumba ya Asafu.
2
Meselemiya oyo yalina abaana ab'obulenzi, be bano: Zekariya, omuggulanda; Yediyeeli ye wookubiri, owookusatu Zebadiya, owookuna Yatuniyeeli,
3
owookutaano Elamu, ow'omukaaga Yehohanani, ow'omusanvu Eliyehowenayi.
4
Waaliwo ne Obededomu, yalina abaana ab'obulenzi, be bano: Semaaya omuggulanda, Yehozabaadi ye wookubiri; owookusatu Yowa, ne Sakari owookuna, ne Netaneeli owookutaano,
5
Ammiyeeli ow'omukaaga, Yissakaari ow'omusanvu, n'ow'omunaana Pewulletayi. Bw'atyo Katonda bwe yawa Obededomu omukisa.
6
Ne mutabani we Semaaya n'azaala abaana ab'obulenzi abaali abafuzi mu nnyumba ya bajjajjaabwe, kubanga baali basajja ba maanyi abazira.
7
Batabani ba Semaaya abo be bano: Otuni ne Refayeeli, ne Obedi, ne Eluzabadi, ne baganda baabwe Elihu ne Semakiya, abasajja abazira.
8
Abo bonna baali basibuka mu Obededomu, bo ne batabani baabwe ne baganda baabwe nga basajja ab'amaanyi era abakozi b'emirimu. Bonna awamu baali nkaaga mu babiri.
9
Meselemiya yalina abatabani n'abooluganda, abasajja abazira, kkumi na munaana.
10
Ku basibuka mu Merari, waaliwo Hosa. Yalina abaana ab'obulenzi be bano: Simuri, kitaawe gwe yafuula omukulu, newaakubadde nga si ye yali omuggulanda.
11
Owookubiri yali Hilukiya, owookusatu Tebaliya, n'owookuna Zekariya. Batabani ba Hosa bonna ne baganda be baali kkumi na basatu.
12
Abaggazi baayawulwamu ebibinja ebyo, ne baweebwanga empalo ez'okuweereza mu Ssinzizo kya Mukama, nga bagoberera abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, nga bwe kyabanga ku Baleevi bannaabwe abalala.
13
Buli mulyango baagukubiranga kalulu okulaba abanaagukuuma, ka babe bangi oba batono mu nnyumba ya bajjajjaabwe.
14
Akalulu ak'okukuuma omulyango ogw'ebuvanjuba ne kalonda Selemiya. Ne Zekariya mutabani we omuteesa ow'amagezi ne bamukubira akalulu, ne kamulondera omulyango ogw'omu bukiikakkono.
15
Obededomu n'alonderwa gwa mu bukiikaddyo, batabani be ne baweebwa kukuuma ggwanika.
16
Suppimu ne Hosa, ne baweebwa Omulyango ogw'Ebugwanjuba n'omulyango Salleketi, ku luguudo olwambuka, nga bakuuma batunuuliganye.
17
Oludda olw'ebuvanjuba lwakuumibwanga Abaleevi mukaaga buli lunaku, olw'ebukiikakkono bana, n'olw'obukiikaddyo bana buli lunaku, n'eggwanika babiri babiri.
18
Okuliraana olukuubo olw'ebugwanjuba, waaliwo abakuumi babiri.
19
Ebyo bye bibinja abaggazi, abasibuka mu Koora n'abasibuka mu Merari bye baagabanyizibwamu.
20
Ku Baleevi, Ahiha ye yali omukulu w'eggwanika ly'Essinzizo era ow'amaterekero g'ebintu ebiwongebwa.
21
Ab'ezzadde lya Laadani, abasibuka mu Gerusooni nga bayita mu Laadani, abaali abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe ez'ab'olulyo lwa Laadani oyo Omugerusooni, baali Yehiyeeli,
22
batabani ba Yehiyeeli oyo: Zetamu ne Yoweeli muganda we. Abo be baali abakulu b'amawanika g'Essinzizo.
23
Mu basibuka mu Amuraamu ne Yizuhaari ne Heburooni, ne Wuzziyeeli,
24
Sebweli mutabani wa Gerusooni, Gerusooni mutabani wa Musa, ye yali omukulu w'amawanika.
25
Sebweli oyo yalina oluganda ku basibuka mu Eliyezeeri muganda wa Gerusooni. Eliyezeeri ye yazaala Rehabiya, Rehabiya n'azaala Yesiya, Yesiya n'azaala Yoraamu, Yoraamu n'azaala Zikuri, Zikuri n'azaala Selomoti.
26
Selomoti oyo ne baganda be, be baali abakulu b'amawanika omwaterekebwanga ebintu byonna Kabaka Dawudi, n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, n'abakulira olukumi lukumi n'ekikumi kikumi mu magye, n'abaduumizi, bye baawongeranga Katonda.
27
Ku munyago gwe baanyaganga mu ntalo, kwe baatoolanga okuwongera Mukama okukuuma Essinzizo mu mbeera ennungi.
28
Selomoti ne baganda be, be baakuumanga ebintu byonna buli muntu bye yawonganga, omwali n'ebyo Samweli omulanzi ne Kabaka Sawulo mutabani wa Kiisi, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya, bye baawonga.
29
Mu basibuka mu Yizuhaari, Kenaniya ne batabani be baakwasibwa omulimu ogutali gwa mu Ssinzizo, wabula ogw'obufuzi mu Yisirayeli, okuba abaami n'abalamuzi.
30
Mu basibuka mu Heburooni, Hasabiya ne be yalinako oluganda abasajja lukumi mu lusanvu abazira, be baaweebwa omulimu ogw'okulabirira Yisirayeli mu kusinza Mukama, ne mu kuweereza kabaka emitala w'Omugga Yorudaani ku ludda olw'ebugwanjuba.
31
Yeriya ye yali omukulembeze w'abasibuka mu Heburooni bonna, nga bwe baali bawandiikiddwa nga bagoberera ennyumba za bajjajjaabwe. Mu mwaka ogw'amakumi ana nga Dawudi ye kabaka, ne wabaawo okunoonyereza ku bo. Ne wazuukawo mu bo, abasajja ab'amaanyi abazira e Yezeri mu kitundu ky'e Gileyaadi.
32
Kabaka Dawudi n'alonda Yeriya n'abamulinako oluganda, abasajja abazira enkumi bbiri mu lusanvu abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, okulabiriranga Abarewubeeni, n'Abagaadi, n'ekimu ekyokubiri eky'Abamanasse mu bikwata ku Katonda ne ku kuweereza kabaka emitala w'Omugga Yorudaani ku ludda olw'ebuvanjuba.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29