bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 22
1 Chronicles 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 23 →
1
Awo Dawudi n'agamba nti: Eno kye Kisulo Kya Mukama Katonda, era eno ye alutaari Abayisirayeli kwe banaayokeranga ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba.
2
Awo Dawudi n'alagira okukuŋŋaanya abagwira bonna abaali mu nsi ya Yisirayeli. N'alondamu, ab'okwasa amayinja n'okugakomola okuzimba Essinzizo.
3
N'ategeka ebyuma bingi eby'okuweesaamu emisumaali n'embaati eby'okugatta enzigi ez'emiryango eminene, n'eby'okuyunga ebintu eby'okukozesa mu kuzimba. N'ategeka n'ekikomo kingi, ekitaasobola na kupimibwa,
4
era n'emiti mingi nnyo egy'emivule egitaasobola kubalibwa, abantu b'e Sidoni n'e Tiiro gye baamuleetera.
5
Dawudi yagamba nti: “Essinzizo erigenda okuzimbirwa Mukama ligwana okuba eryekitiibwa ennyo, okwatiikirira n'okutenderezebwa mu nsi zonna. Naye mutabani wange Solomooni agenda okulizimba, akyali mwana muto, kyenva nditegekera eby'okulizimbisa.” Bw'atyo Dawudi n'ategeka bingi nnyo nga tannafa.
6
N'ayita Solomooni mutabani we, n'amukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Yisirayeli Essinzizo.
7
Dawudi n'amugamba nti: “Mwana wange, nayagala okuzimbira Mukama Katonda wange Essinzizo okumussaamu ekitiibwa.
8
Kyokka Mukama n'aŋŋaana ng'agamba nti: ‘Walwana entalo nnyingi, n'otta abantu bangi. Kale olw'omusaayi omungi gwe wayiwa nga ndaba, tojja kunzimbira Ssinzizo.
9
Wabula olizaala omwana ow'obulenzi, aliba omuntu ow'emirembe, kubanga ndimuwa emirembe, n'ataba na balabe ku njuyi zonna. Erinnya lye aliba Solomooni, kubanga mu bufuzi bwe ndiwa Yisirayeli emirembe n'obutebenkevu.
10
Oyo ye alinzimbira Essinzizo. Aliba mwana wange, nze ne mba kitaawe. Era ndinyweza entebe y'obwakabaka bwe mu Yisirayeli emirembe gyonna.’
11
Kale mwana wange, Mukama, Katonda wo abeere naawe, akuwe omukisa osobole okumuzimbira Essinzizo nga bwe yayogera ebifa ku ggwe.
12
Ekikulu, Mukama Katonda wo akuwe amagezi n'okutegeera, osobole okufuganga Yisirayeli ng'ogoberera Amateeka ge.
13
Bw'onoogonderanga Amateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa Yisirayeli ng'ayita mu Musa, ebintu byonna binaakugenderanga bulungi. Beera muvumu, ogume omwoyo, totya, era teweeraliikirira.
14
Laba nze nfubye nga bwe nsobola ne ntegekera Essinzizo talanta emitwalo kkumi eza zaabu, ne talanta akakadde kamu eza ffeeza, n'ekikomo n'ekyuma, ebitapimika olw'obungi bwayo. Era ntegese n'emiti n'amayinja. Naawe ku ebyo kw'olyongereza ebirala.
15
Era olinawo abakozi bangi nnyo: abayasa amayinja n'abo abagazimbisa, n'ababazzi, n'abalala abalina amagezi n'obumanyirivu okukola emirimu egya buli ngeri,
16
abatabalika bungi, nga bakozesa zaabu ne ffeeza n'ekikomo n'ekyuma. Situka otandike omulimu, era Mukama abeere naawe.”
17
Dawudi n'alagira abakulembeze bonna aba Yisirayeli okuyamba Solomooni mutabani we. N'agamba nti:
18
“Mukama Katonda wammwe ali wamu nammwe, era abawadde emirembe ku njuyi zonna. Yansobozesa okuwangula abantu ababeera mu nsi eno, ne bagondera Mukama era nammwe abantu be.
19
Kale kaakano Mukama Katonda wammwe mumuweereze n'omutima gwammwe gwonna n'omwoyo gwammwe gwonna. Musituke mutandike okuzimba Essinzizo, musobole okuteekamu Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, n'ebintu ebirala byonna ebitukuvu ebikozesebwa mu kumusinza, bibeerenga mu Ssinzizo erigenda okumuzimbirwa.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29