bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 9
1 Chronicles 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 10 →
1
Awo Abayisirayeli bonna ne bawandiikibwa amannya mu nkalala eziraga obuzaale bwabwe. Enkalala ezo ne ziwandiikibwa mu kitabo kya Bassekabaka ba Yisirayeli. Abantu b'omu Buyudaaya baali baatwalibwa e Babilooni nga basibe, okubabonereza olw'ebibi byabwe.
2
Abantu abaasooka okudda mu bibanja byabwe ne mu bibuga byabwe, baali abamu ku Bayisirayeli abaabulijjo, ne bakabona, n'Abaleevi, n'abakozi ab'omu Ssinzizo.
3
Abamu ku b'omu Bika ekya Yuda, n'ekya Benyamiini, n'ekya Efurayimu n'ekya Manasse, ne babeera mu Yerusaalemu, era be bano:
4
Wutayi mutabani wa Ammihudi, era muzzukulu wa bano nga bwe baddiriŋŋana: Owuri, ne Yimuri, ne Baani, ne Pereezi mutabani wa Yuda;
5
mu basibuka mu Seela mutabani wa Yuda: Asaya omuggulanda ne batabani be.
6
Ku batabani ba Zera era mutabani wa Yuda: Yeweli ne baganda be, bonna awamu abantu lukaaga mu kyenda.
7
Ku basibuka mu Benyamiini: Sallu mutabani wa Mesullamu, era muzzukulu wa Hoodaviya mutabani wa Hasenuwa;
8
Yibuniya mutabani wa Yerohaamu, ne Ela mutabani wa Wuzzi era muzzukulu wa Mikuri; ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya era muzzukulu wa Reweli mutabani wa Yibuniya.
9
Abasajja Ababenyamiini bonna awamu, baali lwenda mu ataano mu mukaaga. Abo bonna baali bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe.
10
Bano be bakabona abaabeeranga mu Yerusaalemu: Yedaaya, ne Yehoyaribu, ne Yakini,
11
ne Azariya mutabani wa Hilukiya era muzzukulu wa bano nga bwe baddiriŋŋana: Mesullamu, Zaddooki, Merayooti, ne Ahituubu eyalabiriranga Essinzizo.
12
Bakabona abalala baali: Adaaya mutabani wa Yerohaamu, Yerohaamu mutabani wa Pasuhuuri, Pasuhuuri mutabani wa Malukiya; ne Maasayi mutabani wa Adiyeeli, era muzzukulu wa bano nga bwe baddiriŋŋana: Yazera, Mesullamu, Mesillemiti, ne Yimmeri.
13
Bakabona abo baali bakulu mu nnyumba za bajjajjaabwe, era wamu ne baganda baabwe, baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baali basobolera ddala okukola obulungi emirimu gyonna egy'omu Ssinzizo,
14
Bano be Baleevi, abaabeeranga mu Yerusaalemu: Semaaya mutabani wa Hassubu, Hassubu mutabani wa Azurikaamu, Azurikaamu mutabani wa Hasibiya asibuka mu Merari;
15
ne Bakubakkari, Heresi, ne Galali, ne Mattaniya mutabani wa Mikka, Mikka mutabani wa Zikuri, Zikuri mutabani wa Asafu;
16
ne Obadiya mutabani wa Semaaya era muzzukulu wa Galali, Galali mutabani wa Yedutuuni, ne Berekiya mutabani wa Asa era muzzukulu wa Elukaana eyabeeranga mu byalo by'Abametofa.
17
Abaggazi: Sallumu, ne Akkubu, ne Talumooni, ne Ahimaani, ne baganda baabwe. Sallumu ye yali abakulira.
18
Abo be baggazi abaakuumanga omulyango ogw'ebuvanjuba ogwayitibwanga Omulyango gwa Kabaka. Era be baali abaggazi ku miryango egyayingiranga mu buli lusiisira lw'Abaleevi.
19
Sallumu mutabani wa Koore era muzzukulu wa Ebiyasaafu mutabani wa Koora, wamu n'ab'olulyo lwe abasibuka mu jjajjaabwe Koora, be baalabiriranga omulimu gw'obuweereza, nga be baggazi b'emiryango gy'Eweema, nga bajjajjaabe bwe baalabiriranga olusiisira lwa Mukama, nga be bakuumi b'omulyango.
20
Finehaasi mutabani wa Eleyazaari ye yakuliranga abaggazi abo mu biseera eby'edda, Mukama ng'ali naye.
21
Zekariya mutabani wa Meselemiya ye yali omuggazi w'omulyango oguyingira mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama.
22
Abo bonna abaalondebwa okuba abaggazi b'emiryango, baali ebikumi bibiri mu kkumi na babiri. Bawandiikibwa amannya gaabwe okusinziira ku buzaale bwabwe mu byalo byabwe gye baabeeranga. Abo be bantu Kabaka Dawudi n'omulanzi Samweli be baalonda okukolanga omulimu ogwo ogwateekebwawo.
23
Abantu abo wamu ne bazzukulu baabwe ne babeeranga abaggazi b'emiryango gy'Essinzizo mu mpalo.
24
Abaggazi abo baabeeranga ku njuyi zonna ez'Essinzizo: ebuvanjuba, n'ebugwanjuba, n'ebukiikakkono, n'ebukiikaddyo.
25
Ab'eŋŋanda zaabwe abaabeeranga mu byalo, bajjanga ne babayamba mu mpalo ku mulimu ogw'obuggazi, okumala ennaku musanvu musanvu.
26
Omulimu guno ogwateekebwawo gwaliko abaggazi abakulu bana Abaleevi, era be baalabiriranga ebisenge n'amawanika eby'oku Ssinzizo.
27
Baasulanga awo nga beetoolodde Essinzizo, kubanga be baakwasibwa omulimu ogw'okulikuuma n'ogw'okuliggulangawo buli nkya.
28
Abamu ku Baleevi baakwasibwa ogw'okulabiriranga ebintu ebikozesebwa mu kusinza, kubanga byabalibwanga nga bitwalibwa okukozesebwa, era ne bibalibwanga nga babikomezzaawo okubitereka.
29
Abalala ne bakwasibwa ogw'okulabiriranga ebintu ebirala byonna ebikozesebwa mu Kifo Ekitukuvu, n'okulabiriranga obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, n'omwenge ogw'emizabbibu, n'omuzigo, n'obubaane, n'ebyakaloosa.
30
Era abamu ku bakabona be baalongoosanga ebyakaloosa.
31
Mattitiya Omuleevi, omuggulanda wa Sallumu asibuka mu Koora, ye yakolanga omulimu ogwateekebwawo ogw'okufumba obugaati obw'empewere.
32
Abamu ku baganda baabwe ab'olulyo lwa Kohati, be baateekateekanga emigaati egiweebwayo eri Katonda egyateekebwanga ku mmeeza buli Sabbaato.
33
N'abamu ku Baleevi baali bayimbi era nga bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe. Baasulanga mu bisenge by'oku Ssinzizo, era tebaaweebwa mulimu mulala gwonna, kubanga omulimu ogwabwe baagukolanga emisana n'ekiro.
34
Abo baali bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe mu lulyo lw'Abaleevi, mu nnyiriri z'obuzaale bwabwe. Baali bakulembeze, era baabeeranga Yerusaalemu.
35
Yeyeli kitaawe wa Gibiyoni yabeeranga mu Gibiyoni. Erinnya lya mukazi we, nga ye Maaka.
36
Mutabani we omuggulanda yali Abudooni. Batabani be abalala be bano: Zuuri, ne Kiisi, ne Baali, ne Neeri, ne Nadabu,
37
ne Gedori, ne Ahiyo, ne Zekariya, ne Mikilooti,
38
kitaawe wa Simeyaamu. Abo nabo baabeeranga mu Yerusaalemu wamu ne baganda baabwe, okumpi n'ab'eŋŋanda zaabwe abalala.
39
Neeri yazaala Kiisi, Kiisi n'azaala Sawulo, Sawulo n'azaala Yonataani, ne Malukisuwa, ne Abinadabu, ne Esubaali.
40
Mutabani wa Yonataani yali Meribbaali kitaawe wa Mikka.
41
Batabani ba Mikka baali Pitoni, ne Meleki, ne Tareya,
42
ne Ahazi, kitaawe wa Yara. Yara yazaala Alemeti, ne Azumaveti, ne Zimuri kitaawe wa Moza.
43
Moza n'azaala Bineya, Bineya n'azaala Refaaya, Refaaya n'azaala Eleyaasa, Eleyaasa n'azaala Azeli.
44
Azeli oyo yazaala abalenzi mukaaga, era gano ge mannya gaabwe: Azurikaamu, Bokeru, ne Yisimayeli, ne Seyariya, ne Obadiya, ne Hanani. Abo be baali batabani ba Azeli.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29