bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 19
1 Chronicles 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 20 →
1
Awo ebyo bwe byaggwa, Kabaka Nahasi ow'Abammoni n'afa, mutabani we Hanuni n'amusikira ku bwakabaka.
2
Dawudi n'agamba nti: “Ŋŋenda okulaga Hanuni mutabani wa Nahasi ekisa, nga kitaawe bwe yandaga ekisa.” Dawudi n'atuma ababaka okumukubagiza olw'okufiirwa kitaawe. Abaweereza ba Dawudi ne batuuka ewa Hanuni mu nsi y'Abammoni okumukubagiza.
3
Kyokka abakulembeze b'Abammoni ne bagamba Hanuni nti: “Olowooza Dawudi okukutumira ab'okukukubagiza, ddala aba assaamu kitaawo kitiibwa? Abaweereza be bazze kwetegereza n'okuketta ensi, asobole okugiwamba.”
4
Awo Hanuni n'akwata abaweereza ba Dawudi, n'abamwako ebirevu, n'asalira ebyambalo byabwe wakati okukoma mu butuuriro bwabwe, n'abasiibula.
5
Abantu abamu ne babuulira Dawudi ebikoleddwa ku basajja abo. N'atuma abantu okubasisinkana, kubanga abasajja abo baali bakwatiddwa nnyo ensonyi okudda ewaabwe. Kabaka n'agamba nti: “Mugira musigala e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe nga bimaze okukula, mulyoke mukomewo.”
6
Kabaka Hanuni n'Abammoni bwe baalaba nga beekyayisizza Dawudi, ne basasula talanta lukumi eza ffeeza, okupangisa amagaali n'abeebagala embalaasi mu Mesopotaamiya ne mu Maaka ekya Siriya, ne mu Zoba.
7
Ne bapangisa amagaali emitwalo esatu mu enkumi bbiri, ne kabaka w'e Maaka n'abantu be. Abo ne bajja ne basiisira okwolekera Medeba. Abammoni ne bakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe, ne beetegeka okulwana.
8
Dawudi bwe yakiwulira, n'aweereza Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi.
9
Abammoni ne bafuluma, ne beeteekerateekera olutalo ku mulyango gw'ekibuga kyabwe ekikulu, ate bakabaka abajja, ne baba bokka mu kitundu eky'ettale.
10
Yowaabu bwe yalaba ng'abalabe bajja kumulumba nga bafuluma mu maaso n'emabega we, n'alonda mu basajja ba Yisirayeli abasinga obuzira, n'abategeka okwolekera Abasiriya.
11
Abalala bonna abaasigalawo n'abakwasa Abisaayi muganda we, ne beetegeka okwolekera Abammoni.
12
N'agamba Abisaayi nti: “Abasiriya bwe banansinza amaanyi, onojja n'onnyamba. Naye Abammoni bwe banaakusinza amaanyi, najja ne nkuyamba.
13
Ddamu amaanyi, tulwane masajja ku lw'abantu baffe ne ku lw'ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw'asiima.”
14
Yowaabu ne basajja be ne basembera okulwanyisa Abasiriya, Abasiriya ne badduka.
15
Abammoni bwe baalaba ng'Abasiriya badduse, nabo ne badduka Abisaayi muganda wa Yowaabu, ne baddayo mu kibuga. Awo Yowaabu n'addayo e Yerusaalemu.
16
Abasiriya bwe baalaba nga bawanguddwa Abayisirayeli, ne batuma ababaka, ne baggyayo Abasiriya abaali emitala w'Omugga Ewufuraate, ne Sofaki Omuduumizi w'eggye lya Hadadezeri nga ye mugabe.
17
Dawudi bwe baamubuulira n'akuŋŋaanya eggye lya Yisirayeli lyonna, n'asomoka Omugga Yorudaani, n'abatuukako, ne yeetegeka okubalwanyisa. Awo Dawudi bwe yamala okwetegeka okulwanyisa Abasiriya, Abasiriya abo ne bamulwanyisa.
18
Abasiriya, ne badduka Abayisirayeli. Dawudi n'atta mu Basiriya abasajja kasanvu abavuzi b'amagaali, n'abasajja emitwalo ena ab'ebigere n'atta ne Sofaki omuduumizi w'eggye.
19
Abaweereza ba Hadadezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Abayisirayeli, ne bakola endagaano ey'emirembe ne Dawudi, ne bafuuka baddu be. Awo Abasiriya ne batakkiriza kuyamba Bammoni mulundi mulala.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
Recommended Reading
Commentary
1 Chronicles Commentaries
→
Devotional
1 Chronicles Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→