bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 29
1 Chronicles 29
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
1
Awo Dawudi Kabaka, n'agamba abaali bakuŋŋaanidde awo nti: “Solomooni mutabani wange Katonda gwe yeelondedde, akyali mwana muto, ate ng'omulimu munene, kubanga luno si lubiri lwa bantu, naye Ssinzizo lya Mukama, Katonda.
2
Kyenvudde nfuba nga bwe nsobola okutegeka ebintu byonna eby'okuzimbisa Essinzizo lya Katonda wange: zaabu, ffeeza, ekikomo, ekyuma, emiti, amayinja ag'omuwendo, n'amayinja aganaatona, n'amayinja ag'okwola, n'amayinja amalala ag'omuwendo era amanyirivu ag'engeri zonna mangi ddala.
3
Okwongereza ku ebyo bye ntegekedde Essinzizo lya Katonda wange, mpaddeyo zaabu ne ffeeza nga nzigya ku bugagga obwange ku bwange, olw'okwagala kwe njagalamu Essinzizo lya Katonda wange.
4
Mpaddeyo talanta enkumi ssatu eza zaabu omulungi ennyo ow'e Ofiri, ne talanta kasanvu eza ffeeza omulongoose okubikka ku bisenge by'Essinzizo,
5
n'okukolamu ebintu byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza, abafundi bye balikola. Kale kaakano omulala ani eyeevuddemu ku lulwe okubaako by'awongera Mukama?”
6
Awo abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe n'abakulu b'Ebika bya Yisirayeli, n'abaduumizi b'abaserikale olukumi lukumi n'ekikumi kikumi, n'abo abalabirira emirimu gya kabaka ne babaako bye bawaayo nga beeyagalidde.
7
Olw'omulimu gw'Essinzizo, ne bawaayo talanta enkumi ttaano eza zaabu, n'ebisente ebya zaabu ebiyitibwa dariki, omutwalo gumu, ne talanta omutwalo gumu eza ffeeza, ne talanta omutwalo gumu mu kanaana ez'ekikomo, ne talanta emitwalo kkumi ez'ekyuma.
8
N'abo abaalina amayinja ag'omuwendo ennyo, ne bagawaayo mu ggwanika ly'Essinzizo eryali lirabirirwa Yehiyeeli Omuleevi asibuka mu Gerusooni.
9
Abantu ne basanyuka, kubanga abakulembeze baabwe baawaayo ku byabwe eri Mukama mu mutima omulungi, nga beeyagalidde. Kabaka Dawudi naye n'asanyuka nnyo.
10
Dawudi n'atendereza Mukama mu maaso g'abakuŋŋaanidde awo bonna. N'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa jjajjaffe Yisirayeli, otenderezebwe emirembe gyonna.
11
Ayi Mukama, ggwe nnannyini bukulu n'obuyinza n'ekitiibwa n'obuwanguzi era n'okugulumizibwa, kubanga byonna ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi, bibyo, ayi Mukama. Ggwe Kabaka asukkulumye era akulira ebintu byonna.
12
Ggwe ogaba obugagga n'ekitiibwa. Ggwe w'amaanyi n'obuyinza afuga byonna, era ggwe owa bonna obukulu era n'amaanyi.
13
Kale nno Katonda waffe, tukwebaza ne tutendereza erinnya lyo eryekitiibwa.
14
“Naye nze n'abantu bange tetuliiko kye tuyinza kugamba nti ddala ffe tukiwadde, kubanga byonna bye tulina, ggwe obituwa, era ku bibyo by'otuwa, kwe tutodde ne tukutonera.
15
Okimanyi ayi Mukama nti obulamu buno tubuyitamu nga bagenyi era batambuze, era nga bajjajjaffe bonna bwe baali. Ennaku zaffe ez'oku nsi ziyita nga kisiikirize, si za lubeerera.
16
Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tutegese okukuzimbira Essinzizo erinaaweesa erinnya lyo ettukuvu ekitiibwa, Ggwe wabituwa era byonna bibyo.
17
Era mmanyi, ayi Katonda wange, ng'ogeza omutima gw'omuntu, era osanyukira omuntu agoberera amazima. Nze nga nnina omutima ogutaliimu bukuusa, mpaddeyo ebintu bino byonna nga neeyagaridde, era kaakano ndabye abantu bo abali wano nga bawaayo gy'oli nga beeyagalidde, ne nsanyuka.
18
Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe Aburahamu, Yisaaka ne Yisirayeli, kuumanga bulijjo endowooza efaanana bw'etyo mu bantu bo, era kuumanga emitima gyabwe nga gikunywereddeko.
19
Era owe mutabani wange Solomooni omutima ogweweerayo ddala okukwatanga amateeka go ne byonna by'olagira ne by'okuutira, n'okuzimba Essinzizo lye ntegekedde ebintu.”
20
Awo Dawudi n'agamba abakuŋŋaanidde awo bonna nti: “Kaakano mutendereze Mukama Katonda wammwe.” Abantu bonna abaali bakuŋŋaanidde awo ne batendereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. Ne bakutama emitwe gyabwe, ne bassaamu Mukama ekitiibwa era ne kabaka.
21
Ne bawaayo ebitambiro eri Mukama. Ku lunaku olwaddirira, ne bawaayo ebitambiro ebyokebwa nga biramba: ente ennume lukumi, n'endiga ennume lukumi, n'endiga ento lukumi, n'ebiweebwayo ebyokunywa ebigenderako, n'ebitambiro ebirala bingi nnyo olwa Yisirayeli yonna.
22
Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama, ne basanyuka nnyo ku lunaku olwo. Ne baddamu okulangirira Solomooni mutabani wa Dawudi okuba Kabaka, ne bamufukako omuzigo okubafuganga mu linnya lya Mukama, ne bagufuka ne ku Zaddooki okuba Kabona.
23
Awo Solomooni n'atuula ku ntebe ey'obwakabaka, Mukama gye yateekawo, n'aba Kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, n'agitebenkerako, Eggwanga lyonna erya Yisirayeli ne limugondera.
24
Abakungu bonna n'abaserikale ab'amaanyi, era ne batabani ba Kabaka Dawudi abalala bonna, ne bagondera Solomooni kabaka.
25
Mukama n'aleetera Yisirayeli yonna okuwa Solomooni ekitiibwa eky'obwakabaka, ekitalabwanga ku kabaka yenna eyasooka mu Yisirayeli.
26
Dawudi mutabani wa Yesse yafuga Yisirayeli yonna
27
emyaka amakumi ana. Yafugira mu Heburooni emyaka musanvu, ne mu Yerusaalemu emyaka amakumi asatu mu esatu.
28
N'afa ng'awagadde nnyo, akaddiye, ng'agaggawadde era nga waakitiibwa. Solomooni mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
29
Ebyo Kabaka Dawudi bye yakola, okuva ku byasooka n'okutuukira ddala ku byasembayo, byawandiikibwa mu biwandiiko by'abalanzi Samweli ne Natani ne Gaadi.
30
Ebyawandiikibwa ebyo biraga obufuzi bwe bwonna nga bwe bwali, n'amaanyi ge yalina, n'ebintu byonna ebyamutuukako n'ebyatuuka ku Yisirayeli, ne ku bwakabaka bwonna obw'ensi ezeetooloddewo.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29