bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 24
1 Chronicles 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 25 →
1
Ab'olulyo lwa Arooni baali bagabanyizibwamu bwe bati: Batabani ba Arooni be bano: Nadabu ne Abihu ne Eleyazaari, ne Yitamaari.
2
Kyokka Nadabu ne Abihu be ne baasooka kitaabwe okufa, era baafa nga tebalina baana. Kale Eleyazaari ne Yitamaari ne ne baba bakabona.
3
Kabaka Dawudi wamu ne Zaddooki asibuka mu Eleyazaari, ne Ahimeleki asibuka mu Yitamaari, ne baawulamu bakabona ebibinja bye banaakolerangamu emirimu gyabwe.
4
Mu basibuka mu Eleyazaari mwasangibwamu abasajja abakulu bangi okusinga ku abo abasibuka mu Yitamaari. N'olwekyo abasibuka mu Eleyazaari ne baawulwamu ennyumba kkumi na mukaaga eza bajjajjaabwe, n'abasibuka mu Yitamaari ne baawulwamu ennyumba munaana eza bajjajjaabwe.
5
Nga bwe waaliwo abakulira Essinzizo n'abakulira eby'okusinza ku njuyi zombi: olw'abasibuka mu Eleyazaari n'olw'abasibuka mu Yitamaari, emirimu gyonna gyagabibwanga nga bakuba bululu.
6
Oluwalo olumu lwalonderwanga ab'ennyumba emu ey'abasibuka mu Eleyazaari, n'olulala ne lulonderwa ab'ennyumba emu ey'abasibuka mu Yitamaari, Semaaya omuwandiisi era omu ku Baleevi, mutabani wa Netaneeli, n'abawandiikira mu maaso ga kabaka, n'abakungu, ne Zaddooki kabona, ne Ahimeleki mutabani wa Abiyataari, n'abakulu b'ennyumba za bajjajja ba bakabona n'Abaleevi.
7
Awo akalulu akasooka ne kalonda Yehoyaribu, akookubiri Yedaaya;
8
akookusatu Harimu, akookuna Seyoriimu;
9
akookutaano Malukiya, ak'omukaaga Miyamini;
10
ak'omusanvu Hakkozi, ak'omunaana Abiya;
11
ak'omwenda Yesuwa, ak'ekkumi Sekaniya;
12
ak'ekkumi n'akamu Eliyasibu; n'ak'ekkumi n'obubiri Yakimu;
13
ak'ekkumi n'obusatu Huppa, ak'ekkumi n'obuna Yesebeyaabu;
14
ak'ekkumi n'obutaano Biluga, ak'ekkumi n'omukaaga Yimmeri;
15
ak'ekkumi n'omusanvu Heziri, ak'ekkumi n'omunaana Happizzeezi;
16
ak'ekkumi n'omwenda Petahiya, ak'amakumi abiri Yehezukeeli;
17
ak'abiri mu kamu Yakini, ak'abiri mu bubiri Gamuli;
18
ak'abiri mu busatu Delaaya, ak'abiri mu buna Maaziya.
19
Eyo ye ngeri gye baatereezebwamu okujjanga mu Ssinzizo kya Mukama okukola omulimu gw'obuweereza bwabwe, obwabateerwawo jjajjaabwe Arooni, nga Mukama Katonda wa Yisirayeli bwe yamulagira.
20
Bano be bakulu b'ennyumba z'abalala abasibuka mu Leevi: ku basibuka mu Amuraamu, Subayeeli; ku basibuka mu Subayeeli, Yedeya.
21
Aba Rehabiya, mutabani we Yissiya ye mukulu.
22
Ku Bayizuhaari, Selomoti; ku basibuka mu Selomoti, Yahati.
23
Ate batabani ba Heburooni, omukulu Yeriya, owookubiri Amariya, owookusatu Yahaziyeeli, n'owookuna Yekameyamu.
24
Mutabani wa Huzziyeeli: Mikka; mutabani wa Mikka, Samiri.
25
Muganda wa Mikka: Yissiya; ku batabani ba Yissiya, Zekariya.
26
Abasibuka mu Merari: Mahuli, ne Muusi, ne batabani ba Yaaziya.
27
Bazzukulu ba Merari abazaalibwa Yaaziya: Beno, ne Sohamu, ne Zakkuri, ne Yiburi.
28
Ku basibuka mu Mahuli: Eleyazaari ataazaala baana ba bulenzi.
29
Ku basibuka mu Kiisi, mutabani we Yerameeli.
30
Ate batabani ba Muusi: Mahuli, ne Ederi, ne Yerimooti. Abo be basibuka mu Leevi nga bwe baali mu nnyumba za bajjajjaabwe.
31
Era ne bano ne bakola nga baganda baabwe abasibuka mu Arooni bwe baakola, buli mukulu wa nnyumba ya bajjajjaabwe ne muto we, ne bakuba obululu mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zaddooki ne Ahimeleki, n'ag'abakulu b'ennyumba za bakabona n'Abaleevi.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
Recommended Reading
Commentary
1 Chronicles Commentaries
→
Devotional
1 Chronicles Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→