bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 15
1 Chronicles 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 16 →
1
Awo Dawudi ne yeezimbira amayumba mu kibuga ekiyitibwa ekya Dawudi. N'ategekera Essanduuko ya Katonda ekifo, n'agisimbira eweema.
2
Awo Dawudi n'agamba nti: “Tewali balala banaasitula Ssanduuko ya Katonda, wabula Abaleevi, kubanga abo Mukama be yalonda okugisitulanga n'okugirabiriranga ennaku zonna.”
3
Awo Dawudi n'ayita Abayisirayeli bonna, ne bajja e Yerusaalemu okutwala Essanduuko ya Mukama mu kifo kye yali agitegekedde.
4
N'ayita abasajja ab'olulyo lwa Arooni, n'Abaleevi.
5
Ku b'omu nnyumba ya Kohati, ne wajja Wuriyeeli, ne baganda be kikumi mu abiri b'akulembera.
6
Ku b'omu nnyumba ya Merari ne wajja Asaya ne baganda be ebikumi bibiri mu abiri b'akulembera.
7
Ku b'omu nnyumba ya Gerusoomu, ne wajja Yoweeli ne baganda be, kikumi mu asatu b'akulembera.
8
Ku b'omu nnyumba ya Elizafani, ne wajja Semaaya ne baganda be ebikumi bibiri b'akulembera.
9
Ku b'omu nnyumba ya Heburooni, ne wajja Eliyeeli ne baganda be kinaana b'akulembera.
10
Ku b'omu nnyumba ya Wuzziyeeli, ne wajja Amminadabu ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri b'akulembera.
11
Awo Dawudi n'ayita bakabona Zaddooki ne Abiyataari, n'Abaleevi bali omukaaga: Wuriyeeli ne Asaya, ne Yoweeli, ne Semaaya, ne Eliyeeli, ne Amminadabu.
12
N'abagamba nti: “Mmwe bakulu b'ennyumba za bajjajjammwe mu Kika kya Leevi. Mwetukuze, mmwe ne baganda bammwe, mulyoke muleete Essanduuko ya Mukama Katonda wa Yisirayeli, mu kifo kye ngitegekedde.
13
Kubanga si mmwe mwagisitula ku mulundi ogwasooka, Mukama Katonda waffe kyeyava atubonereza mu busungu n'obukambwe, olw'obutakola nga bwe yalagira.”
14
Awo bakabona n'Abaleevi ne beetukuza balyoke baleete Essanduuko ya Mukama Katonda wa Yisirayeli.
15
Ne bagisitulira ku bibegabega byabwe, ku miti kw'esitulirwa, nga Musa bwe yabalagira ng'atuukiriza ekyo Mukama kye yagamba.
16
Dawudi n'alagira abakulu b'Abaleevi okuteekawo baganda baabwe abayimbi, bayimbe era bakube ebivuga eby'entongooli n'ennanga n'ebitaasa mu ddoboozi ery'essanyu.
17
Awo Abaleevi ne balonda Hemani mutabani wa Yoweeli, n'omu ku baganda be: Asafu mutabani wa Berekiya, ne Etani mutabani wa Husaayi omu ku baganda baabwe ab'omu lulyo lwa Merari.
18
Ne bateekawo ne baganda baabwe ab'okubayambako: Zekariya, Beeni ne Yaaziyeeli, ne Semiramoti, ne Yehiyeeli, ne Wunni, Eliyaabu, ne Benaaya, ne Maaseya, ne Mattitiya, ne Elifelehu, ne Mikuneya ne Obededomu, ne Yeyeli, abaggazi.
19
Abayimbi Hemani, Asafu, ne Etani, ne bateekebwawo okukuba ebitaasa eby'ekikomo.
20
Zekariya, ne Aziyeeli ne Semiramoti, ne Yehiyeeli, ne Wunni, ne Eliyaabu, ne Maaseya, ne Benaaya, ne bateekebwawo, okukuba entongooli ez'eddoboozi eryawaggulu.
21
Mattitiya, ne Elifelehu ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeli ne Azaziya, be baateekebwawo okukulemberanga ennyimba ku nnanga ez'eddoboozi eryeggunda.
22
Kenaniya omukulu w'Abaleevi, nga bwe yali omukugu mu by'ennyimba, ye yakuliranga era ye yayigirizanga eby'ennyimba.
23
Berekiya ne Elukaana be baali abaggazi abakuuma Essanduuko ey'Endagaano.
24
Sebaniya ne Yosafaati ne Netaneeli, ne Amasaayi, ne Zekariya ne Benaaya ne Eliyezeeri bakabona, be baafuuwanga amakondeere mu maaso g'Essanduuko ya Katonda. Obededomu ne Yehiya nabo baali baggazi abaakuumanga Essanduuko eyo.
25
Awo Kabaka Dawudi, n'abakulembeze mu Yisirayeli, n'abakulira olukumi lukumi, ne bagenda n'essanyu okukima Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, nga bagiggya mu nnyumba ya Obededomu.
26
Ne bawaayo ekitambiro ky'ente ennume musanvu ne sseddume z'endiga musanvu, nga Katonda asobozesezza Abaleevi okusitula Essanduuko ye ey'Endagaano.
27
Dawudi n'ayambala omunagiro ogw'olugoye olweru olulungi ennyo, era n'abayimbi ne Kenaniya omukulembeze waabwe, n'Abaleevi bonna abaasitula Essanduuko ey'Endagaano, ne bambala bwe batyo. Era Dawudi yali ayambadde n'ekkanzu ey'olugoye olweru.
28
Bwe batyo Abayisirayeli bonna ne baleeta Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama nga baleekaana n'amaloboozi ag'essanyu, nga bafuuwa eŋŋombe n'amakondeere, era nga bakuba nnyo ebitaasa ebisaala, n'entongooli n'ennanga.
29
Awo Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bwe yali ng'etuuka mu Kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba Kabaka Dawudi ng'azina era nga abuuka olw'essanyu, n'amunyooma mu mutima gwe.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29