bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 11
1 Chronicles 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 12 →
1
Awo Abayisirayeli bonna ne bakuŋŋaana, ne bajja eri Dawudi mu Heburooni ne bamugamba nti: “Tuli baganda bo ddala.
2
Mu biro eby'edda, Sawulo bwe yali nga ye kabaka, ggwe wakulemberanga Abayisirayeli mu ntabaalo. Mukama Katonda wo n'akugamba nti: ‘Ggwe olikulembera abantu bange Abayisirayeli, era ggwe oliba omufuzi waabwe.’ ”
3
Awo abakulembeze bonna aba Yisirayeli ne bajja eri Kabaka Dawudi mu Heburooni. N'akolerayo nabo endagaano mu maaso ga Mukama, ne bamufukako omuzigo okuba kabaka wa Yisirayeli, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Samweli.
4
Awo Dawudi n'Abayisirayeli bonna ne bagenda ne balumba Yerusaalemu. Olwo kyali kiyitibwa Yebusi, ng'Abayebusi, abatuuze b'omu nsi eyo be bakibeeramu.
5
Awo Abayebusi ne bagamba Dawudi nti: “Tojja kuyingira muno.” Naye Dawudi n'awamba ekigo ky'e Siyooni, ne kifuuka Ekibuga kya Dawudi.
6
Dawudi n'agamba nti: “Anasooka okuttayo Abayebusi ye anaafuuka omukulu era omuduumizi w'eggye.” Awo Yowaabu nga nnyina ye Zeruyiya, n'aba nga ye asoose okulumba, n'afuuka omukulu w'eggye.
7
Dawudi n'agenda n'abeera mu kigo ekyo, kyebaava bakiyita Ekibuga kya Dawudi.
8
N'akizimba buggya enjuyi zonna okutandikira mu kifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Millo. Yowaabu n'azimba buggya ebitundu ebirala eby'ekibuga ekyo.
9
Dawudi n'agenda nga yeeyongera okuba ow'amaanyi, kubanga Mukama Nnannyinimagye yali naye.
10
Bano be baali abakulu, abasajja ab'amaanyi, abazira Dawudi be yalina. Nga bali wamu n'Abayisirayeli bonna, baamuyamba okufuuka kabaka, nga Mukama bwe yagamba ku Ggwanga lya Yisirayeli, era be baakuuma obwakabaka bwe nga bwa maanyi.
11
Abasajja abo ab'amaanyi Dawudi be yalina, be bano: Yasobeyaamu Omuhakimooni omukulu w'abo Amakumi Asatu. Olumu yakwata effumu lye n'alwanyisa abasajja ebikumi bisatu, n'abatta.
12
Owookubiri ku basatu ab'amaanyi, ye Eleyazaari mutabani wa Dodo Omwahohi.
13
Yali wamu ne Dawudi e Pasidammimu, Abafilistiya bwe baakuŋŋaanira eyo okubalwanyisa mu lutalo awaali omusiri ogujjuddemu bbaale, Abayisirayeli abalala ne badduka.
14
Ye ne basajja be ne bayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, ne batta Abafilistiya. Mukama n'abawa obuwanguzi obw'amaanyi.
15
Awo abasatu ku bakulu amakumi asatu ne baserengeta, ne bajja eri Dawudi mu mpuku y'e Adullamu, eggye ly'Abafilistiya nga lisiisidde mu Kiwonvu Refayiimu.
16
Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo ekigumu, ate Abafilistiya ng'enkambi yaabwe bagikubye Betilehemu.
17
Dawudi ne yeegomba, n'agamba nti: “Kale singa wabaddewo anandeetera amazzi ag'okunywa agava ku luzzi olw'e Betilehemu, oluli okumpi ne wankaaki.”
18
Awo abo abasatu ne bawaguza mu lusiisira olw'Abafilistiya, ne basena amazzi mu luzzi olw'e Betilehemu, olwali okumpi ne wankaaki, ne bagaleetera Dawudi. Kyokka Dawudi n'atakkiriza kuganywako, wabula n'agayiwa ku ttaka ng'ekiweebwayo eri Mukama,
19
n'agamba nti: “Katonda wange aleme kunzikiriza kunywa mazzi gano, kubanga kiri ng'okunywa omusaayi gw'abasajja bano abawaddeyo obulamu bwabwe okugakima.” Kyeyava agaana okuganywako. Ebyo bye byobuzira abasajja abasatu abo ab'amaanyi bye baakola.
20
Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w'abasatu. Yakwata effumu lye n'alwanyisa abasajja ebikumi bisatu, n'abatta, n'ayatiikirira mu basatu.
21
Ku basatu abo, yali waakitiibwa, ababiri baamussangamu ekitiibwa n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu ab'olubereberye.
22
Benaaya mutabani wa Yehoyaada ow'e Kabuzeeli naye yali musajja muzira, yakola ebikolwa eby'amaanyi. Yatta Abamowaabu babiri ab'amaanyi ng'empologoma. Era olumu mu biseera eby'obutiti, yakka mu bunnya n'atta empologoma.
23
Era yatta Omumisiri, omusajja omuwanvu ennyo, eyali asobya mu mita ebbiri obuwanvu. Omumisiri oyo yali akutte effumu ng'olunyago lwalyo lwenkana empagi erukirwako engoye. Benaaya n'agenda gy'ali ng'alina muggo, n'amusikako effumu lye, n'alimufumisa, n'amutta.
24
Ebyo Benaaya mutabani wa Yehoyaada bye yakola, n'ayatiikirira ku basajja abo ab'amaanyi abasatu.
25
Kale yalina ekitiibwa okusinga abo amakumi asatu, kyokka teyali mututumufu nga bali abasatu ab'olubereberye. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi be.
26
Abasajja abalala ab'amaanyi mu ab'omu ggye be bano: Asaheeli muganda wa Yowaabu, Eluhanani mutabani wa Dodo ow'e Betilehemu.
27
Sammoti Omuharori, Helezi Omupelooni;
28
Yira mutabani wa Yikkesi Omutekowa; Abiyezeeri Omwanatooti;
29
Sibbekaayi Omuhusati, Yilayi Omwahohi;
30
Maharaayi Omunetofa, Heledi mutabani wa Baana Omunetofa;
31
Yitayi mutabani wa Ribayi ow'e Gibeya eky'Ababenyamiini. Benaaya Omupiratoni.
32
Hurayi ow'oku bugga bw'e Gaasi. Abiyeeli Omwaruuba,
33
Azumaveti Omubaharuumu. Eliyaaba Omusaalubooni.
34
Batabani ba Hasemu Omugizoni, Yonataani mutabani wa Sage Omuharari.
35
Ahiyaamu mutabani wa Sakari Omuharari, Elifaali mutabani wa Wuuri.
36
Heferi ow'e Mekera, Ahiya Omupelooni.
37
Heziro Omukarumeeli, Naarayi mutabani wa Ezubaayi.
38
Yoweeli muganda wa Natani, Mibuhaari mutabani wa Haguri.
39
Zeleki Omwammoni, Naharayi Omubeeroti, eyakwatanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya.
40
Yira Omuyituri, Garebu Omuyituri;
41
Wuriya Omuhiiti, Zabadi mutabani wa Ahulaayi.
42
Adina mutabani wa Siza Omurewubeeni era omukulembeze w'Abarewubeeni wamu n'ekibinja kye eky'amakumi asatu.
43
Hanani mutabani wa Maaka, ne Yosafaati Omumituni;
44
Wuzziya Omwasuteraati, Saama ne Yeyeli batabani ba Hotamu Omwaroweri;
45
Yediyayeeli, ne Yoha, batabani ba Simuri ow'e Tiizi;
46
Eliyeeli Omumahavi, ne Yeribayi, ne Yosaviya, batabani ba Elunaamu, ne Yitima Omumowaabu;
47
Eliyeeli, ne Obedi, ne Yaasiyeeli Omumezooba.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
Recommended Reading
Commentary
1 Chronicles Commentaries
→
Devotional
1 Chronicles Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→