bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 14
1 Chronicles 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 15 →
1
Awo Hiraamu Kabaka w'e Tiiro n'atumira Dawudi ababaka, n'amuweereza emiti egy'emivule, n'ababazzi, n'abazimbi b'amayinja, bazimbire Dawudi olubiri.
2
Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Yisirayeli, kubanga obwakabaka bwe yabugulumiza ku lw'abantu be Abayisirayeli.
3
Dawudi ng'ali eyo mu Yerusaalemu, n'awasaayo abakazi abalala, ne yeeyongera okuzaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
4
Era gano ge mannya g'abaana, be yazaalira e Yerusaalemu: Sammuwa ne Sobabu, Natani ne Solomooni,
5
Yibuhaari ne Elisuuwa ne Elupeleti,
6
ne Nooga, ne Nefegi, ne Yafiya,
7
ne Elisaama, ne Beeliyaada ne Elifeleti.
8
Abafilistiya bwe baawulira nga Dawudi asiigiddwako omuzigo okuba kabaka wa Yisirayeli yonna, ne bakuŋŋaana bonna ne bagenda bamunoonye. Dawudi bwe yakiwulira, n'agenda okubalwanyisa.
9
Mu kiseera ekyo Abafilistiya baali bazze ne bazinda Ekiwonvu Refayiimu.
10
Dawudi n'abuuza Katonda nti: “ŊŊende nnumbe Abafilistiya? Ononsobozesa okubawangula?” Mukama n'amugamba nti: “Genda, nja kukusobozesa okubawangula.”
11
Awo Abafilistiya ne bagenda e Baali-Peraziimu, Dawudi n'abawangulira eyo. N'agamba nti: “Katonda ankozesezza, n'amenya abalabe bange, ng'omujjuzo gw'amazzi bwe gumenya embibiro.” Ekifo ekyo kyebaava bakituuma Baali-Peraziimu.
12
Abafilistiya ne baleka awo ttayo ebifaananyi byabwe bye basinza, Dawudi n'alagira basajja be bakyokye.
13
Abafilistiya ne bakomawo nate, ne bazinda ekiwonvu.
14
Dawudi n'addamu okubuuza Katonda. Katonda n'amugamba nti: “Tobawondera. Kyuka obaveeko, obatuukeko ng'obafuluma mu maaso g'emitugunda.
15
Awo bw'onoowulira enswagiro ku masanso g'emitugunda, n'olyoka olumba, kubanga nze Katonda nkukulembeddemu okuwangula eggye ly'Abafilistiya.”
16
Dawudi n'akola nga Katonda bwe yamulagira, ne bagenda nga batta ab'omu ggye ly'Abafilistiya okuva e Gibiyoni okutuuka e Gezeri.
17
Ettutumu lya Dawudi ne libuna ensi zonna, era Mukama n'aleetera amawanga gonna okutya Dawudi.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
Recommended Reading
Commentary
1 Chronicles Commentaries
→
Devotional
1 Chronicles Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→