bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 6
1 Chronicles 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 7 →
1
Batabani ba Leevi: Gerusoomu, Kohati, ne Merari.
2
Batabani ba Kohati: Amuraamu, ne Yizuhaari, ne Heburooni, ne Wuzziyeeli.
3
Abaana ba Amuraamu: Arooni, ne Musa, ne Miriyamu. Batabani ba Arooni: Nadabu, ne Abihu, Eliyazaari ne Yitamaari.
4
Eliyazaari yazaala Finehaasi, Finehaasi n'azaala Abisuuwa,
5
Abisuuwa n'azaala Bukki, Bukki n'azaala Wuzzi,
6
Wuzzi n'azaala Zerahiya, Zerahiya n'azaala Merayooti,
7
Merayooti n'azaala Amariya, Amariya n'azaala Ahituubu.
8
Ahituubu yazaala Zaddooki, Zaddooki n'azaala Ahimaazi,
9
Ahimaazi n'azaala Azariya, Azariya n'azaala Yohanaani,
10
Yohanaani n'azaala Azariya eyaweereza mu bwakabona mu Ssinzizo, Solomooni lye yazimba mu Yerusaalemu.
11
Azariya oyo yazaala Amariya, Amariya n'azaala Ahituubu,
12
Ahituubu n'azaala Zaddooki, Zaddooki n'azaala Sallumu,
13
Sallumu n'azaala Hilukiya, Hilukiya n'azaala Azariya.
14
Azariya yazaala Seraya, Seraya n'azaala Yehozadaaki,
15
Yehozadaaki oyo yawaŋŋangusibwa, Mukama bwe yatwala ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu mu busibe ng'akozesa Nebukadunezzari.
16
Batabani ba Leevi: Gerusoomu, Kohati, ne Merari.
17
Amannya g'abatabani ba Gerusoomu ge gano: Libuni ne Simeeyi.
18
Batabani ba Kohati: Amuraamu, ne Yizihaari, ne Heburooni, ne Wuzziyeeli.
19
Batabani ba Merari: Mahuli ne Musi. Olwo lwe lulyo lw'Abaleevi, nga bajjajjaabwe bwe baddiriŋŋana.
20
Bano be basibuka mu Gerusoomu: Gerusoomu yazaala Libuni, Libuni n'azaala Yahati, Yahati n'azaala Zimma.
21
Zimma yazaala Yoowa, Yoowa n'azaala Yiddo, Yiddo n'azaala Zeta, Zeta n'azaala Yeyaterayi.
22
Bano be basibuka mu Kohati: Kohati yazaala Amminadabu, Amminadabu n'azaala Koora, Koora n'azaala Asiiri.
23
Asiiri yazaala Elukaana, Elukaana n'azaala Ebiyasaafu, Ebiyasaafu n'azaala Asiiri, Asiiri
24
n'azaala Tahati, Tahati n'azaala Wuriyeeli, Wuriyeeli n'azaala Wuzziya, Wuzziya n'azaala Sawuuli.
25
Abasibuka mu Elukaana be bano: Elukaana yazaala Amasaayi ne Ahimooti, Ahimooti
26
n'azaala Elukaana, Elukaana n'azaala Zoofayi, Zoofayi n'azaala Nahati, Nahati
27
n'azaala Eliyaabu, Eliyaabu n'azaala Yerohaamu, Yerohaamu n'azaala Elukaana.
28
Samweli yazaala abaana babiri: Yoweeli ye muggulanda we, owookubiri ye Abiya.
29
Bano basibuka mu Merari: Merari yazaala Mahuli, Mahuli n'azaala Libuni, Libuni n'azaala Simeeyi, Simeeyi n'azaala Wuzza. Wuzza
30
yazaala Simeeya, Simeeya n'azaala Haggiya, Haggiya n'azaala Asaya.
31
Waliwo abantu Kabaka Dawudi be yalonda okukulira eby'okuyimba mu Ssinzizo ly'e Yerusaalemu, Essanduuko y'Endagaano ya Mukama bwe yamala okuyingizibwa mu Ssinzizo eryo.
32
Baaweerezanga mu mpalo mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, nga bayimba, okutuusa Kabaka Solomooni bwe yamala okuzimba Essinzizo lya Mukama mu Yerusaalemu.
33
Abantu abo abaateekebwawo, be bano: Okuva mu basibuka mu Kohati, waaliwo Hemani omukulu w'abayimbi, mutabani wa Yoweeli, Yoweeli mutabani wa Samweli, Samweli
34
mutabani wa Elukaana, Elukaana mutabani wa Yerohaamu, Yerohaamu mutabani wa Eliyeeli, Eliyeeli mutabani wa Toowa, Toowa
35
mutabani wa Zufu, Zufu mutabani wa Elukaana, Elukaana mutabani wa Mahati, Mahati mutabani wa Amasaayi, Amasaayi
36
mutabani wa Elukaana, Elukaana mutabani wa Yoweeli, Yoweeli mutabani wa Azariya, Azariya mutabani wa Zefaniya, Zefaniya
37
mutabani wa Tahati, Tahati mutabani wa Asiiri, Asiiri mutabani wa Ebiyasaafu, Ebiyasaafu mutabani wa Koora, Koora
38
mutabani wa Yizuhaari, Yizuhaari mutabani wa Kohati, Kohati mutabani wa Leevi, Leevi mutabani wa Yisirayeli.
39
Munne wa Hemani era eyamuyimiriranga ku mukono ogwa ddyo, yali Asafu mutabani wa Berekiya, Berekiya mutabani wa Simeeya, Simeeya
40
mutabani wa Mikayeli, Mikayeli mutabani wa Baaseya, Baaseya mutabani wa Malukiya, Malukiya
41
mutabani wa Etuni, Etuni mutabani wa Zera, Zera mutabani wa Adaaya, Adaaya
42
mutabani wa Etani, Etani mutabani wa Zimma, Zimma mutabani wa Simeeyi, Simeeyi
43
mutabani wa Yahati, Yahati mutabani wa Gerusoomu, Gerusoomu mutabani wa Leevi.
44
N'oyo eyayimiriranga ku gwa kkono gwa Hemani ne Asafu, yali ava mu basibuka mu Merari, nga ye Etani mutabani wa Kiisi, Kiisi mutabani wa Abudi, Abudi mutabani wa Malluki, Malluki
45
mutabani wa Hasabiya, Hasabiya mutabani wa Amaziya, Amaziya mutabani wa Hilukiya, Hilukiya
46
mutabani wa Amuzi, Amuzi mutabani wa Baani, Baani mutabani wa Semeri, Semeri
47
mutabani wa Mahuli, Mahuli mutabani wa Muusi, Muusi mutabani wa Merari, Merari mutabani wa Leevi.
48
Baleevi bannaabwe abalala bonna ne baweebwa emirimu emirala gyonna, egy'omu Ssinzizo.
49
Arooni n'abasibuka mu ye ne baweerangayo ku alutaari ebiweebwayo ebyokebwa, era ne booterezanga obubaane ku alutaari yaabwo. Ne bakolanga emirimu gyonna egy'omu Kifo Ekitukuvu, era ne basabiranga Abayisirayeli okusonyiyibwa ebibi byabwe, nga Musa omuweereza wa Katonda, bwe yalagira.
50
Era bano be basibuka mu Arooni: Arooni yazaala Eleyazaari, Eleyazaari n'azaala Finehaasi, Finehaasi n'azaala Abisuuwa, Abisuuwa
51
n'azaala Bukki, Bukki n'azaala Wuzzi, Wuzzi n'azaala Zerahiya, Zerahiya
52
n'azaala Merayooti, Merayooti n'azaala Amariya, Amariya n'azaala Ahituubu, Ahituubu
53
n'azaala Zaddooki, Zaddooki n'azaala Ahimaazi.
54
Bino bye bifo ab'olulyo lwa Arooni mwe baasenga. Abakohati akalulu be kaasooka okulonda ne baweebwa aw'okusenga mu kitundu ekyaweebwa Abaleevi.
55
Baaweebwa Heburooni eky'omu Buyudaaya, n'amalundiro agakyetoolodde.
56
Kyokka ennimiro zaakyo, wamu n'ebyalo byakyo byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefunne.
57
Era baawa abasibuka mu Arooni ebibuga eby'obuddukiro: Heburooni, ne Libuna, n'amalundiro gaabyo, ne Yattiri, ne Esitemowa n'amalundiro gaabyo,
58
ne Hileeni n'amalundiro gaakyo, ne Debiri n'amalundiro gaakyo,
59
ne Asani n'amalundiro gaakyo, ne Betusemesi n'amalundiro gaakyo.
60
Mu kitundu ekyagabanibwa Ekika kya Benyamiini, Abaleevi ne baweebwa ebibuga bino: Geba n'amalundiro gaakyo, ne Alemeti n'amalundiro gaakyo, ne Anatooti n'amalundiro gaakyo. Ebibuga byabwe byonna ebyaweebwa ab'ennyumba zaabwe zonna, byali kkumi na bisatu.
61
Era akalulu bwe kaakubwa, Abahokati abalala ne baweebwa ebibuga kkumi, ebyali mu kitundu ky'ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse.
62
Aba buli nnyumba ez'abasibuka mu Gerusoomu, nabo ne baweebwa ebibuga eby'okubeerangamu. Bonna awamu baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu ebyaggyibwa ku Kika kya Yissakaari, ne ku kya Aseri, ne ku kya Nafutaali, ne ku kya Manasse eky'omu Basani.
63
N'aba buli nnyumba ez'abasibuka mu Merari, ne baweebwa ebibuga eby'okubeerangamu. Bonna awamu baakubirwa akalulu ne baweebwa ebibuga kkumi na bibiri ebyaggyibwa ku Kika kya Rewubeeni, ne ku kya Gaadi, ne ku kya Zebbulooni.
64
Bwe batyo Abayisirayeli ne bawa Abaleevi ebibuga eby'okubeerangamu, nga babaweerako n'amalundiro ageetoolodde ebibuga ebyo.
65
Ebibuga ebimenyeddwa amannya ebyaggyibwa ku b'Ekika kya Yuda ne ku b'Ekika kya Simyoni, ne ku b'Ekika kya Benyamiini byagabirwa Abaleevi nga bikubirwa kalulu.
66
Ab'ennyumba ezimu ku ezo ezisibuka mu Kohati baalina ebibuga ebyabwe, ebyaggyibwa ku Kika kya Efurayimu.
67
Ne baaweebwa ebibuga: Sekemu eky'obuddukiro, n'amalundiro gaakyo ku lusozi Efurayimu, ne Gezeri n'amalundiro gaakyo,
68
ne Yokumeyaamu n'amalundiro gaakyo, ne Beti Horoni n'amalundiro gaakyo,
69
ne Ayiyalooni n'amalundiro gaakyo, ne Gatirimooni n'amalundiro gaakyo,
70
Ate ebyaggyibwa ku kimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse: Aneri n'amalundiro gaakyo, ne Bileyaamu n'amalundiro gaakyo, ne biweebwa abasibuka mu Kohati abaali batannafuna.
71
Abasibuka mu Gerusoomu ne baweebwa ebibuga bino: ebyaggyibwa ku kimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse: Golani eky'omu Basani, wamu n'amalundiro gaakyo, ne Asitarooti n'amalundiro gaakyo;
72
n'ebyaggyibwa ku Kika kya Yissakaari: Kedesi n'amalundiro gaakyo, ne Daberaati n'amalundiro gaakyo
73
ne Ramoti n'amalundiro gaakyo, ne Aneemu n'amalundiro gaakyo.
74
Era ne baweebwa ebyaggyibwa ku Kika kya Aseri: Masali n'amalundiro gaakyo, ne Abudooni n'amalundiro gaakyo;
75
ne Hukoki n'amalundiro gaakyo, ne Rehobu n'amalundiro gaakyo;
76
ebyaggyibwa ku Kika kya Nafutaali: Kedesi, eky'omu Galilaaya, wamu n'amalundiro gaakyo, ne Hammoni n'amalundiro gaakyo, ne Kiriyatayiimu n'amalundiro gaakyo.
77
Abasibuka mu Merari abaali batannafuna bibuga, ne baweebwa bino ebyaggyibwa ku Kika kya Zebbulooni, Rimmoni n'amalundiro gaakyo, ne Tabori n'amalundiro gaakyo.
78
Ebuvanjuba bw'Omugga Yorudaani, okumpi n'Ekibuga Yeriko, ne baweebwa ebibuga ebyaggyibwa ku Kika kya Rewubeeni: Bezeri eky'omu ddungu, wamu n'amalundiro gaakyo, ne Yahuza n'amalundiro gaakyo;
79
ne Kedemooti n'amalundiro gaakyo, ne Mefaati n'amalundiro gaakyo,
80
n'ebyaggyibwa ku Kika kya Gaadi: ne baweebwa Ramoti eky'omu Gileyaadi, wamu n'amalundiro gaakyo, ne Mahanayimu n'amalundiro gaakyo,
81
ne Hesubooni n'amalundiro gaakyo, ne Yazeri n'amalundiro gaakyo.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
Recommended Reading
Commentary
1 Chronicles Commentaries
→
Devotional
1 Chronicles Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→