bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 7
1 Chronicles 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 8 →
1
Yissakaari yalina abaana ab'obulenzi bana: Tola, ne Puwa, Yasubu, ne Simurooni.
2
Batabani ba Tola: Wuzzi, ne Refaaya, ne Yeriyeeli, ne Yahumayi, ne Yibusaamu, ne Semweli, be bakulu b'ennyumba z'abasibuka mu Tola, era abasajja ab'amaanyi abazira mu mirembe gyabwe. Mu mulembe gwa Dawudi, ababasibukamu baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lukaaga.
3
Mutabani wa Wuzzi yali Yizirahiya. Yizirahiya oyo yazaala abaana ab'obulenzi bana: Miikaneeli, ne Obadiya, ne Yoweeli, ne Yissiya. Bonna abo abasibuka mu Wuzzi baali bantu bakulu mu Kika kyabwe.
4
Baawasa abakazi bangi era baazaala abaana bangi, abasibuka mu bo ne basobola okuvaamu eggye ly'abaserikale emitwalo esatu mu kakaaga.
5
Enkalala entongole ez'amannya g'ab'Ekika kya Yissakaari ziraga abasajja emitwalo munaana mu kasanvu, bonna abaserikale abazira.
6
Batabani ba Benyamiini basatu: Bela, ne Bekeri, ne Yediyayeeli.
7
Batabani ba Bela baali bataano: Ezibooni, ne Wuzzi, ne Wuzziyeeli, ne Yerimooti, ne Yiri. Bonna baali bakulu ba nnyumba mu Kika kyabwe, nga batabaazi bazira. Ababasibukamu baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu asatu mu bana, abasobola okulwana mu lutalo.
8
Batabani ba Bekeri: Zemira, ne Yowaasi, ne Eliyezeeri, ne Eleyowenari, ne Omuri, ne Yerimooti, ne Abiya, ne Anatooti, ne Alameti. Abo bonna be batabani ba Bekeri.
9
Enkalala entongole ez'amannya gaabwe, ziraga nga baalimu abaserikale abazira emitwalo ebiri mu ebikumi bibiri.
10
Mutabani wa Yediyayeeli: Bilihaani. Bilihaani oyo yazaala Yewusi ne Benyamiini, ne Ehudi, Kenaana, Zetani, ne Tarusiisi, ne Ahisaahari.
11
Abo bonna baana ba Yediyayeeli. Baali bakulu ba nnyumba mu Kika kyabwe, abaserikale abazira. Abasibuka mu bo, baali omutwalo gumu mu kasanvu mu ebikumi bibiri, abasobola okulwana mu lutalo.
12
Suppimu ne Huppimu be baali batabani ba Yiri, Husimu nga wa Aheri.
13
Batabani ba Nafutaali: Yahaziyeeli, ne Guni, ne Yezeri, ne Sallumu, bazzukulu ba Biliha.
14
Manasse yalina omukazi Omussiriya, eyamuzaalira Asiriyeeli, ne Makiri kitaawe wa Gileyaadi.
15
Makiri n'awasa omukazi mwannyina Huppimu ne Suppimu, erinnya lye Maaka. Omwana ow'obulenzi owookubiri owa Makiri yali Zelofehaadi. Zelofehaadi oyo, yazaala abaana ba buwala bokka.
16
Maaka muka Makiri, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Peresi. Ne muganda w'oyo yali Seresi. Batabani ba Peresi: Wulamu ne Rakemu.
17
Wulamu yazaala Bedani. Abo be basibuka mu Gileyaadi mutabani wa Makiri, Makiri mutabani wa Manasse.
18
Gileyaadi yalina mwannyina nga ye Hammoleketi, eyazaala Yisihoodi, ne Abiyezeeri, ne Mahula.
19
Batabani ba Semida: Ahiyaani, ne Sekemu, ne Liki; ne Aniyaamu.
20
Efurayimu yazaala Sutela, Sutela n'azaala Beredi, Beredi n'azaala Tahati, Tahati n'azaala Elaada, Elaada n'azaala Tahati, Tahati
21
n'azaala Zabadi, Zabadi n'azaala Sutela. Efurayimu era yalina ne batabani be abalala babiri: Ezeri ne Eleyaadi, abattibwa Abagaati abazaaliranwa b'omu nsi eyo, abajja okubanyagako ente zaabwe.
22
Kitaabwe Efurayimu n'abakungubagira okumala ennaku nnyingi, baganda be ne bajja okumukubagiza.
23
Efurayimu ne yeegatta ne mukazi we, mukazi we n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi, Efurayimu n'amutuuma erinnya Beriya, kubanga akabi kaagwira amaka ge.
24
Efurayimu yalina omwana ow'obuwala erinnya lye Seera, eyazimba ebibuga Beti Horoni byombi, ekyawansi n'eky'engulu, ne Wuzzenuseera.
25
Efurayimu era yalina mutabani we omulala, erinnya lye Reefa. Reefa oyo yazaala Resefu, Resefu n'azaala Tela, Tela n'azaala Tahani,
26
Tahani n'azaala Laadani, Laadani n'azaala Ammihudi, Ammihudi n'azaala Elisaama, Elisaama
27
n'azaala Nooni, Nooni n'azaala Yehosuwa.
28
Obutaka bwabwe bwali Beteli n'ebyalo ebikyetoolodde, n'okutuuka e Gaaza n'ebyalo ebikyetoolodde.
29
Abasibuka mu Manasse, baalina Betisaani n'obubuga bwakyo, Taanaki n'obubuga bwakyo, Megiddo n'obubuga bwakyo, ne Doori n'obubuga bwakyo. Ebifo ebyo byonna bye byasengamu abasibuka mu Yosefu, mutabani wa Yisirayeli.
30
Batabani ba Aseri: Yimuna, ne Yisuwa, ne Yisuwaayi, ne Beriya. Mwannyinaabwe yali Seera.
31
Batabani ba Beriya: Heberi, ne Malukiyeeli kitaawe wa Biruzayiti.
32
Heberi yazaala Yafuleeti, ne Someeri, ne Hotamu, ne mwannyinaabwe Suuwa.
33
Batabani ba Yafuleeti: Pasaki, ne Bimuhaali, ne Asuvaati.
34
Batabani ba Someeri: Ahi, ne Rooga, ne Yehubba, ne Araamu.
35
Batabani ba muganda we Hotamu: Zoofa, ne Yimuna, ne Selesi ne Amali.
36
Batabani ba Zoofa: Suuwa, ne Haruneferi, ne Suwali, ne Beri, ne Yimura,
37
Bezeri, ne Hoodi, ne Samma, Silusa, ne Yituraani, ne Beera.
38
Batabani ba Yeteri: Yefunne, ne Pisupa, ne Ara.
39
Batabani ba Wulla: Ara, ne Hanniyeeli, ne Riziya.
40
Abo bonna baali basibuka mu Aseri, era nga bakulu ba nnyumba za bajjajjaabwe, nga basajja balwanyi bazira abeesigika, era nga bakulembeze batutumufu. Baalimu abasajja abasobola okulwana mu lutalo emitwalo ebiri mu kakaaga.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29