bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 23
1 Chronicles 23
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 24 →
1
Dawudi bwe yawangaala ennyo n'akaddiwa, n'afuula mutabani we Solomooni kabaka wa Yisirayeli.
2
Kabaka Dawudi n'akuŋŋaanya abakulembeze bonna aba Yisirayeli, ne bakabona, n'Abaleevi.
3
Abasajja Abaleevi bonna ab'emyaka amakumi asatu n'okusingawo, ne babalibwa kinnoomu, ne bawera emitwalo esatu mu kanaana.
4
Ku abo, emitwalo ebiri mu enkumi nnya, kabaka n'abawa gwa mu Ssinzizo kya Mukama, akakaaga n'abawa gwa bwami n'obulamuzi,
5
enkumi nnya gwa buggazi. N'abalala enkumi nnya n'abawa gwa kutenderezanga Mukama nga bakozesa ebivuga kabaka bye yateekawo olw'omulimu ogwo.
6
Dawudi n'agabanya mu Baleevi ebibinja bisatu, nga batabani ba Leevi bwe baali Gerusooni, Kohati ne Merari.
7
Ab'omu lulyo lwa Gerusooni: Laadani ne Simeeyi.
8
Laadani yalina abatabani basatu: Yehiyeeli nga ye mukulu, ne Zetamu, ne Yoweeli.
9
Batabani ba Simeeyi baali basatu: Selomoti, ne Haziyeeli, ne Harani. Abo be baali abakulu b'ennyumba ez'abasibuka mu Laadani.
10
Batabani ba Simeeyi baali: Yahati, Ziina, ne Yewusi, ne Beriya. Abo abana be baali batabani ba Simeeyi.
11
Yahati ye yali omukulu, Ziiza ye yali owookubiri. Kyokka Yewusi ne Beriya tebaalina baana bangi, kyebaava babalibwa ng'ennyumba emu eyoobujjajja.
12
Batabani ba Kohati baali bana: Amuraamu, Yizuhaari, Heburooni ne Wuzziyeeli.
13
Batabani ba Amuraamu: Arooni ne Musa. Arooni n'ayawulibwa n'abaana ab'obulenzi ab'ezzadde lye, okulabiriranga emirembe gyonna ebintu ebitukuvu ennyo, okwoterezanga Mukama obubaane, okumuweerezanga, n'okuwanga abantu omukisa mu linnya lye.
14
Naye batabani ba Musa omusajja wa Katonda, baabalirwa mu Baleevi.
15
Batabani ba Musa: Gerusoomu ne Eliyezeeri.
16
Omukulu mu batabani ba Gerusoomu yali Sebweli.
17
Eliyezeeri yalina mutabani we omu yekka Rehabiya, kyokka batabani ba Rehabiya ne baba bangi nnyo.
18
Mu batabani ba Yizuhaari, Selomiti ye yali omukulu.
19
Mu batabani ba Heburooni, Yeriya ye yali omukulu, Amariya ye yali owookubiri, Yahaziyeeli ye yali owookusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.
20
Mu batabani ba Wuzziyeeli Mikka ye mukulu, ate Yissiya ye wookubiri.
21
Batabani ba Merari baali Mahuli ne Muusi. Batabani ba Mahuli baali Eleyazaari ne Kiisi.
22
Eleyazaari n'afa nga talina baana ba bulenzi wabula ab'obuwala bokka, ne bafumbirwa bannyinaabwe batabani ba Kiisi, kitaabwe omuto.
23
Batabani ba Muusi baali basatu: Mahuli, ne Ederi ne Yeremooti.
24
Abo be b'omu Kika kya Leevi, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali, era nga be bakulira ab'ennyumba ezo, omwali abasajja abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, abaabalibwa kinnoomu, ne bawandiikibwa amannya gaabwe, nga be b'okukola omulimu ogw'okuweereza mu Ssinzizo kya Mukama.
25
Kubanga Dawudi yagamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli awadde abantu be emirembe, era naye yennyini anaabeeranga mu Yerusaalemu emirembe gyonna.
26
N'olwekyo Abaleevi tekikyabeetaagisanga kusitula Eweema ya Mukama n'ebintu ebikozesebwa mu yo.”
27
Olw'ebyo Dawudi bye yasembyayo okulagira, Abaleevi abawezezza emyaka amakumi abiri oba okusingawo, be baawandiikibwanga ku nkalala z'abanaakolanga
28
omulimu ogw'okuyamba bakabona ab'olulyo lwa Arooni mu byonna ebikwata ku buweereza mu Ssinzizo kya Mukama Katonda: okulabirira empya zaalyo era n'ebisenge; okukuuma buli kintu ekitukuvu, kireme kujaajaamizibwa;
29
okulabirira ebikwata ku migaati egiweebwayo eri Mukama, obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi olw'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, ebiweebwayo ebisiikibwa, n'obuwunga obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti; n'okupima obuzito n'obunene bw'ebiweebwayo mu Ssinzizo.
30
Baalina okuberangawo okwebaza Mukama n'okumutendereza buli nkya n'akawungeezi,
31
n'okuwangayo eri Mukama ebiweebwayo byonna ebyokebwa nga biramba, ku Sabbaato, ne ku buli kuboneka kwa Mwezi, ne ku nnaku endala enkulu ezaateekebwawo. Ebyo byonna Abaleevi baabikolanga mu maaso ga Mukama obutayosa, nga baweza omuwendo gwabyo nga bwe gwalagirwa.
32
Baakwasibwa okulabiriranga Eweema, n'Ekifo Ekitukuvu, nga bayamba ku baganda baabwe bakabona ab'olulyo lwa Arooni okuweerezanga mu Ssinzizo kya Mukama.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
Recommended Reading
Commentary
1 Chronicles Commentaries
→
Devotional
1 Chronicles Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→