bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Chronicles 21
1 Chronicles 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 22 →
1
Awo Sitaani n'asituka okuleetera Abayisirayeli emitawaana, n'asendasenda Dawudi okubabala.
2
Dawudi n'agamba Yowaabu n'abakulembeze b'abantu nti: “Mugende mu Yisirayeli, okuva e Beruseba okutuuka e Daani, mubale abantu, mukomewo muntegeeze we benkana obungi.”
3
Yowaabu n'agamba nti: “Mukama ayaze abantu be, beeyongere obungi emirundi kikumi. Mukama wange Kabaka, bonna bantu bo, ayi Ssaabasajja. Naye lwaki oyagala okukola ekyo, ekinaaleetera Yisirayeli yonna omusango?”
4
Naye Yowaabu n'awalirizibwa okukola ekyo kabaka kye yalagira. N'agenda n'atalaaga Yisirayeli yonna, n'alyoka akomawo e Yerusaalemu.
5
Yowaabu n'aleetera Kabaka Dawudi omuwendo gw'abantu ogwabalibwa. Abasajja bonna mu Yisirayeli abasobola okulwana mu lutalo, baali akakadde kamu mu emitwalo kkumi, ne mu Buyudaaya baali emitwalo amakumi ana mu musanvu.
6
Naye olw'okuba nga Yowaabu ekiragiro kya Kabaka teyakisiima, ab'omu Bika ekya Leevi n'ekya Benyamiini teyababaliramu.
7
Katonda n'anyiiga olw'ekyo ekyakolebwa, kyeyava abonereza Yisirayeli.
8
Dawudi n'agamba Katonda nti: “Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze. Naye kaakano nkwegayiridde, sonyiwa ekibi kyange nze omuweereza wo, kubanga nkoze kya busirusiru nnyo.”
9
Awo Mukama n'agamba Gaadi omulanzi wa Dawudi nti:
10
“Genda ogambe Dawudi nti: ‘Mukama agamba nti akuteereddewo ebintu bisatu, olondeko kimu ky'aba akukolako.’ ”
11
Awo Gaadi n'agenda eri Dawudi, n'amugamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Werobozeeko ky'oyagala:
12
oba emyaka esatu egy'enjala, oba emyezi esatu ng'oyigganyizibwa abalabe bo mu ntalo, oba ennaku ssatu nga Mukama akulumba n'ekitala kye, asindike kawumpuli mu nsi yo, malayika wa Mukama agende ng'atta abantu mu Yisirayeli yonna. Lowooza olabe kye nnaddiza oyo antumye.’ ”
13
Dawudi n'agamba Gaadi nti: “Nsobeddwa nnyo. Wabula ka mbonerezebwe Mukama, kubanga ye alina okusaasira kungi, naye nneme kubonerezebwa bantu.”
14
Awo Mukama n'asindika kawumpuli mu Yisirayeli, ne mufaamu abantu emitwalo musanvu.
15
Awo Katonda n'atuma malayika e Yerusaalemu okukizikiriza. Bwe yali ng'anateera okukizikiriza, Mukama n'akitunuulira, ne yeddamu olw'akabi ako, n'agamba malayika azikiriza nti: “Kinaamala, kaakano lekera awo okubonereza.” Malayika yali ayimiridde awali egguuliro lya Orunaani Omuyebusi.
16
Dawudi bwe yayimusa amaaso n'alaba malayika wa Mukama, ng'ayimiridde mu bbanga, wakati w'ensi n'eggulu, ng'akutte mu ngalo ze ekitala ekisowoddwa, ng'akigolodde ku Yerusaalemu. Dawudi n'abakulembeze b'abantu, ne bavuunama amaaso gaabwe okutuuka ku ttaka nga bambadde ebikutiya.
17
Dawudi n'agamba Katonda nti: “Nze nalagira okubala abantu. Nze nnyonoonye ne nkola ekibi ekinene ennyo, naye abantu bano bakoze ki? Nkwegayiridde ayi Mukama Katonda wange, bonereza nze, n'ab'ennyumba ya kitange, owonye abantu bo kawumpuli!”
18
Malayika wa Mukama n'alagira Gaadi okugamba Dawudi, agende azimbire Mukama alutaari, mu gguuliro lya Orunaani Omuyebusi.
19
Dawudi n'agenda, nga Gaadi bwe yamugamba mu linnya lya Mukama.
20
Orunaani yali mu gguuliro ne batabani be abana ng'awuula eŋŋaano. Bwe yakyuka n'alaba malayika, abatabani ne beekweka.
21
Orunaani bwe yalengera Kabaka Dawudi ng'ajja gy'ali, n'ava mu gguuliro, n'amuvuunamira.
22
Dawudi n'amugamba nti: “Nguza ekibanja ky'egguuliro lino, nkisasule omuwendo gwennyini ogukigyamu, nzimbirewo Mukama alutaari, kawumpuli aziyizibwe mu bantu.”
23
Orunaani n'amuddamu nti: “Mukama wange Kabaka, ekibanja kitwale okole nga bw'onoosiima. N'ente ziizo, nzikuwadde zibe ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiwuula bibe enku, n'eŋŋaano ebe ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke. Byonna mbikuwa buwa.”
24
Kabaka Dawudi n'agamba Orunaani nti “Nedda, nja kubigula omuwendo gwennyini ogubigyamu, kubanga siitoole bibyo okuwa Mukama, wadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa kye sitooledde kantu na kamu”
25
Awo Dawudi n'asasula Orunaani Sekeli lukaaga eza zaabu okugula ekibanja ekyo.
26
Dawudi n'azimbirayo Mukama alutaari, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Ne yeegayirira Mukama, Mukama n'amuddamu ng'asindika omuliro ku alutaari nga guva mu ggulu.
27
Mukama n'alagira malayika, malayika n'azza ekitala kye mu kiraato kyakyo.
28
Awo Dawudi bwe yalaba nga Mukama amuzzeemu ky'amusabye ng'ali mu gguuliro lya Orunaani, n'aweerangayo ebitambiro mu kifo ekyo.
29
Eweema ya Mukama, Musa gye yakolera mu ddungu, ne alutaari okwayokerwanga ebitambiro, mu kiseera ekyo byali bikyali mu kifo ekigulumivu kye baasinzizangamu e Gibiyoni,
30
kyokka Dawudi nga tayinza kugendayo okusinza Katonda, kubanga yali atidde ekitala kya malayika wa Mukama.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
Recommended Reading
Commentary
1 Chronicles Commentaries
→
Devotional
1 Chronicles Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→