bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 1
Deuteronomy 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 2 →
1
Bino bye bigambo Musa bye yagamba Abayisirayeli bonna, nga bali mu ddungu, ku ludda lw'ebuvanjuba bw'omugga Yorudaani. Baali mu kiwonvu kyagwo okumpi ne Sufu, wakati w'akabuga Parani ku ludda olumu, n'obubuga Tofeli, Labani, Hazerooti ne Dizahabu ku ludda olulala.
2
Waliwo olugendo lwa nnaku kkumi na lumu okuva e Herobu, okuyita mu nsi ya Seyiri ey'ensozi, okutuuka e Kadesi Baruneya.
3
Ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu, mu mwaka ogw'amakumi ana ng'Abayisirayeli bavudde mu Misiri, Musa n'agamba Abayisirayeli byonna Mukama bye yamulagira okubagamba.
4
Bino byabaawo ng'amaze okuwangula Sihoni kabaka w'Abaamori, eyabeeranga mu Hesubooni, ne Ogi kabaka w'e Basani, eyabeeranga mu Asitarooti ne mu Edereyi.
5
Emitala w'Omugga Yorudaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa gye yatandikira okunnyonnyola amateeka gano, n'agamba nti:
6
“Nga tuli ku Lusozi Horebu, Mukama Katonda waffe yayogera naffe ng'agamba nti: ‘Ekiseera kye mubadde ku lusozi luno kimala.
7
Kaakano musituke, mwongere olugendo lwammwe. Mugende mu nsi ey'ensozi ey'Abaamori, ne mu bitundu byonna ebigiriraanye: mu kiwonvu kya Yorudaani, ne mu nsi ey'ensozi, ne mu lusenyi, ne mu kitundu eky'ebukiikaddyo, ne ku lubalama lw'Ennyanja Eyaawakati. Mugende mu nsi y'Abakanaani, ne mu nsozi z'e Lebanooni, okutuukira ddala ku mugga omunene Ewufuraate.
8
Eyo ye nsi Nze Mukama gye nneerayirira okuwa bajjajjammwe Aburahamu, ne Yisaaka, ne Yakobo, ne bazzukulu baabwe. Yiiyo ngibalaze, mugende mugyefuge.’ ”
9
Musa n'agamba abantu nti: “Nange mu kiseera ekyo nabagamba mmwe nti: ‘Sisobola kubakulembera nzekka.
10
Mukama Katonda wammwe abafudde bangi, era kaakano muli bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu.
11
Mukama Katonda wa bajjajjammwe ayongere okubafuula abangi okusingawo emirundi lukumi, era abawe omukisa nga bwe yabasuubiza.
12
Naye nze nzekka nsobola ntya okwetikka obuvunaanyizibwa obwenkanidde awo, obw'okubalabirira n'okubamalira ennyombo n'enkaayana zammwe?
13
Mulonde abasajja abagezi, abategeevu era abamanyifu mu bika byammwe, abo mbafuule abakulembeze bammwe.’
14
Ne munziramu nti: ‘Kirungi, tukole nga bw'ogambye.’
15
Kale ne nzirira abakulembeze abagezi era abamanyifu be mwalonda mu bika byammwe, ne mbafuula abakulu bammwe, abakulira abantu olukumi lukumi, n'ebikumi bikumi, n'amakumi ataano ataano, n'ekkumi kkumi. Ne nteekawo n'abakulembeze abalala mu bika byammwe.
16
“Era mu kiseera ekyo, ne nkuutira abalamuzi bammwe nti: ‘Muwulirizenga ensonga za baganda bammwe, musalenga mu bwenkanya emisango egy'abantu b'eggwanga lyammwe, era n'egyo egizingiramu abagwira ababeera mu mmwe.
17
Temubeeranga na kyekubiira mu nsala yammwe. Muwulirizenga kyenkanyi abato n'abakulu. Temubangako muntu n'omu gwe mutiisa maaso, kubanga emisango mugisala mu buyinza bwa Katonda. Era ensonga eneebanga ebalemye, mugireetanga gye ndi, ne ngiwulira.’
18
Era mu kiseera ekyo, nabalagira byonna bye musaana okukola
19
“Twakola nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira, ne tuva ku Horebu, ne tutambula okuyita mu ddungu eryo lyonna eddene era ery'entiisa lye mwalaba, nga tukutte ekkubo eriyita mu nsi ey'ensozi ey'Abaamori, ne tutuuka e Kadesi Baruneya.
20
Ne mbagamba mmwe nti: ‘Mutuuse mu nsi ey'ensozi ey'Abaamori, Mukama Katonda waffe gy'atuwa.
21
Eyo ye nsi Mukama Katonda wammwe gy'abalaze. Mwambuke, mugyefuge, nga Mukama Katonda wa bajjajjammwe bwe yabagamba. Temutya era temutekemuka’.
22
“Mwenna ne mujja gye ndi ne muŋŋamba nti: ‘Tusooke tutumeyo abantu batukettere ensi eyo, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu, era n'ebibuga bye tunaasangayo bwe biri.’
23
“Nalaba ng'ekyo kirungi. Ne nnonda mu mmwe abasajja kkumi na babiri, omu omu okuva mu buli kika.
24
Ne basituka ne bambuka mu nsi ey'ensozi, ne batuuka mu Kiwonvu kya Esukooli, ne bakiketta.
25
Ne banogayo ku bibala, ne babireeta gye tuli. Ne batubuulira nti: ‘Ensi Mukama Katonda waffe gy'atuwa, nnungi.’
26
“Naye mmwe ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe, ne mugaana okugiyingira.
27
Ne mwemulugunyiza mu weema zammwe, nga mugamba nti: ‘Mukama yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y'e Misiri, okutuwaayo mu mikono gy'Abaamori batuzikirize.
28
Tulaga wa eyo? Bannaffe batumazeemu amaanyi nga bagamba nti abantu abaliyo banene era bawanvu okutusinga. Ebibuga binene. Byazimbibwako ebigo ebigulumivu okutuuka ku ggulu, era nti baalabayo n'abaana ba Anaki! ’
29
“Nze ne mbagamba mmwe nti: ‘Temutya era baleme kubatekemula.
30
Mukama Katonda wammwe abakulemberamu, ye anaabalwanirira mmwe, nga bwe mwalaba byonna bye yabakolera e Misiri
31
ne mu ddungu. Mu lugendo lwonna lwe mwatambula nga muli eyo mu ddungu okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino, mwalaba Mukama Katonda wammwe bwe yabasitula, ng'omuntu bw'asitula omwana we.’
32
Naye wadde ng'ebyo byali bwe bityo, temwakkiriza kwesiga Mukama Katonda wammwe,
33
eyabakulemberangamu okubanoonyeza ekifo eky'okusimbamu eweema zammwe. Yasinziiranga mu mpagi ey'omuliro ekiro, ne mu mpagi ey'ekire emisana, okubalaga ekkubo lye munaayitamu.
34
“Awo Mukama n'awulira bye mwayogera, n'asunguwala, n'alayira ng'agamba nti:
35
‘Tewali n'omu ku b'omulembe guno omubi, aliraba ensi ennungi gye nneerayirira okuwa bajjajjaabwe,
36
okuggyako Kalebu mutabani wa Yefunne. Oyo ye aligiraba. Era ye n'abaana be ndibawa ensi gye yalambula, kubanga yannywererako mu byonna.’
37
Era olw'okubeera mmwe, nange Mukama yansunguwalira, n'agamba nti: ‘Naawe Musa, toliyingira mu nsi eyo.
38
Omuweereza wo Yoswa, mutabani wa Nuuni, ye aligiyingiramu. Mugumye omwoyo, kubanga ye alituusa Abayisirayeli mu nsi eyo ne bagyefuga.’
39
“Era abaana bammwe abo, be mwagamba nti: ‘Balinyagibwa, n'abaana bammwe abatannayawula kirungi na kibi, be baliyingira mu nsi eyo. Ndigibawa bo, ne bagyefuga.
40
Naye mmwe mukyuke mutambule nga mudda mu ddungu, nga mukutte ekkubo eriraga ku Nnyanja Emmyufu.’
41
“Ne munziramu nti: ‘Twakola ekibi ne tunyiiza Mukama. Naye kaakano ka tugende, tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.’ Buli omu ku mmwe n'ayambalira ebyokulwanyisa bye, nga mulowooza nti kyangu okulumba ensi ey'ensozi.
42
“Awo Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Bagambe nti tebagenda, era tebalwana, kubanga nze siri wamu nabo. Abalabe baabwe bajja kubawangula.’
43
Ne mbabuulira, naye ne mutawuliriza, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama, ne mwekuluntaza, ne mugenda mu nsi ey'ensozi.
44
Awo Abaamori abaali mu nsi eyo ey'ensozi, ne bavaayo okubalumba nga bataamye ng'enjuki. Ne babawondera okutuukira ddala e Haruma, ne babawangulira eyo mu nsi ey'ensozi ey'e Seyiri.
45
Ne mukomawo ne mukaabirira Mukama abayambe. Naye Mukama n'atabawuliriza era n'atabafaako.
46
Mwalwa nnyo e Kadesi, okusinziira ku nnaku ennyingi ze mwamalayo.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34