bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 22
Deuteronomy 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 23 →
1
“Toolabenga nte ya munno oba endiga ye ng'ebula, n'ogireka. Oteekwa okugizza gy'ali.
2
Kyokka nnannyiniyo bw'aba tali kumpi naawe, oba bw'oba nga tomumanyi, olwo onoogitwalanga eka ewuwo, n'ogikuuma okutuusa lw'alijja ng'aginoonya n'ogimuddiza.
3
Era bw'otyo bw'onookolanga ng'obadde osanze endogoyi, olugoye, na buli kintu kya munno ekinaabanga kimubuzeeko. Obutafaayo si kirungi.
4
“Toolabenga ndogoyi ya munno oba ente ye ng'egudde ku kkubo, n'ogiyitako. Oyambanga n'ogiyimusa.
5
“Omukazi taayambalenga byambalo bya musajja, n'omusajja taayambalenga byambalo bya mukazi, kubanga Mukama Katonda wammwe akyawa abakola eby'engeri eyo.
6
“Bw'osanganga ekisu ky'ennyonyi ku muti oba wansi nga kirimu amagi oba obwana, ekinyonyi nga kiri ku bwana oba ku magi, tootwalenga kinyonyi na bwana.
7
Onooyinzanga okwetwalira obwana naye n'ota nnyina waabwo, lw'olibeera obulungi era n'owangaala.
8
“Bw'ozimbanga ennyumba ey'akasolya abantu kwe bayinza okubeera, akasolya ako okeetooloozanga olukomera, n'otoleetera nnyumba yo musango gwa kutta, singa wabaawo awanattukayo n'agwa.
9
“Toosimbenga kirime kirala mu nnimiro yo ey'emizabbibu, olemenga kufiirwa bibala byonna: eby'ekirime kye wasimbamu, n'ebibala eby'emizabbibu, olw'okuyitibwa ebitali birongoofu.
10
“Toosibenga nte na ndogoyi mu kikoligo kimu okuzirimisa.
11
“Tooyambalenga lugoye lulukiddwa nga batobeka ewuzi ez'ebyoya, n'ez'ekika ekirala.
12
“Onootunganga ebijwenge ku nsonda ennya ez'ekyambalo kyo ky'oyambala.
13
“Omusajja bw'anaawasanga omukazi, ne babeerako bonna mu by'obufumbo, oluvannyuma n'amukyawa,
14
n'amuwawaabira ng'amwogerako eby'ensonyi, n'ayonoona erinnya lye ng'agamba nti: ‘Nawasa omukazi ono, wabula namusanga si mbeerera,’
15
kitaawe ne nnyina w'omuwala oyo banaakwatanga olugoye olw'essuuka olwakozesebwa mu buliri ku lunaku olw'embaga, ne balulaga abakulembeze b'ekibuga, mu kifo we basalira emisango, okukakasa nti omuwala yali mbeerera.
16
Kitaawe w'omuwala anaategeezanga abakulembeze nti: ‘Omusajja ono namuwa muwala wange okumuwasa, kyokka kaakano amukyaye.
17
Era wuuno amuwawaabidde ng'amwogerako eby'ensonyi, ng'agamba nti muwala wange teyamusanga nga mbeerera. Naye buno bwe bubonero obulaga nga muwala wange yali mbeerera.’ Ne balyoka banjuluza olugoye mu maaso g'abakulembeze b'ekibuga.
18
Awo abakulembeze b'ekibuga banaakwatanga omusajja ne bamubonereza,
19
era banaamutanzanga ebitundu kikumi ebya ffeeza, ne babiwa kitaawe w'omuwala, kubanga omusajja oyo yayonoona erinnya ly'omuwala embeerera Omuyisirayeli. Omuwala oyo anaabanga mukazi wa musajja oyo, era omusajja oyo mu bulamu bwe bwonna, taagobenga mukazi oyo.
20
“Naye omusajja ky'alumiriza bwe kinaabanga ekituufu, nga tewali bukakafu bulaga nti omuwala yali mbeerera,
21
banaafulumyanga omuwala oyo ne bamuleeta ku mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga ky'ewaabwe ne bamukuba amayinja ne bamutta, kubanga yakola eky'ensonyi mu Yisirayeli, eky'okuba ng'akyali ku luggya lwa kitaawe, ate n'amanya omusajja. Bwe mutyo bwe muneggyangako ekibi ekyo.
22
“Omusajja bw'anaakwatibwanga nga yeebase n'omukazi alina bba, bombi omusajja n'omukazi gwe yeebase naye, banattibwanga. Bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi ekyo mu Yisirayeli.
23
“Bwe wanaabangawo omuwala embeerera eyamala okwanjula omusajja, ate omusajja omulala n'asanga omuwala oyo mu kibuga, ne yeebaka naye,
24
bombi munaabafulumyanga ne mubaleeta ebweru w'omulyango gw'ekibuga ekyo, ne mubakuba amayinja ne bafa. Omuwala anaafanga olw'obutakuba nduulu ate nga yali mu kibuga. N'omusajja anaafanga, kubanga atoowazizza muka munne. Bwe mutyo bwe muneggyangako ekibi ekyo.
25
“Naye omusajja bw'anaagwikirizanga mu nnimiro oba mu ttale omuwala eyamala okwanjula, n'amukwata ne yeebaka naye, olwo omusajja yekka eyeebase n'omuwala oyo, ye anattibwanga.
26
Temuubengako kabi ke mutuusa ku muwala, kubanga anaabanga talina kibi kimusaanyiza kufa. Kino kifaanana n'eky'omuntu afubutukira munne n'amutta,
27
kubanga omuwala oyo yali mu nnimiro oba mu ttale, omusajja gye yamusanga, omuwala n'akuba enduulu, ne watabaawo amudduukirira.
28
“Omusajja bw'anaagwikirizanga omuwala embeerera atayanjulanga, n'amukwata ne yeebaka naye, ne babasanga,
29
omusajja oyo anaawanga kitaawe w'omuwala ebitundu ataano ebya ffeeza, omuwala oyo n'aba mukazi we, kubanga yamutoowaza. Era takkirizibwenga kumugoba ennaku zonna ez'obulamu bwe.
30
“Omusajja taawasenga muka kitaawe, aleme kuswaza kitaawe.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34