bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 2
Deuteronomy 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 3 →
1
“Awo ne tukyusa obuwufu, ne tutambula nga tudda mu ddungu, nga tukutte ekkubo eriraga ku Nnyanja Emmyufu, nga Mukama bwe yaŋŋamba. Ne tumala ennaku nnyingi nga twetoloolera mu nsi ey'ensozi ey'e Seyiri.
2
“Awo Mukama n'aŋŋamba nti:
3
‘Mumaze ekiseera ekimala nga mwetooloola ensi eno ey'ensozi. Kaakano mukyuse obuwufu, mugende mu bukiikakkono.’
4
Era n'aŋŋamba nti: ‘Lagira abantu obagambe nti: Mugenda kuyita mu nsi ya baganda bammwe, bazzukulu ba Esawu, ababeera mu Seyiri. Bajja kubatya. Naye mwegendereze nnyo.
5
Temulwana nabo, kubanga mmwe sijja kubawa kitundu na kimu eky'ensi yaabwe, wadde akatundu akatono akalinnyibwamu ekigere, kubanga olusozi Seyiri naluwa Esawu okuba obutaka bwe.
6
Munaawangayo nsimbi okubagulako emmere ne mulya, era munaawangayo nsimbi okubagulako amazzi, ne munywa.’
7
“Mukama Katonda wammwe, abawadde mmwe omukisa mu byonna bye mukola. Abalabiridde nga mutambula mu ddungu lino eddene. Emyaka gino amakumi ana, Mukama Katonda wammwe abadde nammwe, ne mutabaako kye mujula.
8
“Awo ne twebalama baganda baffe, bazzukulu ba Esawu, ababeera ku Seyiri. Ne tukwata ekkubo erigenda mu ddungu, okuva mu Elati ne Eziyoni Geberi. Ne tukyuka, ne tuyita mu kkubo ery'omu ddungu ly'e Mowaabu.
9
Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Temutawaanya bantu b'e Mowaabu, era temubaggulako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa kitundu na kimu ku nsi yaabwe okuba obutaka bwammwe, kubanga ekibuga Ari nakiwa dda bazzukulu ba Looti okuba obutaka bwabwe.’ ”
10
(Mu biseera ebyo eby'edda, mu Ari mwabeerangamu Abeemi, abaali eggwanga ekkulu era eddene, era nga bawagguufu ng'Abaanaki.
11
Nabo baayitibwanga Bareefa ng'Abaanaki, naye nga Abamowaabu babayita Beemi.
12
Abahoori nabo baabeeranga ku Seyiri mu kusooka. Naye bazzukulu ba Esawu bwe bajja, ne babagobako, ne bazikiriza eggwanga lyabwe, ne basenga mu kifo kyabwe, okufaananira ddala ng'Abayisirayeli bwe baakola mu nsi Mukama gye yabawa okuba obutaka bwabwe).
13
“ ‘Kale kaakano musituke, musomoke akagga Zeredi.’ Ne tusomoka akagga Zeredi.
14
Okuva lwe twava e Kadesi Baruneya, okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi, gyali giweze emyaka amakumi asatu mu munaana. Abasajja abaserikale bonna ab'omulembe ogwo, baali bafudde nga baweddewo mu lusiisira, nga Mukama bwe yabalayirira.
15
Mukama yabalwanyisa okutuusa lwe yabazikiriza n'abamalirawo ddala mu lusiisira.
16
“Awo abasajja abaserikale bonna bwe baamala okufa ne baggwaawo,
17
Mukama n'aŋŋamba nti:
18
‘Olwaleero mujja kusala ensalo ya Mowaabu nga muyita mu Ari.
19
Bwe munaasemberera ensi ey'Abammoni temubatawaanya era temubaggulako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa kitundu na kimu eky'ensi yaabwe. Ensi eyo nagiwa dda bazzukulu ba Looti okuba obutaka bwabwe.’ ”
20
Ensi eyo era eyitibwa ya Bareefa. Abareefa be baagibeerangamu edda. Naye Abammoni babayita Bazamuzuumu.
21
Baali ggwanga kkulu ery'abantu abangi era abawagguufu ng'Abaanaki. Naye Mukama n'abazikiriza, Abammoni ne balyoka basenga mu nsi eyo ne badda mu kifo kya bali.
22
Mukama era bw'atyo bwe yakolera bazzukulu ba Esawu, ababeera ku Seyiri. Yazikiriza Abahoori, olwo bazzukulu ba Esawu ne basenga mu nsi eyo, ne badda mu kifo kya bali, n'okutuusa kati.
23
N'Abavvi abaabeeranga mu byalo okutuukira ddala e Gaaza, Abakafutoori abaava e Kafutoori baabazikiriza, ne badda mu kifo kyabwe.
24
“Bwe twamala okusala ensalo ya Mowaabu, Mukama n'agamba nti: ‘Musituke, mutambule, muyite mu Kiwonvu Arunoni. Sihoni Omwamori, kabaka w'e Hesubooni, mmuwaddeyo awamu n'ensi ye mu mikono gyammwe, mumugguleko olutalo, mutandike okwefuga ensi ye.
25
Okuva olwaleero, amawanga agali ku nsi yonna nja kugakuba entiisa, gabatye, buli abanaawulira ettutumu lyammwe, bakankane era beeraliikirire.’
26
“Nga tuli mu ddungu ly'e Kedemooti, ne ntumira Sihoni kabaka w'e Hesubooni obubaka obw'emirembe, nga ŋŋamba nti:
27
‘Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tujja kukwata kkubo lyokka, awatali kuwunjawunja kudda ku ddyo wadde ku kkono.
28
Emmere gye tulya n'amazzi ge tunywa ojja kubituguza buguza, tukusasulemu ensimbi. Kye tusaba kwe kutukkiriza okutambula, tuyite mu nsi yo,
29
okutuuka lwe tunaasomoka Omugga Yorudaani ne tuyingira mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa. Tukkirize, nga bazzukulu ba Esawu ababeera ku Seyiri n'Abamowaabu ababeera mu Ari, bwe baatukkiriza okuyita mu nsi yaabwe.’
30
“Kyokka Sihoni kabaka w'e Hesubooni n'atatuganya kuyita mu nsi ye, kubanga Mukama Katonda wammwe yakalubya omwoyo gwe, n'amuwaganyaza omutima, tulyoke tumuwangule buwanguzi, twefuge ensi ye, mwe tuli kati.
31
“Awo Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Ntandise okubawa Sihoni n'ensi ye; kale mugiwangule, mugibeeremu.’
32
Sihoni ne yeesowolayo n'abantu be bonna okutwolekera mu lutalo e Yahazi.
33
Mukama Katonda waffe n'amutuwa ne tumuwangula ne batabani be n'abantu be bonna.
34
Ne tunyaga ebyali ebibuga bye byonna mu budde obwo. Ne tuzikiriza abantu bonna abasajja n'abakazi, n'abaana abato, awatali kulekawo n'omu.
35
Ente zokka ze twatwala nga gwe munyago, awamu n'ebintu bye twanyaga mu bibuga.
36
Okuva ku Aroweri ku njegoyego z'Ekiwonvu Arunoni, n'ekibuga ekiri mu kiwonvu ekyo, okutuukira ddala e Gileyaadi, tewali kibuga kyatulema olw'obugulumivu bw'ebigo byakyo. Byonna Mukama Katonda waffe yabituwa ne tubiwamba.
37
Naye tetwasemberera nsi y'Abammoni, n'olubalama lw'Omugga Yabboki, n'ebibuga eby'omu nsi ey'ensozi, wadde ebifo ebirala byonna Mukama Katonda waffe gye yatugaana okugenda.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34