bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 24
Deuteronomy 24
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 25 →
1
“Omusajja bw'awasanga omukazi, omukazi n'atasanyusa musajja oyo, kubanga omusajja azudde ekitali kirungi ku mukazi oyo, anaamuwandiikiranga ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimukwasa, n'amugoba mu maka ge.
2
Omukazi bw'anaavanga mu maka g'omusajja oyo, anaayinzanga okugenda n'afumbirwa omusajja omulala.
3
Ne bba owookubiri bw'anaamukyawanga n'amuwandiikira ebbaluwa ey'okumugoba mu maka ge, oba bba oyo owookubiri bw'anafanga,
4
olwo bba oli eyasooka okumugoba taddengamu kumuwasa. Omukazi oyo aba amaze okwonooneka. Okuddamu okumuwasa kiba kya muzizo mu maaso ga Mukama. Temuukolenga kibi kyenkanidde awo mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe.
5
“Omusajja nga yaakawasa, taatabaalenga mu ggye, wadde okukozesebwa omulimu omulala ogwa lukale. Anaalekebwanga n'abeera awaka omwaka gumu, n'asanyuka ne mukazi we gw'awasizza.
6
“Tewaabenga asingirwa lubengo wadde enso ebisa emmere, kubanga kwandibadde ng'okusingirwa obulamu bwennyini.
7
“Buli abuzaawo Muyisirayeli munne n'amufuga obuddu, oba n'amutunda, anattibwanga. Bwe mutyo bwe muneggyangako ekibi ekyo.
8
“Bwe mukwatibwanga endwadde ey'ebigenge, mwegenderezenga okukwatira ddala n'okutuukiriza byonna bakabona Abaleevi bye babagamba. Nga bo bwe nabalagira, bwe mutyo bwe muneegenderezanga okutuukiriza.
9
Mujjukire Mukama Katonda wammwe kye yakola ku Miriyamu bwe mwali mu lugendo nga muva e Misiri.
10
“Bw'onoobangako ky'oyazika munno, tooyingirenga mu nnyumba ye okuggyayo ekyambalo ky'agenda okukuwa ng'omusingo.
11
Onooyimiriranga bweru, ye gw'oyazika n'akikuleetera.
12
Era bw'abanga omwavu, ky'akusingidde tookisigazenga okutuusa enkeera.
13
Onookimuddizanga akawungeezi asobole okukisulamu, akusabire omukisa, era Mukama Katonda wo alyoke akusiime.
14
“Omuntu akolera empeera nga mwavu era ng'ali mu bwetaavu, toomuyiikirizenga, k'abe Muyisirayeli munno, oba omugwira abeera mu kimu ku bibuga byammwe.
15
Buli lunaku lw'akoze, onoomuwanga empeera ye ng'enjuba tennagwa, kubanga empeera ye agyetaaga, era aba alindiridde okugifuna. Bw'otogimuwa, ajja kukaabirira Mukama ng'akuwawaabira, n'oba ng'okoze kibi.
16
“Abazadde tebattibwenga lwa misango gizziddwa baana baabwe, n'abaana tebattibwenga lwa misango gizziddwa bazadde baabwe. Omuntu anattibwanga lwa musango gw'aba azzizza yennyini.
17
“Temuukyamyenga nsala ya musango gwa mugwira wadde ogwa mulekwa, era temuusingirwenga kyambalo kya nnamwandu.
18
Mujjukire nga mwali baddu mu Misiri, Mukama Katonda wammwe n'abanunulayo, kyenva mbawa ekiragiro ekyo.
19
“Bw'okungulanga ebirime byo mu nnimiro yo ne weerabirayo ekinywa ky'eŋŋaano, toddengayo kukiggyayo. Ekyo okirekeranga bagwira, bamulekwa, ne bannamwandu, Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu byonna by'okola.
20
“Bw'onoganga ebibala by'omuzayiti, toddenga mu matabi okunoga ebisigaddemu. Obirekeranga bagwira, bamulekwa, ne bannamwandu.
21
Bw'okungulanga emizabbibu mu nnimiro yo, toddengamu kulonderera gisigaddemu. Ogirekeranga bagwira, bamulekwa, ne bannamwandu.
22
Mujjukire nga mwali baddu mu nsi y'e Misiri, kyenva mbawa ekiragiro ekyo.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34