bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 8
Deuteronomy 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 9 →
1
“Ebiragiro byonna bye mbawa olwaleero musseeyo omwoyo okubituukirizanga, mulyoke mubenga abalamu, mweyongere okwala, mwefuge ensi Mukama gye yeerayirira okuwa bajjajjammwe.
2
Era mujjukire nga Mukama Katonda wammwe bwe yabakulembera mu lugendo lwonna, emyaka gino amakumi ana mu ddungu, alyoke abatoowaze era abageze, amanye ekiri mu mitima gyammwe, oba nga munaakuumanga ebiragiro bye.
3
Yabatoowaza n'abaleka okulumwa enjala, ate n'abagabula mannu, mmwe ne bajjajjammwe gye mwali mutamanyi, abayigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula aba mulamu na buli kigambo Mukama ky'ayogera. Mat 4:4; Luk 4:4; Yow 6:31,49,58; Beb 9:4; Kub 2:17
4
Emyaka gino amakumi ana, ebyambalo byammwe tebyabakaddiwako, n'ebigere byammwe tebyazimba.
5
Era mukimanye mu mitima gyammwe nti ng'omuntu bw'akangavvula omwana we, ne Mukama Katonda wammwe bw'abakangavvula mmwe.
6
Kale mukuumenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, mugobererenga ebyo by'alagira, era mumussengamu ekitiibwa,
7
kubanga Mukama Katonda wammwe, abatwala mu nsi ennungi, erimu emigga n'enzizi n'ensulo z'amazzi agafubutuka mu biwonvu ne mu nsozi,
8
ensi ebaza eŋŋaano ne bbaale, eddamu emizabbibu, n'emitiini n'emikomamawanga, era erimu omubisi gw'enjuki.
9
Mu nsi eyo mulirya emmere n'etebaggwaako. Mu nsi eyo, temulibaako kye mujula. Enjazi zaayo zirimu ekyuma, ne mu nsozi zaayo muyinza okusimamu ekikomo.
10
Munaalyanga ne mukkuta, ne mwebaza Mukama Katonda wammwe olw'ensi ennungi gye yabawa.
11
“Mwekuumenga mulemenga okwerabira Mukama Katonda wammwe, era temulemanga kukuuma mateeka ge n'ebiragiro bye, n'ebibuuliriro bye, bye mbawa olwaleero.
12
Bwe mulimala okufuna emmere ebamala, n'okuzimba amayumba amalungi n'okugasulamu,
13
era nga mumaze okweza ente n'amagana ag'embuzi n'endiga, era nga ffeeza era ne zaabu wammwe, na byonna bye mulina nga bimaze okwala,
14
temugezanga okwegulumiza mu mitima gyammwe, ne mwerabira Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, gye mwafugirwanga obuddu.
15
Yabayisa mu ddungu eddene era ery'entiisa, omwali emisota n'enjaba eby'obusagwa. Mu ddungu eryo ekkalu, omutali mazzi yabaggyira amazzi mu lwazi olugumu.
16
Yabagabulira mu ddungu mannu, bajjajjammwe gye bataamanya, alyoke abatoowaze era abageze, n'oluvannyuma abawe ebirungi.
17
Muleme kugamba mu mitima gyamwe nti: ‘Obuyinza bwaffe n'amaanyi gaffe bye bitufunyisizza obugagga.’
18
Naye mujjukirenga Mukama Katonda wammwe, kubanga ye abasobozesa okugaggawala, ng'atuukiriza na buli kati endagaano gye yalayirira bajjajjammwe nti anaagikuumanga.
19
Bwe mulyerabira Mukama Katonda wammwe ne mugoberera balubaale, ne mubaweereza era ne mubasinza, mbakakasa olwaleero nti temulirema kuzikirira.
20
Bwe muligaana okuwulira Mukama Katonda wammwe, mulizikirira ng'ab'amawanga ago Mukama g'agenda okuzikiriza, mmwe nga mutuuka.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
Recommended Reading
Commentary
Deuteronomy Commentaries
→
Devotional
Deuteronomy Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→