bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 16
Deuteronomy 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 17 →
1
“Mukuumanga omwezi gwa Abibu ne mukola Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, kubanga mu mwezi ogwo, Mukama Katonda wammwe mwe yabaggyira mu Misiri ekiro.
2
Mugendanga mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, ne muweera eyo Mukama Katonda wammwe ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, nga mukiggya mu nte zammwe oba mu ndiga n'embuzi zammwe.
3
Temuukiriirengako migaati gizimbulukusiddwa. Munaamalanga ennaku musanvu nga mukiriirako migaati egitazimbulukusiddwa, nga bwe mwakola nga muva mu nsi y'e Misiri mu bwangu. Egyo gye migaati egy'okunakuwala. Munaagiryanga mulyoke mujjukire mu bulamu bwammwe bwonna olunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri.
4
Mu nsi yammwe temuubeerengamu alina kizimbulukusa mu nnyumba ye okumala ennaku musanvu. Era ennyama y'ensolo ezitambiddwa akawungeezi k'olunaku olubereberye, teesulengawo okutuusa enkeera.
5
“Ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, temuukiweerengayo mu kibuga na kimu mu ebyo Mukama Katonda wammwe by'abawa.
6
Naye munaakiweerangayo mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Eyo gye munaakiweerangayo akawungeezi, ng'enjuba egwa, mu kiseera nga kye mwaviiramu mu Misiri.
7
Munaakifumbanga ne mukiriira mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, olwo enkeera ne muddayo mu weema zammwe.
8
Mu nnaku omukaaga eziddirira, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza Mukama Katonda wammwe, era temuulukolerengako mirimu.
9
“Munaabalanga wiiki musanvu okuva lwe munaatandikanga okukungula eŋŋaano mu nnimiro,
10
ne mulyoka mukola Embaga eyitibwa eya Wiiki Omusanvu, okussaamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga mumuleetera ekiweebwayo kye mwesiimidde okusinziira ku mikisa Mukama Katonda wammwe gy'abawadde.
11
Era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mu kifo ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Munaasanyukanga nga muli wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi ab'omu bibuga byammwe, n'abagwira, ne bamulekwa ne bannamwandu ababeera mu mmwe.
12
Mujjukirenga nga mwali baddu mu Misiri, n'olwekyo mussengayo omwoyo okutuukiriza amateeka gano.
13
“Bwe munaamalanga okutereka bye muwuulidde mu mawuuliro gammwe, ne bye musogoledde mu masogolero gammwe, munaakolanga Embaga ey'Ensiisira okumala ennaku musanvu,
14
nga musanyukira wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi, n'abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu abali mu bibuga byammwe.
15
Munassangamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa nga mukola Embaga eno okumala ennaku musanvu, mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu bye munaakungulanga byonna, ne mu bye munaakolanga byonna, ne mujjula essanyu.
16
“Abasajja bonna ab'omu ggwanga lyammwe, banajjanga okusinza Mukama Katonda wammwe emirundi esatu mu mwaka: ku mbaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa, ku Mbaga eya Wiiki Omusanvu, ne ku Mbaga ey'Ensiisira, mu kifo ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Era tebajjenga mu maaso ga Mukama nga tebalina kye baleese.
17
Buli muntu anaawangayo nga bw'asobola, okusinziira ku mukisa Mukama Katonda wammwe gw'anaabanga amuwadde.
18
“Nga mugoberera ebika byammwe, munassangawo abalamuzi n'abakulembeze mu bibuga byammwe byonna Mukama Katonda wammwe by'abawa. Banaasaliranga abantu emisango mu bwenkanya.
19
Tebaabenga batali benkanya wadde abeekubiira mu nsala yaabwe, era tebaalyenga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g'omuntu omugezi, era ereetera omutuufu okukyamya ebigambo bye.
20
Bulijjo mubeerenga beesimbu era ba mazima, lwe muliba abalamu ne mwefuga ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa.
21
“Bwe munaabanga mukolera Mukama Katonda wammwe alutaari, temuusimbenga muti gwa kabonero ka lubaale Asera mu mabbali gaayo,
22
era temuusimbenga mpagi ya jjinja eya balubaale, Mukama Katonda wammwe gy'akyawa.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34