bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 12
Deuteronomy 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 13 →
1
“Gano ge mateeka n'ebiragiro bye muneegenderezanga okutuukiriza nga muli mu nsi, Mukama Katonda wa bajjajjammwe gy'abawa mmwe okugyefuga, ennaku zonna ze mulimala nga muli balamu ku nsi.
2
Temulemanga kuzikiriza bifo byonna, ab'amawanga ge mugenda okwefuga mwe basinziza balubaale baabwe: ku nsozi engulumivu, ku busozi, ne wansi w'emiti egy'amakoola.
3
Mumenyanga alutaari zaabwe, ne mwasaayasa empagi za balubaale baabwe ez'amayinja. Mwokyanga ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera, era mutemaatemanga ebifaananyi ebyole ebya balubaale baabwe, ne bataddamu kusinzibwanga mu bifo ebyo.
4
“Mmwe temuusinzenga Mukama Katonda wammwe ng'abantu abo bwe basinza balubaale baabwe.
5
Mu bifo by'ebika byammwe byonna, Mukama Katonda wammwe alyerobozaamu ekifo kimu, abantu gye banaagendanga mu maaso ge okumusinza.
6
Eyo gye munaatwalanga ebyo bye muwaayo ebyokebwa, n'ebitambiro byammwe, n'ebitundu eby'ekimu eky'ekkumi bye muwaayo, n'ebitone ebirala bye muwaayo, n'ebyo bye muwaayo nga mweyagalidde, n'ente zammwe era n'endiga n'embuzi zammwe eziba zisoose okuzaalibwa.
7
Eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe gye munaaliiranga, ne musanyuka olw'ebyo byonna bye munaabanga mukoze, mmwe n'ab'omu maka gammwe, Mukama Katonda wammwe n'abibaweeramu omukisa.
8
“Temuukolenga ebyo byonna nga bye tukola wano kaakano. Buli muntu abadde akola ekyo ky'alowooza nti kye kituufu,
9
kubanga temunnatuuka mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa, gye munaabeerangamu nga muli mu mirembe.
10
Naye bwe munaasomoka Omugga Yorudaani, Mukama Katonda wammwe ajja kubawa ensi eyo mugyefuge. Anaabawonyanga abalabe bammwe ababeetoolodde, ne mubeera mu mirembe.
11
Mukama Katonda wammwe alyeroboza ekifo eky'okumusinzizangamu. Eyo gye munaatwalanga ebyo byonna bye mbalagidde: ebyo bye muwaayo ebyokebwa, n'ebitambiro byammwe, n'ebitundu eby'ekimu eky'ekkumi bye muwaayo, n'ebitone ebirala bye muwaayo, n'ebyo bye mweyama okuwa Mukama.
12
Munaasanyukiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, nga muli wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe, kubanga bo tebaafuna mugabo gwa ttaka lya nsikirano nga mmwe mugabana.
13
Mwekuumenga muleme okuweerangayo mu buli kifo kye mulaba ebyo bye muwaayo ebyokebwa.
14
Naye munaabiweerangayo mu kifo ekyo kyokka Mukama ky'alyeroboza, mu kitundu ky'ensi ey'ekimu ku bika byammwe. Eyo gye munaaweerangayo ebyo bye muwaayo ebyokebwa, era gye munaakoleranga ebyo byonna bye mbalagira.
15
“Naye munaayinzanga okuttira ebisolo n'okuliira ennyama wonna we munaabeeranga, nga bwe munaabanga mwagadde, era nga Mukama bw'anaabanga abawadde. Abalongoofu n'abatali balongoofu banaayinzanga okugiryako, nga bwe balya ku nnyama y'empeewo ne ku y'enjaza.
16
Kyokka temuulyenga ku musaayi. Munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi.
17
Buli kye muwaayo eri Mukama, temuukiriirenga eyo gye mubeera, ka kibe ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yammwe, oba eky'omwenge gwammwe ogw'emizabbibu, oba eky'omuzigo gwammwe ogw'emizayiti, newaakubadde ente zammwe n'endiga n'embuzi zammwe ezisooka okuzaalibwa, oba ebirabo bye mweyama okuwa Mukama, wadde bye muwaayo nga mweyagalidde, oba ebiweebwayo ebirala byonna.
18
Naye mmwe ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, era n'Abaleevi ababeera nammwe, ebiweebwayo ebyo munaabiriiranga mu maaso ga Mukama, Katonda wammwe, mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza. Era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe olwa byonna bye munaabanga mukoze.
19
Mwegenderezenga muleme okusuuliriranga Abaleevi, ebbanga lyonna lye mulimala nga muli balamu ku nsi.
20
“Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo z'ensi yammwe nga bwe yabasuubiza, buli lwe munaagambanga nti: ‘Tujja kulya nnyama’, kubanga gye mwagala okulya, munaalyanga nnyama nga bwe mwegomba.
21
Ekifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu bwe kinaababeeranga ewala ennyo, kale nga bwe mbalagidde, munattanga ku nte zammwe ne ku ndiga ne mbuzi zammwe Mukama z'abawadde, ne muliira gye mubeera, nga bwe munaabanga mwagadde.
22
Abalongoofu n'abatali balongoofu bonna banaayinzanga okulya ku nnyama eyo, nga bwe balya ku y'empeewo n'ey'enjaza.
23
Naye mwegenderezanga ne mutalya ku musaayi, kubanga omusaayi bwe bulamu. Kale temuulyenga bulamu wamu n'ennyama.
24
Omusaayi temuugulyenga. Munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi.
25
Temuugulyenga, byonna biryoke bibagenderenga bulungi, mmwe n'ezzadde lyammwe eriribaddirira, kubanga munaabanga mukoze ekyo Mukama ky'alaba nga kye kituufu.
26
Naye ebitukuvu bye mulina, n'ebyo bye mweyama okuwa Mukama, munaabikwatanga ne mubitwala mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza.
27
Munaaweerangayo ku alutaari ya Mukama Katonda wammwe ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, ennyama wamu n'omusaayi. Era munaawangayo n'ebitambiro, ng'omusaayi gwabyo guyiibwa ku alutaari ya Mukama Katonda wammwe, yo ennyama ne mugirya.
28
Muwulirize bulungi ebigambo bino byonna bye mbalagira, mulyoke mubeerenga bulungi, mmwe n'ezzadde lyammwe eriribaddirira emirembe gyonna, nga mukola ebyo Mukama Katonda wammwe by'alaba nga birungi era nga bituufu.
29
“Mukama Katonda wammwe alizikiriza ab'amawanga ge munaatera okuyingiramu mugeefuge. Mulyefuga ensi yaabwe, ne mubeeranga omwo.
30
Bwe balimala okuzikirizibwa nga mulaba, mwekuume mulemenga kukemebwa kugoberera mpisa zaabwe. Era mulemenga kwebuuza ebikwata ku balubaale baabwe, nga mugamba nti: ‘Ab'amawanga gano baasinzanga batya balubaale baabwe? Era naffe bwe tutyo bwe tunaasinzanga.’
31
“Temuusinzenga Mukama Katonda wammwe nga bo bwe baasinzanga balubaale baabwe, kubanga bwe baabanga basinza balubaale baabwe, baakolanga buli kya muzizo, Mukama ky'akyawa. Baayokyanga ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro ne babafuula ebitambiro eri balubaale baabwe.
32
“Buli kye mbalagira, mufubenga okukituukiriza. Temuubengako kye mukyongerako, wadde kye mukikendeezaako.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34