bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 33
Deuteronomy 33
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 34 →
1
Guno gwe mukisa, Musa omusajja wa Katonda, gwe yasabira Abayisirayeli nga tannaba kufa.
2
Yagamba nti: “Mukama yava ku Lusozi Sinaayi, n'avaayo ng'enjuba ku Seyiri, n'ayaka ng'asinziira ku Lusozi Parani, ng'ali wamu n'obukumi bw'abatuukirivu, n'omuliro ogwaka nga gumuli ku ludda lwe olwa ddyo.
3
Weewaawo ayagala abantu be. Abaamwawulirwa bali mu mikono gye. Batuula kumpi n'ebigere bye okuwulira ebigambo bye.
4
Musa yatuwa Amateeka kye ky'omuwendo ennyo eky'eggwanga lya Yakobo.
5
Mukama yafuuka Kabaka w'Abayisirayeli, ebika byabwe n'abakulembeze baabwe bwe baakuŋŋaana.”
6
Musa n'ayogera ku ba Rewubeeni nti: “Aba Rewubeeni babe balamu baleme kufa kuggwaawo, era beeyongere obungi.”
7
N'ayogera ku ba Yuda nti: “Wulira ayi Mukama omulanga gwa Yuda, omukomyewo mu baganda be. Omulwanirire, omuyambe okumuwonya abalabe be.”
8
Ku Baleevi n'agamba nti: “Turimu wo ne Wurimu wo biwe basajja bo abakussaamu ekitiibwa, be wagereza e Massa. Wawakana nabo ku mazzi g'e Meriba.
9
Abaleevi baanywerera ku ggwe okusinga ku bazadde baabwe, ne ku baganda baabwe, ne ku baana baabwe. Baawulira ebiragiro byo, ne bakuuma endagaano yo.
10
Banaayigirizanga aba Yakobo ebiragiro byo n'amateeka go. Banaayoterezanga obubaane w'oli. Banaawangayo ebitambiro ebyokebwa nga biramba ku alutaari yo.
11
Ebyabwe, ayi Mukama, obiwenga omukisa. Osanyukirenga bye bakola. Betenteranga ddala abalabe baabwe, abo ababakyawa balemenga kuddamu kusituka.”
12
Ku Babenyamiini n'agamba nti: “Bano mikwano gya Mukama. Banaabeeranga mirembe w'ali. Anaabakuumanga ekiseera kyonna, era anaabeeranga mu bo.”
13
Ku ba Yosefu n'agamba nti: “Ensi yaabwe, Mukama agiwe omukisa, ogw'ebirungi ebiva waggulu mu bire, n'ogw'ebiva mu ttaka wansi.
14
Ensi yaabwe ebeemu ebibala ebyengezebwa enjuba, era ebirungi mu buli makungula.
15
Ebe n'eby'omuwendo ennyo ebiva mu nsozi ez'edda, n'ebirungi ebiva mu busozi obutaggwaawo.
16
Ensi yaabwe ejjule ebirungi byonna ebiweereddwa omukisa gwa Mukama, eyayogera ng'asinziira mu kisaka ekyaka omuliro. Emikisa gino gijje ku ba Yosefu, kubanga Yosefu ye yali omukulembeze mu baganda be.
17
Yosefu alina amaanyi ng'ag'ente ennume, n'amayembe ng'ag'embogo. Amayembe ago, gye mitwalo gya Bamanasse, gye mitwalo n'emitwalo gy'Abeefurayimu. Aligatomeza amawanga agasindiikirize, agatuuse ensi gy'ekoma.”
18
Ku Zebbulooni ne ku Yissakaari n'agamba nti: “Mmwe Abazebbulooni, musanyuke nga muli mu ŋŋendo zammwe, nammwe Abayissakaari, nga muli awaka.
19
Baliyita ab'amawanga amalala ku lusozi lwabwe, ne baweerangayo eyo ebitambiro ebituufu. Banaafunanga ebyobugagga mu nnyanja, ne mu musenyu ku lubalama.”
20
Ku Kika kya Gaadi n'agamba nti: “Aweebwe omukisa agaziya ensi ya Gaadi. Gaadi abwama ng'empologoma, okutaagula omukono n'akawompo k'omu mutwe.
21
Yatwala ekitundu ekirungi okusinga ebirala, kubanga eyo ye waateekebwa omugabo gw'omukulembeze. Yajja n'abakulembeze b'abantu, n'atuukiriza ebiragiro bya Mukama, n'amateeka ge yawa Yisirayeli.”
22
Ne ku Kika kya Daani n'agamba nti: “Daani mwana gwa mpologoma, ogukyayonka. Abuuka okuva mu Basani.”
23
Ku Kika kya Nafutaali n'agamba nti: “Ggwe Nafutaali, Mukama ow'ekisa akuwadde nnyo omukisa. Funa ensi ey'ebugwanjuba n'ey'omu bukiikaddyo.”
24
Ku Kika kya Aseri n'agamba nti: “Aseri afune omukisa ogusinga ku gwa banne. Ayagalibwenga baganda be. Ensi ye eyazenga omuzigo ogw'emizayiti.
25
Ebibuga bye biggalwenga enzigi ez'ekyuma n'ez'ekikomo. Abenga wa maanyi obulamu bwe bwonna.”
26
Mmwe Abayisirayeli, teri n'omu ali nga Katonda eyeebagala ku ggulu n'ayita mu bbanga. Ng'ali mu kitiibwa ekingi, n'ajja okubayamba.
27
Katonda ataggwaawo ye abataasa mmwe. Emikono gye egy'olubeerera gye gibawanirira. Anaagobanga abalabe bammwe mu nsi nga mutuuka, mmwe n'abagamba nti: “Mubazikirize.”
28
Kale Abayisirayeli banaabeeranga mirembe, bazzukulu ba Yakobo banaabeeranga bokka mu nsi omuli eŋŋaano n'omwenge ogw'emizabbibu, era efukirirwa omusulo oguva mu ggulu.
29
Oli wa mukisa ggwe Yisirayeli! Ani ali nga ggwe, eggwanga erirokolebwa Mukama? Mukama ye ngabo yo n'ekitala kyo, ebikutaasa, era ebikuwa obuwanguzi. Abalabe bo balijja ne bakwemenyera, ggwe n'obalinnyako.
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
Recommended Reading
Commentary
Deuteronomy Commentaries
→
Devotional
Deuteronomy Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→