bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 32
Deuteronomy 32
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 33 →
1
“Ggwe ggulu, ntegera amatu njogere, naawe ensi, wuliriza bye ŋŋamba.
2
Bye njigiriza bibe ng'enkuba etonnya, bye njogera bigwe ng'omusulo, ng'olukubakuba ku bimera ebigonvu, ng'oluwandaggirize ku muddo omuto.
3
Nja kutenda erinnya lya Mukama, njatule nga Katonda waffe bw'ali Omukulu.
4
“Ye w'amaanyi atutaasa, era akola ebituukiridde, asalawo obulungi ensonga. Katonda mwesigwa, wa mazima, akola ebituufu eby'obwenkanya.
5
Naye abantu be boonoonyi, era tebasaanidde kuba babe. Bafuuse ggwanga kkakanyavu, eryakyama.
6
Bwe mutyo bwe muyisa Mukama, mmwe abantu abatalina magezi? Si ye kitammwe eyabateekawo? Si ye yabafuula eggwanga?
7
“Mujjukire ebiseera eby'edda, mulowooze emyaka gy'emirembe emingi. Mubuuze bakitammwe babalage, bajjajjammwe bababuulire ebyabaawo.
8
Atenkanika bwe yagabira amawanga ebyago, bwe yayawulamu abantu. Yabateerawo ensalo zaabwe ng'agoberera omuwendo gw'abaana ba Katonda.
9
Aba Yakobo yabafuula babe, gwe mugabo ogugwe ku bubwe.
10
“Yabasanga babungeetera mu ddungu ekkalu kibuyaga mw'akuntira, n'abakuuma n'abalabirira, ng'omuntu bw'alabirira emmunye y'eriiso lye.
11
Ng'empungu bw'eyaliirira ekisu kyayo, n'epapalira awali abaana baayo, n'ebatwalira ku biwaawaatiro byayo, ne Mukama bwe yabawanirira obutagwa.
12
Mukama yekka ye yabakulembera. Tewali lubaale yamukwatirako.
13
“Yabawa okubeera mu nsi ey'ensozi, ne balya emmere erimiddwa mu nnimiro. Baasanga omubisi gw'enjuki mu njazi, ettaka ery'oluyinjayinja ne libaza emizayiti gyabwe.
14
Ente zaabawa omuzigo, era baakama amata mu mbuzi zaabwe. Ne bazaaza endiga engevvu, ne bafuna eŋŋaano ennungi. Ne beesogoleranga omwenge ogw'emizabbibu omuwoomu omuka.
15
“Abayisirayeli ne bagaggawala, naye ne bajeema. Baagejjuka, emmere n'ebazimbulula. Ne bava ku Mutonzi waabwe, ne banyooma ow'amaanyi, omulokozi waabwe.
16
Baasenga balubaale, ne bamukwasa obuggya. Baakola ebyenyinyalwa, ne bamusunguwaza.
17
Baatambirira balubaale, sso si Katonda; balubaale abatamanyiddwa, balubaale abaggya, abataasinzibwanga bajjajjaabwe.
18
Beerabira Omuyinza eyabatonda, tebajjukira Katonda eyabawa obulamu.
19
“Mukama bwe yakiraba n'asunguwala. N'atamwa batabani be ne bawala be.
20
N'agamba nti: ‘Nja kubeekweka, ndabe enkomerero yaabwe. Bafuuse zzadde bbi, baana abatalina kukkiriza.
21
Bankwasizza obuggya nga beewa ebitali Nze Katonda. Bansunguwazizza, nga beesiga ebitaliimu. Nange ndibakwasa obuggya, nga nnumirwa abatali bantu bange. Ndibasunguwaza nga ŋŋanza eggwanga ly'abatalina magezi.
22
Obusungu bwange bukoledde ng'omuliro okwokya buli ekiri ku nsi. Bunaayaka okutuuka emagombe wansi eyo, bwokye emisingi gy'ensozi.
23
“ ‘Ndibatuusaako akabi aka buli ngeri. Ndimalira obusaale bwange ku bo.
24
Banaafanga enjala n'omusujja, bazikirizibwe endwadde ez'akabi. Ndisindika ensolo enkambwe zibalye, N'emisota egy'obusagwa gibabojje.
25
Entalo ebweru n'ekikangabwa mu nnyumba, binattanga abalenzi n'abawala, omukadde ow'envi n'omuto ayonka.
26
Nagamba nti: Ka mbasaasaanye ewala, wabulirewo ddala abajjukira.
27
Naye ne neekengera okwewaana kw'abalabe: ababakyawa baleme kwerimba nga bagamba nti: Olw'amaanyi gaffe ffe tubawangudde, sso Mukama si ye akoze bino byonna.’
28
“Yisirayeli lye ggwanga ly'abatayagala kubuulirirwa. Temuli bategeera mu bo.
29
Singa balina amagezi banditegedde ekibaleetedde okuwangulwa abalabe.
30
Omu yandigobye atya olukumi, n'ababiri ne baddusa omutwalo, singa ow'amaanyi abakuuma teyabawaayo, singa Mukama teyabaabulira?
31
Balubaale b'abalabe banafu, naye Katonda waffe wa maanyi, n'abalabe baffe bennyini ekyo bakimanyi.
32
Boonoonyi ng'ab'e Sodoma ne Gomora. Bali ng'ennimiro z'emizabbibu egibala emizabbibu egy'obutwa, nga n'ebirimba byagyo bikaawa.
33
Omwenge gwagyo guli nga busagwa bwa misota, bukambwe nga bwa mbalasaasa.
34
“Mukama ajjukira abalabe baabwe kye bakoze. Alinda ekiseera ky'ategese, alyoke abonereze abalabe abo.
35
Mukama ye awoolera eggwanga, era ye asasula. Obudde bujja kutuuka bagwe, kubanga ekiseera kyabwe eky'okubonaabona kiri kumpi, n'eby'okubajjira byanguwako.
36
Mukama alisalawo nti abantu be, be basinze omusango. Abaweereza be alibakwatirwa ekisa, bw'aliraba nga bonna baweddemu amaanyi, ng'omusibe n'ow'eddembe tewakyali agalina.
37
Olwo abantu be alibabuuza nti: ‘Balubaale bali ludda wa, ab'amaanyi be mwesiganga?
38
Baalyanga amasavu ag'ebitambiro byammwe, ne banywa omwenge ogw'emizabbibu gwe mwabatoneranga banywe. Bajje kaakano babayambe, babe obuwonero bwammwe.
39
“ ‘Kaakano mumanye nga Nze era nzekka Nze wuuyo. Tewali Katonda mulala wabula Nze. Nze nzita, era Nze mpa obulamu. Nfumita era ne mponya. Tewali ayinza kunzigyako kiri mu buyinza bwange.
40
Ngolola omukono gwange eri eggulu ne ŋŋamba nti: Nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna,
41
ndiwagala ekitala kyange ekimasamasa, nze Omuyinza ne nkozesa obwenkanya. Ndiwoolera eggwanga ku balabe bange, ne mbonereza abankyawa.
42
Obusaale bwange bulijjula omusaayi, n'ekitala kyange kirirya ennyama awamu n'omusaayi ogw'abattiddwa n'abawambiddwa, n'emitwe gy'abakulembeze b'abalabe.’
43
“Mmwe amawanga mutendereze abantu ba Mukama, kubanga aliwoolera eggwanga ku abo abatta abaweereza be, n'akwatirwa ekisa ensi ye n'abantu be.”
44
Bw'atyo Musa bwe yajja ne Hoseya mutabani wa Nuuni, ne boogera ebigambo by'oluyimba olwo byonna, ng'abantu bawulira.
45
Musa bwe yamala okwogera n'Abayisirayeli ebigambo ebyo byonna,
46
n'agamba nti: “Musseeyo omwoyo ku bigambo byonna bye mbategeezezza olwaleero. Mubiyigirize abaana bammwe, bafengayo okutuukiriza byonna ebiragirwa mu mateeka gano,
47
kubanga bino si bigambo bya kusaaga, naye bya bulamu bwammwe bwennyini, era bye biribawangaaliza mu nsi gye mugenda okwefuga nga musomose Omugga Yorudaani.”
48
Awo Mukama n'agamba Musa ku lunaku olwo nti:
49
“Yambuka mu nsozi z'e Abariimu mu nsi y'e Mowaabu, eyolekedde ekibuga Yeriko, oyambuke ku Lusozi Nebo, olengere ensi y'e Kanaani, gye mpa Abayisirayeli ebe obutaka bwabwe,
50
ofiire ku lusozi olwo, weegatte ku bajjajjaabo, nga muganda wo Arooni bwe yafiira ku Lusozi Hori, ne yeegatta ku bajjajjaabe,
51
kubanga mmwe mwembi mwasobya ne munnyiiriza mu Bayisirayeli. Bwe mwali ku mazzi g'e Meriba ku Kadesi, mu ddungu ly'e Ziini, temwanzisaamu kitiibwa.
52
Ojja kulengera bulengezi ensi gye mpa Abayisirayeli, naye tojja kugiyingiramu.”
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
Recommended Reading
Commentary
Deuteronomy Commentaries
→
Devotional
Deuteronomy Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→