bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Deuteronomy 18
Deuteronomy 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 19 →
1
“Bakabona Abaleevi n'ab'omu Kika kya Leevi bonna, tebaabenga na mugabo gwa ttaka mu Yisirayeli. Naye banaalyanga ku biweebwayo ebyokebwa, ne ku bitambiro bya Mukama ebirala ebiteekwa okumuweebwa.
2
Tebaabenga na ttaka ng'ab'ebika ebirala. Omugabo gwabwe kwe kubeera bakabona ba Mukama, nga bo bwe yabagamba.
3
“Guno gwe mugabo, abantu abawaayo ekitambiro gwe banaawanga bakabona: bw'eba ente oba endiga, bawenga kabona omukono, n'emba zombi, n'ebyenda.
4
Kabona munaamuwanga ekitundu ekisooka okukungulwa eky'eŋŋaano yammwe, n'eky'omwenge gwammwe ogw'emizabbibu, n'eky'omuzigo gwammwe ogw'emizayiti, n'ebyoya bye musooka okusala ku ndiga zammwe,
5
kubanga mu bika byammwe byonna, Mukama Katonda wammwe yeerobozaamu ab'Ekika kya Leevi okumuweerezanga ennaku zonna mu Weema ey'Okumusisinkanirangamu.
6
“Buli Muleevi anaabanga ayagadde okuva mu kibuga kyonna mw'abeera mu Yisirayeli, n'ajja mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu,
7
anaaweerezanga Mukama Katonda we nga baganda be Abaleevi abalala bonna abayimirira mu maaso ga Mukama, bwe bakola.
8
Anaafunanga omugabo gw'emmere gwe gumu nga banne, nga tobaliddeeko ebyo by'anaabanga afunye mu b'eŋŋanda ze.
9
“Bwe mulimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temugezanga ne muyiga okukola eby'omuzizo, ng'ab'amawanga ago bye bakola.
10
Tewaabenga n'omu mu mmwe ayisa mutabani we oba muwala we mu muliro okumuwaayo okuba ekitambiro, wadde akola eby'okulagula, n'eby'obulogo,
11
wadde ayambala ensiriba, oba omusamize,
12
kubanga Mukama Katonda wammwe akyawa abakola ebintu ebyo ebyenyinyalwa era kyava agoba ab'amawanga ago mu nsi, mmwe nga mulaba.
13
Mmwe mulemenga kubaako kamogo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe,
14
kubanga ab'amawanga ago ge mugenda okwefuga, bawuliriza abalaguzi n'emmandwa. Naye mmwe, Mukama Katonda wammwe tabakkirizza kukolanga bwe mutyo.
15
Mukama Katonda wammwe alibayimusiza omulanzi mu mmwe, ow'eggwanga lyammwe, ali nga nze. Oyo gwe muliwulira,
16
nga bwe mwasaba Mukama Katonda wammwe lwe mwakuŋŋaanira ku lusozi Horebu, ne mugamba nti: ‘Tuleme kuddayo kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, wadde okuddamu okulaba omuliro guno omungi, sikulwa nga tufa.’
17
Mukama n'agamba nti: ‘Kye bagambye kirungi.
18
Ndibayimusiza omulanzi ow'eggwanga lyabwe ali nga ggwe, era ndimutegeeza by'alyogera, n'ababuulira byonna bye ndimulagira.
19
Kale buli atalissaayo mwoyo ku bigambo byange mulanzi oyo by'alyogera mu linnya lyange, ndikimuvunaana.
20
Naye omulanzi aneetulinkirizanga n'ayogera mu linnya lyange ebigambo bye simulagidde kwogera, oba anaayogeranga mu linnya lya balubaale, omulanzi oyo anaafanga.’
21
“Muyinza okwebuuza mu mitima gyammwe nti: ‘Tunaategeeranga tutya ekigambo Mukama ky'atayogedde?’
22
Omulanzi bw'ayogera mu linnya lya Mukama, ky'ayogedde ne kitabaawo oba ne kitatuukirira, ekyo kye kiba ekintu Mukama ky'atayogedde. Omulanzi aba akyogedde aba yeetulinkirizza, kale temumutyanga.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34